Okutabuka omutwe (Schizophrenia)

Bisangiddwa ku Wikipedia


Enfaanana y’obulwadde buno[kyusa | edit source]

Kino kitegeeza okukyankalana kw'obwongo[[1]] bw'omuntu, ekireetawo embeera y'okukola ebikolwa eby'ekiralu, n'obutalaba bintu mungeri ya bulijjo. kino kijja n'ebintu ng'okuba n'ebirowoozo ebifu (ebikyamu), okulowooza okw'ekifuula nnenge ,okuwulira amaloboozi ag'enjawulo n'ebirala.

Okuwunga okw'engeri eno kujjawo olw'ensonga ez'obuzaale oba olw'embeera ey'ebintu ebiba bitwetoolodde, nga ku bino kuliko okunywa enjaga, endya embi naddala eri oyo ali olubuto, okubeera ennyo awali ebiwoggana, wamu n'okukwatibwa endwadde ezimu enkambwe.

Okukebera n’obubonero[kyusa | edit source]

Okukebera endwadde eno basinziira ku bubonero obuba ku mulwadde, ssaako ebyo ebiba bizze bimutuukako. Kyokka era mu kukebera obulwadde buno n'obuwangwa bw'omulwadde butera okufiibwako ennyo.

Obujjanjabi[kyusa | edit source]

Obujjanjabi obusinga okukozesebwa ly'eddagala erikkakkanya ku bwongo bw'omutabufu w'omutwe eriyitibwa antipsychotic medication nga kw'otadde n'okulyowa omwoyo gw'omulwadde. Kyokka embeera bw'erema bakyayinza okukozesa ne ku ddagala eriyitibwa Clozaphine.

Mu 2013, abantu abaateeberezebwa okuwera obukadde abiri mu obusatu 23million)baazuulibwa n'obulwadde buno. Abantu ebitundu abiri ku buli kikumi (20%) bawona era ne batereera. Kyokka ng'ebizibu nga: obutaba na mirimu, obwavu, wamu n'obutabaako we babeera byeyolekera nnyo ku bantu abo. Obuwangaazi bw'abalwadde ab'ekika kino buli wakati w'emyaka kkumi n'abiri mu etaano.