Jump to content

Okutendeka Obukulembeze mu Baana baffe (Inculcating Leareship in Children)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Gakuweebwa Charles Muwanga !!Okusiga Ensigo ey’ Obukulembeze mu Baana(Inculcating Leadership in children)!Sooka okimanye nti Obukulembeze obulungi mu baana butandika na:

(i) Obuntubulamu

(ii) Okumanya ebiyinza okujja bantu banno mu mbeera zaabwe ez'obuntu

(iii)Okumanya okulamuza abagenyi

(iv)Okumanya okukubiriza enkiiko

(v) Okumanya Okwaniriza n'okutuuza abagenyi

(vi)Okumanya okugabula abagenyi

(v) Okumanya ebyokwerinda

Obukulembeze butandikira mu maka n’olwekyo okuyigiriza obukulembeze okusooka kutandikira mu nju , mu maka omuntu mw’azaalibwa.Mu bulamu buli muntu alina okubeerako omukulembeze nga obukulembeze buno buli omu abuyingira nga yetongodde n’akola amaka omuli ezzadde.

Mu kugunjula omwana mulimu ekigendererwa eky’okumutendeka obukulembeze. Enju esonjolwa nga “namunigina y’entabaganya esingayo obutono” (the smallest unit of socity). Olw’okuba enju ye namunigina y’entabaganyo esookerwako ate nga y’esingayo obutono, era etwalibwa nga namunigina y’ebyobufuzi esookerwako oba esingayo obutono ate era nga ye namunigina y’obukulembeze esookerwako era nga yesingayo obutono.

Okutendeka obukulembeze kitandikira mu maka agalimu abakulembeze(abazadde) abagunjufu. “Namunigina ey’obukulembeze” (leadership unit) oba “namunigina y’ebyobufuzi” (political unit) esookerwako wansi y’enju. Okufaanana n’obukulembeze obulala bwonna , enju (family) eyinza okubaamu obukulembeze obwanakyemalira (dictatorial), obw’okwekkiriranya(permissive), oba obwa mugobansonga.

Okutendeka obukulembeze kitandika na kuyigiriza baana mu maka :

a. Okugondera n’okuwa ekitiibwa abakulu mu maka.

Abaana betaaga okugondera abazadde kyokka n’abazadde ne baba nga bawuliriza abaana nga balina ensonga ezibaluma. Kino kiba kiteekateeka abaana okumanya nti mu bukulembeze bwonna , abali wansi betaaga okugondera abakulembeze ababali waggulu mu mitendera gy’obukulembeze gyonna, ebintu bisobole okutambula obulungi. Mu maka abaana balina okugondera abazadde kuba abazadde basuubirwa okuba nga kye bakola kigenderera kugunjula baana bano. Kino kiteekateeka abaana okumanya nti mu bukulembeze bwonna abali wansi balina okugondera abakulembeze, ka bube bukulembeze bwa kitongole, kibiina, oba bwa ggwanga.

b. Obuvunaanyizibwa obw’awamu.

Obuvunaanyizibwa obwa wamu (collective responsibirity) wakati w’abazadde bombi omukyala n’omwami bwe buyigiriza abaana omutima ogw’okukolera wamu. Obuvunanyizibwa obw’awamu mu maka bwenyigirwamu abaana ng’abazadde babayigiriza okukolera awamu emirimu awaka nga okwoza engoye , amasowaani , okwera n’okusiimuula enyumba, okusaawa olujja n’okulima oba okulabiria ebisolo by’awaka , kino oluusi kikolebwa mu mpalo . Obuvunanyizibwa obw’awamu era bweyoreka nga abazadde bombi balaga nti bakwatibwako kyenkanyi mu nkuza y’abaana mu buli kigenda mu maaso awaka .Omwana singa atulugunyizibwa omuzadde omu omulala tasobola kwejjako musango okujjako ng’alaze nti alina ky’akozewo okuziiyiza muzadde munne okutulugunya omwana oyo . Mu bukulembeze bwonna obuvunaanyizibwa obw’awamu bwetaagisa nnyo era kino nakyo kitandikira mu maka agalimu obuvunaanyizibwa obw’awamu wakati w’abazadde bombi okutuuka ku baana.

c. Okuweereza abalala.

