Jump to content

Okusogola omwenge

Bisangiddwa ku Wikipedia
Uganda local beer

Okusogola omwenge kikolwa eky'okuggya omubisi mu mbidde ez'enjawulo ne gugattibwamu ebintu ebirala ng'omuwemba okugufuula omuka. (Ekikolwa ky'okugatta omuwemba mu mubisi ogukamuddwa kiyitibwa OKUSIWA)

Wano mu Buganda, omwenge gukozesebwa mu ngeri ez'enjawulo era ng'ezimu ku zzo ze zino wammanga. 1. Gukozesebwa mu kugulana. Abantu mu butale obw'enjawulo bagulangana ebintu nga bakozeza omwenge. 2. Gukozesebwa mu kuwasa omukyala. Ku buko, omwami atwala ekita ky'omwenge okusasula omukyala. 3. Mu kwabya ennyimbe. Omwenge gweyambisibwa nnyo mu kwabya onnyimbe. Omukeeze (omujjwa) mu luggya ajja n'ekita/endeku ng'erimu omwenge ogunywebwa mu kufulumya olumbe. 4. Okusamirira ba lubaale. Bajajja babayita okujja okulagula n'okutegeeza abazukulu ebizibu byabwe nga bakozesa omwenge. 5. Mu kwalula abaana. Ng'ennyuba/ekika kitudde okwalula abaana abapya, omwenge era gweyambisibwa. 6. Ntabaluganda. Era ng'erinnya lya gwo, guyamba okuleetawo obwa sseruganda mu bantu bwe batuula awamu okunywa.(Guzimba enkolagana mu bantu) 7.Gukozesebwa mu kwambulula. Abantu abamu bwe baba bambulula ebisiraani bagukozesa. 8. Gukola ng'akabonera akagatta abantu abalamu n'abafu. Bwe guggya oba abantu nga baagunywa, basooka kuguyiwako ku ttaka nti ne bajajja abaatusooka weebali era bafuneko.

OKUSOGOLA OMWENGE

[kyusa | edit source]

Omwenge omuganda gusogolwa mu bika by'embidde ez'enjawulo.omulimo gw'okusogola guyita mu mitendera mingi,omuli okuwanika kukibanyi amabidde oba okugaziika.oluvannyuma nga gengedde, ekinnya kisimibwa omunaasogolerwa amabidde gano. Kino kiyitibwa olutyatya era nga mu lutyatya mubaamu akannya akayitibwa akattiro. kano keekannya akakunganiramu omubisi ogusose okummuka.Omubisi gusobola okummuka mungeri y'abika bibiri,embalule ne nakavundira.Embalule gwe mubisi ogummukka nga gutukula ng'amazzi ate Nakavundira gwe gummuka nga mukwafu oba nga gwakitaka