Okusenga kw’ababundabunda mu Achol-Pii
Okusenga kw`ababundabunda mu Acholi-Pii yali emu ku nkambi ezamanyi ez`ababundabunda mu disitulikiti ya Agago mu Uganda.Yemu ku nkambi ezasokawo ate ennenne mu Uganda.
Ababundabunda aba Congo abadduka mu Congo Crisis baasenga mu Achol-Pii mu myaka gya 1960. [1]
Achol-Pii yali etawaanyizibwa obutali butebenkevu buli kiseera, n’efuna obulumbaganyi bungi obw’abayeekera, obwasooka mu 1996. Mu August wa 2000 eggye lya Lord’s Resistance Army lyatta Abasudan mukaaga ne liwamba abalala basatu mu bikwekweto bibiri eby’enjawulo ku nkambi eno. [2] Ekitongole kya LRA kyaddamu okulumba mu August 2002, ne kitta ababundabunda abasoba mu 60 era ne bawamba abakozi bana ab’akakiiko k’ensi yonna akavunaanyizibwa ku kununula abantu . Obulumbaganyi buno obwayogerwako ng’obusinga obubi LRA ku nkambi yonna ey’ababundabunda, bwavaako okuggala Achol-Pii n’okukyusa abantu baayo ne batwalibwa mu bifo ebisinga okuba eby’obukuumi mu maserengeta g’omugga Nile, omuli Kirgyandongo ne Kyangwali . [3]
mu 2003, ababundabunda abasuka mu 16,000 okuva e Sudan baasengulwa. [4]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | edit source]Okusenga kw’ababundabunda mu Achol-Pii |
---|