Okusesema

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okusesema[kyusa | edit source]

Eno mbeera ya bulwadde ereetera omuntu okuzza byonna by'aba alidde oba anywedde ng'abifulumira mu kamwa. Oluusi bisobola n'okufulumira mu nnyindo. Embeera eno singa yeegatibwako n'embiro esobola okuziyizibwa eddagala enzungu kyokka oli ng'asazeewo okwesigama ku nzijjanjaba y'ekinnansi, omuddo oguyitibwa Kamunye ly’eddagala eri oyo alumbiddwa okusesema n’embiro ezaamangu. Kamunye sooka omwanikeko mu kasana, omusekule n’oluvannyuma omufumbire mu mazzi ag’ekigero.Bwe bimala okwesera obulung n’okuwola, tandika okunywangako mu bipimo ebisaanidde era mu bbanga ttono ojja kufuna enjawulo. Bw’oba osobola gattamu ebibajjo by’ejjirikiti n’emirandira gy’akafumbo.