Jump to content

Okulambulula ensonga (Deductive reasoning)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okulambulula ebirowoozo (Okulambulula ensonga)okusinziira ku Charles Muwanga !!Okulambulula ensonga kuba kulaga oba okunokoolayo ekyo ky'oyize ku balala oba ekikugambiddwa abalala mu bigambo oba nga osoma ebitabo byabwe.

Olw’okuba “Ekipimo ky’Obwakalimagezi”/EkkyO (IQ) mu bantu si kye kimu, abamu banguyirwa okuyiga nga balambululirwa ensonga ate abo abalina obwongo obwogi bbo ne banguyirwa okuyiga nga bayambibwa okulambika ensonga era bano baba n’obusobozi okuvumbula ebipya.

Okulambulula ensonga oba okulambulula ebirowoozo mu lungereza kiyite “deductive reasoning: Okulambika n’okulambulula ensonga bigeraageranye n’ekikolwa eky’okusiba n’okusumulula oba okulanga n’okulangulula omugwa. Okulangulula omugwa kiba kyangu okusinga okugulanga kuba okugulanga oteekamu okwefumiitiriza n’amagezi mangi ddala.

Obutafaanana na kulambika nsonga, okulambulula ensonga kitegeeza kunnyonyola ekyo ekiwedde okukola (ekimanyiddwa) okudda wansi ku ntandikwa. Okulambulula ensonga”:

 Tekuleetawo kumanya kupya, wabula kulaga ekkubo eryayitiddwamu okutuuka ku mulamwa (ekituufu), ku nsonga, oba katugambe okulaga ekkubo omuyiiya oba omuvumbizi lye yayitamu okutuuka ku tekinologiya aliwo.

 Nkola ya kulaga bukakafu

 Kukozesebwa okulaga enkola oba engeri ebintu ebimanyiddwa gye bikolamu, gye bikolebwamu oba gyebyavumbulwamu.

 Kintu ekyanguwa kubanga oyo alambulula ekintu aba akimanyi bulungi nga tali mu kunoonya kukimanyaako kupya oba kunoonya kuvumbula.


Omulamwa gw’okulambulula gweyambisibwa mu ngeri nnya:

(i) Mu kwogera okwa bulijjo okulambulula ebirowoozo kuba kunnyonnyola ekintu nga bw’okiwulidde, nga bw’okisomye, oba okulaga ekintu nga bw’okitegedde nga bw’okinnyonnyose.

(ii) Mu sessomo ly’ekibalangulo (mathematics) ekigambo “kulambulula” kyeyambisibwa okukola omulamwa gw’okulambulula namba (factorization of numbers) awamu n’okulaga namba ennambulukufu oba namba ezerambulula (composite numbers) ne namba ezitali nambulukufu oba eziterambulula (prime numbers).

(iii) Mu sayansi ez’ensibo “okulambulula tekinologia” oba “ekinonoozo ekirambulula tekinologiya” mulamwa oguli mu matendekero g'ekinonoozo(engineering institutes) n’amakolero mu mawanga agavuganya mu nkulaakulana. Omulamwa gw’okulambulula tekinologia (reverse engineering) gugwata ku kukoppa tekinologia ekitongole oba eggwanga ery’ebweru gwe lyeyambisa okuyiiya, okubaga n’okuzimba masiini oba ekyuma kyonna. Wano okiraba nti ekigambo kulambulula kirimu okukoppulula tekinologiya nga sumulula masiini okunnyonnyoka engeri gye yazimbibwamu.

Okutwalira awamu okulambulula okigeraageranya n’ekigambo “okulambika” era okukitegeera obulungi wekenneenye ebigambo okusiba n’okusumulula, okutugga n’okutaggulula okutunga n’okutungulula.

Okukoppulula ekintu si ggwe oba wakiyiiya n’okitondekawo naye oyita mu kwekenneenya, n’okyekebejja wakati mu kwefumiitiriza okutuuka okuzuula engeri gye kyatuukibwako oba gye kyakolebwamu. Kino kirimu okukozesa obwongo nga onnyonnyola ekkubo eriwedde okukubibwa okuva gye likoma okutuuka we litandikira. Kino kitegeeza nti tewabaddewo kwevumbulira naye olaga nti onnyonnyose ekintu omulala kye yavumbula era n’okiraga bulungi nga omuvumbuzi wakyo bwe yakituukako. 

