Jump to content

Okulembewaza(to Police, Policing)

Bisangiddwa ku Wikipedia
police

Muwanga aganba nti kyetaagisa okugenda nga tufeebeza ddala emiramwa gyonna egy'ennimi engwiira kubanga akizudde nti kisoboka nga tubadde tukitaddeko essira n'ebirowoozo.Ku luno akyuusizza omulamwa gwa "poliisi" bwaati:

(i) Okulembewaza(to police, Policing)

(ii) Abalembewaza( Police officers)

(iii) Ekirembewazo (Police Station ). Kino kiba kitebe kya mirembewazo oba kitebe kya kulembewaza mu kitundu.

(iv) Ekirembewazi (Police Headquarters).Kino kiba kitebe kya kulembewaza eky'eggwanga lyokka.

(iv) Sseddembewazo (Police Headwaters).

Olw'okuba omulimu gw'omulembewaza omukulu kwe kukuuma emirembe mu ggwanga, ba ofiisa abatendeke mu kukuuma emiremeb Muiwanga abayise "abalembawaza(policemen oba police officers) , ekitegeeza nti be batendeke aabavunaanyizibwa ku kukuuma emirembe mu ggwanga mu buli kitundu we baba basindikiddwa.

Okulembewaza(policing) n'olwekyo ky'ekikolwa eky'okukuuma emirembe .Kati nno tuyinza okwogera ku :

(a) Omulembewaza (Policeman/Policewoman). Kino kitegeeza "mukuumi wa mirembe". Omulembewaza Omukyala(Police woman)

(b) Ofiisa omulembewazi (Police officer)

(c) Ekitongole ekirembewazi (Police Department)

(d) Ekiwalirizo ky'Emiremmbe mu Uganda (Uganda Police Force). Kino kitegeeza kitongole ekiwaliriza emirembe mu ggwanga.

(e) Abalembewaza (Policemen) oba Ba ofiisa abalembewazi (Police officers).

(f) Okunoonyereza ku misango (to investigate)

(g) Omunoonyereza (investigator) .Naye Omunoonyerezi (scientific researcher)

(h) Omuduumizi w'abalembawaza (Police Commander)

(i) Omuduumizi w'abalembawaza mu Disitulikiti(District Police Commander)

(j) Omuduumizi w'abalembawaza owo ku ntikko (Inspector General of Police)

(k) Omuziiyizi w'obumenyi bw'amateeka(Crime Preventer)

(l)Okwekengera obumenyi obuzzi bw'emisango (Crime watch)

(m) Okulembewaza Embeera ey'Obumenyi bw'amateeka/Obuzzi bw'emisango(Crime Policing)