Okusoma
Endabika
OKUSOMA. Okusoma kimu ku bintu eby'omuwendo omuntu ky'asobola okuwa omwana nga obugagga obw'ensibo[1]. Abantu bangi bafunye ebintu njolo nga bayita mu kusoma era nga nkumu batikiddwa okuva mu matendekero nga Makerere,Kyambogo n'amalala. Buli muntu yandifubye okulaba nga asomako oba okulaba ng'awa omukisa oyo ayagala okusoma asomeko. Eno y'ensomga lwaki gavumenti etadde kaweefube mungi mu kusoma ku madaala gonna. Ensangi zino, abantu bangi bamanyiddwa olw'okuba nga babanguddwako era n'embeera zaabwe ne zikyukira ddala. Edda nga omwana omuwala tasomesebwa wabula endowooza eno egenze eggwawo nga abakyali bangi kati bagundiivu olw'okuba nga basomyeko. Okugeza Janet Museveni, Rebecca Kadaaga, Betty Nambooze, Idah Nantaba n'abalala. [2]