Engeri y’okukozesa obwongo ng’olambulula ensonga nayo yamugaso, naddala nga waliwo obwetaavu bw’okukoppa oba okukoppulula ekintu ekikoleddwa omuntu omulala kyokka singa ekozesebwa yokka tewa muntu kyagaanya kwezuulira oba kwevumbulira kipya.

Entabaganya zaffe ezikyetaaga okukulaakulana mu tekinologia wa yindasitule zetaaga nnyo abakugu mu kinonoozo (engineering)abasobola okukozesa ekinonoozo ekirambulula tekinologia (reverse engineering) okukoppa tekinologia ensi endala gwe zikozesa okutondekawo ebikole eby’enjawulo mu yindasitule, eby’entambula, n’amatabi ga yindasitule ge twetaaga okukulaakulanya eby’enfuna byaffe.

Mu Nsi eya sayansi, ekinonoozo ekirambulula tekinologia (reverse engineering) akola kinene okukulaakulanya amawanga era obuwangwa oba amawanga agatateekawo nkola yakukoppa tekinologia w’ensi endala gasigalira mabega. Kino kirimu nnyo okwekebejja, okwekenneenya, n’okwefumiitiriza.

Singa ettendekero lya yinginiyologia terisobola kufuna biwandiiko bikwata ku kyuma oba masiini yonna, liba lirina kulambulula tekinlologia wakyo. Ekyokulabirako, eky’okukola kwe kusomesa abayizi “yinginiyologia ono alambulula tekinologia” w’ekyuma kyonna kye baagala okukoppa, bakyusemu bakole ekyabwe.

Omuntu omukujjukujju oba ekitongole nga ekitendeka yinginiyologia kiyinza okwagala okulambulula tekinologia eyakozesebwa okukola, ka tugambe, ekkolero lya motoka, obusimu bwo mu ngalo, leedio, tulakita, oba erya sukaali, olw’ensonga ez’enjawulo nga okwagala obwagazi okuyiga, okutondeka ekitondeke eky’efaananyirizaako ekyo ekyekebejjebwa, oba okwagala obwagazi entabaganya ye nayo esajjakule era yetengerere mu sayansi, tekinologia, ne yindasitule.

Ekinonooo kirambulula tekinologia (reverse engineering) yatandika okukozesebwa mu biseera bya sematalo ll, nga ensi ezaali mu lutalo buli emu etaddewo ekitongole kya yiginiyologia okukoppa tekinologia okuva ku byuma ebyali biwambiddwa okuva ku mulabe.

Wano baalambululanga tekinologia w’ ebyokulwanyisa na buli kyuma kyonna kye baabanga bawambye mu lutalo okusobola okulaba nga bwe kikola n’engeri ensi eyo bw’eyinza okukitondekawo ku bwayo n’okulongoosa mu tekinologia wakyo omulabe gwe yakozesa nga akitondeka.

Ku mulembe guno amatendekero oba ebitongole bya sayansi mu mawanga agalina enteekateeka ennambulukufu mu kutondeka ebikole, biteekawo obukiiko bw’abakugu obukessi “okulambulula tekinologia” (to reverse engineer) w’ebyuma bya kampuni oba amawanga amalala. Kino kye kiyambye amawanga ne ebitongole okuteekawo tekinologia owabyo, kasita baba nga tebakubisaamu ebyo byennyini ebifaana ne bye baba bakoppye wabula bo ne bakozesa tekinologia ono okukola ebyuma ebibagiddwa mu ngeri eyawukana ku by’ekitongole kye bakesseeko tekinologia ono.

Kyokka eggwanga oba ekitongole kiyinza n’okusaba olukusa okuva mu kitongole ekikwatibwako mu ggwanga eddala awatali kubbirira ne kiweebwa olukusa olutongole okulambulula tekinologia w’ekyuma (masiini) ekyo. Naye kino oluusi kibaamu emisoso mingi n’okufulumya ensimbi. Amawanga gatera nnyo okwettanira okuketta n’okukoppa tekinologia awatali lukusa kyokka ne gabaga ekyuma ekitafaanana na kiri kye bakoppoloddemu tekinologiya.