Omuzaddeomugunjufu alina okulaga omwana nti omukulembeze aba muweereza wa bantu era yetaaga ebiseera ebimu okuba nga yenyigira mu mirimu egya bonna, si kutuula wali nga abalala bakola.Waliwo abazadde , naddala abazadde abasajja abeeteekamu olukungu ne babeerawo kuddumira buduumizi baana okukola naddala okulima naye nga bbo tebenyigiddemu yadde omulundi ogumu. Kino kirowoozesa abato nti nabob we nakula nga barekera awo okukola emirimu egy’okukuluusana nga okulima. N’abakulembeze b’ebitundu oba ab’ebitongole oluusi basaanye okwenyigira mu mirimu egy’awamu nga bulungi bwansi , okugogola enzizi, okuzimbira abakadde n’emmombozze amayumba awatali kuwaayo buwi nsimbi, kino kiyambe okuba eky’okulabirako eri abakulemberwa , naddala abavubuka . . d. Obwetoowaze .

Mu maka omuzadde bw’aba akoze ensobi oba ekitali kya bwenkanya,  yadde ku baana ,  asaana okutegeera ensobi era ne yetonda. Kino kiyamba okumanyisa omwana obukulu bw’okutegeera n’okukkiriza ensobi ze, ekintu ekimutendeka okuba omukulembeze eyemenya n’akkiriza ensobi ze eri abalala mu kifo ky’okukalambira ku kintu munda naye ky’amanyi nti kikyamu.

e. Okumanya okukubiriza enkiiko.

Kino kibaawo mu nkiiko ez’enju, ez’ekika, ez’okukyalo oba ez’okuteekateeka emikolo nga embaga oba ennyimbe. Abaana abazadde tebasaanye kubaleka mabega kubanga zino enkiiko nabo mwe bayigira okuteesa n’okukubiriza enkiiko.


f. Okuteekateeka emikolo . Muno mulimu emikolo nga obubaga , embaga, ennyimbe, okuziika , ebivvulu , n’emirala.

g. Okumanya ebikolwa ebigotaanya enkulaakulana nga obwannanfuusi , obutagambwako, n’okwemanyamanya.

Mu katabo kano ka nambulule emiramwa esatu egisembyeyo mu byetaagisa okumanya mu kukulembera abantu.

I. Okukubiriza Enkiiko.

Omuvubuka agunjuse ateekwa okuba ng’ayise mu mbeera emuyamba okuyiga okukubiriza enkiiko. Omuzadde omugunjufu yandibadde atwala abaana be mu nkiiko z’olujja, ez’enju oba enkiiko ezibeerawo ku kyalo bafune obumanyirivu .

 (i) 	 Engeri y’okukubirizaamu olukiiko.

Omwana ky’olina okusooka okumulaga kwe kuba nti buli lukiiko lulina okuba n’omukubiriza n’omuwandiisi. Omukubiriza w’olukiiko alina okusisinkana n’omuwandiisi walwo okukkaanya ku “agyenda” (eby’okutesaako) nga olukiiko terunatuuka. Memba yenna waddembe okuwaayo omulamwa guteekebwe ku agyenda era omuwandiisi alina okulaga ddi okuwaayo kw’emiramwa egy’okutesaako lwe kukoma nga olukiiko terunnaba kutuula. Ebyokutesaako ebisingayo obukulu bye birina okuteekebwa waggulu ku agyenda okwewala okuleka nga tebiteeseddwako singa obudde buba tebumaze ku nkomerero. Ebikulembera olutuula lw’olukiiko omukubiriza(Sentebe) by’alina okumanya mulimu:

a) Okwogeramu n’omuwandiisi wo. Kakasa okuva eri omuwandiisi w’olukiko nti buli kintu ekyetaagisa we kiri .

