Okunambulula
"Okunambulula" (to factor numbers) era kuba "kulambulula namba". Muwanga agamba nti okulambulula namba(okunambulula) kitegeeza kuzuula namba ze wekubisaamu okufuna namba endala oba namba ezigabiza obutereevu mu namba endala.Waliwo:
(i) Namba ezerambulula
(Composite numbers) . Zino era ziyitibwa "namba ennambulukufu"
(ii)Namba eziterambulula
(Prime numbers).
Zino era ziyitibwa "namba ezitali nambulukufu"
Mu ssomo ly’ekibalo lyonna ojja kweyambisa ekiyitibwa okulambulula (factoring) mu ngeri ez’enjawulo. Okulambulula kukozesebwa nga obalanguza nakyenkanyanjuyi eza namayingo (polynomial equations), okusonjola (to simplify) n’emisoso gy’ekibalo emirala mingi ddala.
"Nambuluzo"(factors) ze namba ze wekubisaamu okufuna namba ebdala. Eky’okulabirako nambuluzo za 6 ziri 2 ne 3 kubanga 2 x 3 = 6 .Kyokka namba ezimu ziyinza okulambululwa mu ngeri ezisukka mu emu .Eky’okulabirako , 12 eyinz okulambululwa nga 1×12, 2×6, oba 3×4.
Namba erambululwa ne 1 ne yo yennyini byokka eyitibwa “namba eterambulula” oba “namba etali nambulukufu” (prime number) . Namba eziterambulula ekkumi ezisooka ziri 2, 3, 5, 7, 11, 13, 17,1 9, 23, ne 29.
Namba 1 tebalibwa mu namba ziterambulula , ensonga tetera kuteekebwa oba kulagibwa mu kulambulula kwa namba kubanga 1 egenda mu buli namba . Bw’oba oyagala okuzuula namba eziterambulula zonna eza namba yonna kiba kitegeeza nti olina okulaga olukalala lwa namba ezitali nambulukufu zonna eza namba ennambulukufu, okujjako 1. Eky’okulabirako namba ezitali nambulukufu eza 75 ziri 5x5x5, si "5” yokka. Bwekityo bwe kiri yadde nga 5 ye nambuluzo yokka eya 75 kubanga wetaaga kopi za 5 ssatu okusobola okukubisamu okudda ku 75, n’olwekyo okulaga namba za 75 eziterambulula kitwaliramu kopi za 5 zonna essatu.
Okulambulula namba kitegeeza kulaga nambuluzo zayo ezitali nambulukufu zokka , zi bitondeko byazo . Eky’okulabirako, yadde nga 3x3 =9 ate nga 9 ngabiza ya 36 , 9 tebalibwa mu nambuluzo za 36 .
Wano olina okunnyonnyoka engeri gy’olambululamu n’okuzuula Nambuluzo Ey’awamu Esingayo(NESI) mu lungereza eyitibwa GCF(Greatest Common Factor) n’Ennambuluzo Ey’awamu Esembayo(NESE) , mulungereza eyitibwa “Lowest Common Factor”.
Mu kibalo , okulambulula(factorization or factoring ) kitegeeza okubumbulula ekintu (wano ekintu ekiba kibumbululwa eba namba n namayingo, oba metuliikisa ) okukifuula ekitondeko(product) ky’ebintu ebirala oba enambuluzo , zino nga bwe ziba nga zikubisiddwamu wamu zikuwa namba eyasoosewo. Eky’okulabirako namba 12 erambululwa mu nambuluzo nga 3 × 4, ate namayingo x2 − 9 n’erambululwa nga (x − 3)(x + 3). Mu ngeri yonna , ekivaamu kiba kitondeko ky’ebintu ebitonotono oba ebitundutundu.
Tekigendererwa ky’okulambulula kwe kuzimbulula ekintu okutuuka ku butaffaalikazimbira bwakyo(obutaffaali obukizimba oba obutaffaali obukola obuzimbe bwakyo) nga nambuluzo oba namayingo obusembayo.
Okulambulula entegere kufugibwa ggereeso lya kubalanguza (arithmetic theorem) ate okulambulula namayingo kufugibwa ggereeso lya akigebbula ( the theorem of algebra).
Kikontana w’okulambulula namayingo aba kuzimbulukusa (expansion) , okukubisaamu wamu enambuluzo za namayingo okutuuka ku namayingo ezimbulukusiddwa, ewandiikiddwa nga omugatte gw’ennyingo.