b) Okwekenneenya emiramwa egyateesebwako. Kebera n’obwegendereza ebbago ly’emiramwa egyateesebwako (minutes) ezikuweereddwa omuwandiisi era okole okukyusa kwonna okwetaagisa.

c) Ebiruubirirwa n’ebiruubiriro. Sentebe/Omukubiriza w’olukiiko omulungi alina okulaba nga olukiiko lutuuka ku biruubirirwa n’ebiruubiriro byalwo . Era alina okulaba nga ’ayambako mu kunnyonnyola we kyetaagisa, n’awabula, n’okuzzaaamu olukiiko amaanyi.

d) Okukuuma ebiseera. Tandika olukiiko ku kiseera ekirage. Okukolera ku biseera kiba kiwa ekitiibwa abo abazze amangu ku kiseeera ekyasalibwawo okutuukirako n’okulaga abatuuka ekikeerezi nti okujjanga ekikeerezi tekigumiikirizibwa . Buli lw’otandika nga obudde obulagaane buyiseeeko n’olinda abatuuka ekikeerezi oba obongera kyagaanya okujjanga nga obudde buyise.

e) Entandikwa y’olukiiko:

(i) Okweyanjula.

Nga olukiiko lutandika, omukubiriza alina okukola bino: Weyanjule era olamuse bonna wamu . Luno bwe luba nga lwe lukiiko olusoose oba olwa buli mwaka saba bamemba buli omu yeyanjule kubanga wayinza okubaawo bamemba abapya abatakumanyi oba abatamanyi bamemba bannabwe.Laba nga buli omu mukyamufu bulunji.

(ii) Okuyita mu byokutesaako (agyenda).

Yita mu egyenda yonna mangumangu. Mu kukola kino laba nga bamemba bonna bagiyingiza mu bwongo bwabwe mu kaseeera kano. Kino kiwa bamemba obusobozi okutegeera emiramwa gyonna egiri mu agyenda n’okusaba okukyusaamu we kyetaagisa .


(iii) Ebyatuukibwako.

Yita mu byatuukibwako emabega nga bw’okulisa bamemba awasaaanidde.


(iv) Okusonjola emiramwa.

Ku buli ntandikwa ya buli mulamwa oguli mu agyenda , kola okusonjola ( okunnyonnyola omulamwa mu bumpimpi) . Kino kiyamba okulaba nga buli omu agutegeera bulungi , kisobozese buli omu okugutesaako. Nnyonnyola okusalawo okwetaagisa, obubaka oba ani aweereddwa obuvunaanyizibwa okukola ku nsonga eziteesebbwako.

(v) Jukiza abalina obuvunaanyizibwa bwe baweebwa okwanja we batuuse.

Jjukiza bamemba abalina kyebaasabibwa okuteekateeka obasabe babisome nga olukiiko lutandika kubanga bw’otokola kino , omulundi omulala bw’onobagamba okubisomera olukiiko bajja kulowooza nti tebikyetaagisa .

(vi)Okwewala okulandagga.

Laba nga olukiiko lugoberera enkola ewuliriza buli omu mu kiseeera ekyetaagisa. Okuteesa okuwanvu kwetaagisa okufunza ebirowoozo ebikulu awatali kuva ku mulamwa na kudda mu bitali mu agyenda.

(vii) Okugonza mu miramwa emijja.

Laba nga bamemba bonna bategeera enjogera empya yonna eba ekozesebwa. Tolowooza nti buli omu ategeera kyenkanyi.

(viii) Okulonda abokutuukiriza ebikkaanyiziddwako.

Laba nga ebikulu byonna bikkaanyizibwako era ne walondebwawo abantu kinnoomu abaweebwa obuvunaanyizibwa okubikolako mu kiseeera ekigere basobole okutegeeza olukiiko ki kyebatuseeeko. 

(ix)Okujuliza emiramwa emikulu egiba gizze .

Laba nga emiramwa egitakkanyiziddwako  oba egitali ku agyenda naye nga gy’ogeddwako mu lukiiko gijulizibwa okuteesebwako okuddako 


Omukubiriza w’olukiiko (Ssentebe) omulungi yetaagisa ki?

a) Alina okuba ng’ategeera bulungi ensonga n’emiramwa egiri mu ddiiro era n’awuliriza bulungi buli kiteeso kya buli muteesa.

b) Okuba n’obusobozi okulaba nga abateesa tebalandagga kuva ku nsonga eri mu ddiiro, okuziiyiza abo abadda mu biwedde okuteesebwako .

c) Okulaba nga buli memba wa lukiiiko afuna ekyagaanya kye kimu n’abalala okuteesa n’okukkaatiriza ensonga awatali kumuvuvuba .

d) Okutwala buli kirowoozo kya muteesa(memba) nga ekirimu ensonga(ekikulu) awatali kyekubira.

e) Obuteekubira lubege.

f) Okuba n’obusobozi okuwandiika wansi ebiteeso ebiba bikoleddwa mu lukiiko yadde nga omuwandiisi kino y’akikola mu butongole.

g) Omukubiriza alina okulaba nga buli memba awaayo ebirowoozo ebiyamba awatali kuva ku mulamwa na kumala gawakana muwawa.

h) Omukubiriza alina okuwumbawumba n’otangaaza mu ngeri etegeerekeka emiramwa egirabika nga gibaddeko okukuba empawa .

i) Alina okulaba nga ebiruubirirwa by’olukiiko bituukibwako mu kiseera ekigere era ebisalibwawo ne bitegeezebwa buli muntu alina okumanya. Ebiseera eby’okukubaganya ebirowoozo ku buli mulamwa oguli mu agyenda birina okusalibwawo okusinziira ku bukulu bw’omulamwa.

j) Omukubiriza w’olukiiko alina okukozesa enneeyisa ye n’enjogezamubiri(body language) okukubiriza olukiiko obulungi era aleme kwekkiriranya. Omukubiriza kyokka alina okwegendereza obutaleetawo kakyankalano , naddala nga avuvuba abogezi abamu mu ngeri eya kyekubira.

k) Ekisinga okulaga obumanyirivu oba obutendeke kwe kuteesa okujjayo ebirowoozo eby’enjawulo awatali kulumba muntu yenna.Kino kiba kitegeeza nti omukubiriza w’olukiiko alina okulaba nga olukiiko luteesa ku miramwa oba ebirowoozo , so si nneeyisa ya muntu kinnomu .

l) Abateesa okusobola okubajjamu ebirowoozo eby’omugaso, olina okulaga buli omu nti oli mwenkanya , ateekubira era awuliriza buli omu . Olukiiko lufuna amaanyi agava mu kukwatira awamu awatali buli omu kwagala bwagazi kuteesa mu ngeri ey’okuvuganya.

m) Nga omukubiriza w’olukiiko , olina okumanya nti abantu bonna abalulimu bamanyi enzirukanya yalwo , baleme kutiisibwatiisibwa bukwakkulizo olukiiko kwe lutambulira , ekintu ekiyinza okuleetawo emiwaatwa mu kwenyigira mu lukiiko obulungi .Abantu abatamanyi ki kigenda mu maaso kiyinza okubazibuwalira okuteesa obulungi oba okwogera mu bannabwe . Omukubiriza wano alina okuvaayo okugonza mu miramwa buli omu agitegeere bulungi ate awe buli omu ekyagaanya okuteeesa .


II. Okuteekateeka Emikolo


(a) Obwetaavu bw’okukola Enteekateeka

Buli kintu kyonna ekikolebwa omuntu kalimagezi(alina amagezi), kyetaaga okuteekateeka nga tekinnaba kubaawo . Enteekateeka yonna ebaamu enkwanaganya y’ abantu, ebintu, n’ensimbi .Okuteekateeka emikolo kitandika na:

• Kunokoolayo n’okusengeka ebintu ebyetaagisa byonna

• Okulaga ebiruubiriro(objectives)

• N’okuteekawo ebitongole n’obukulembeze obukwanaganya emirimu mu buli kitongole awamu n’ebitongole byonna.

• Okusonjola n’okugabanya obuvunaanyizibwa n’obuyinza

 Okuteekateeka  kiyamba :

• Buli kintu okukolebwako abantu abalondemu abasinga okuba n’obusobozi ku kyo.

• Okukozesa ebintu mu kigero ekyetaagisa awatali kudibuuda oba kukola kitamala.

• Okutuukiriza ebiruubiriro

Ebintu ebikulu mu kuteekateeka emikolo:

(i) Okunokolayo emirimu: Nokoolayo emirimu eginaakolebwa okusinziira ku nteekateeka ezibaddewo.

Okuteekawo ebitongole:

Okunokoolayo emirimu nga kuwedde,   emirimu egigwa mu kiti ekimu giteekebwa mu kitongole kye kimu.  Eky’okulabirako ekitongole eky’okufumba mwe mubeera okuwaata, enku, okukima amazzi, n’ebirala . Ate ekitongole eky’okwaniriza abagenyi (protocol) mwe mubeera  okutuuza abagenyi ,  okufukirira abagenyi n’okugabula kyokka okugabula nakwo kulina okubaako akukwanaganya naye nga ali wansi wa kitongole ekyaniriza abagenyi n’okubatuuza.


(ii) Okukwanaganya ebitongole: Ebitongole bwe bimala okuteekebwawo, okukwataganya oba okukwanaganya ebitongole bino kye kiddako, ebitongole bino bisobole okukola mu ngeri ekwatagana.

(iii) Okugabanya emirimu:

Ekiddako kwe kugabanya emirimu mu bantu ab’enjawulo, omuli okusonjola obuyinza bwa buli mukulembeze wa kitongole n’obuvunaanyizibwa okusinziira ku busobozi bwabwe okulaba nga buli kimu kitambula bulungi.

(iv) Okusonjola obuvunaanyizibwa :

 Buli mukulembeze wa kitongole na buli muntu alina okumanya ani gw’ajjako ebiragiro era ani amulinako obuvunaanyizibwa.


(b)  Okulamusa  Abagenyi


Ku mulembe guno , waliwo abaana abakula nga tebamanyi kwaniriza bagenyi. Okwaniriza abagenyi kyetaagisa okwawula okulamusa n’okubuuza nti mwasuze mutya oba musiibyweyo mutya. Omuzadde omugunjufu alina okuyigiriza abaana be okwaniriza abagennyi awaka ne ku mikolo nga okwanjula. Omwana alina okumanyisibwa enjawulo wakati w’okulamusa n’okubuuza. Singa oli akugamba:

 Wasuze otyanno ? mwasuze mutya ?

 Osiibye otyanno ? Musiibyeyo mutya

 Tusanyuse okukulaba ? N’akuwa (n’akulaga) aw’okutuula .Bw’amala n’atandika “eradde……” Njawulo ki eri mu kubuuza okw’emirundi esatu gino ? Njawulo ki eri wakati w’okubuuza n’okulamusa ? Ddi wekyetagisiza okulamusa ….?


(c) Okugabula abagenyi


Empisa ezigobererwa mu kugabula abagenyi gwe mutindo ogugobererwa  mu ngeri    y’okugabulamu abagenyi eby’okulya awaka oba ku mikolo. Ennaku zino baagonzaamu kubanga ebintu bya ssente , waliwo n’okusimba olunyiriri lwa “bbufe”.
 Wetaagisa okubaawo okubangula abaana okuva nga bato mu ngeri y’okugabulamu    abagenyi enteeketeeke. Okukwanaganya engabula kiyamba nnyo mu  nteekateeka y’emikolo , ka gibe gya bbufe oba nedda,  okulaba nga abo abagabula  tebalina gwe balekayo tebagabattuka na kusuula masowani oba okutomeregana ate nga  bwe wabaawo abagabulwa abaluvu tebatabulatabula ngabula. 

Okugoberera enteekateeka kiyamba okumatiza abagenyi n’okubalaga okusiima kw’oyo aba abayise ku mukulo.

Nga abantu bagabulwa kiba kyetaagisa okutandika n’omugenyi omukulu, n’ozzaako abakyala n’abaana , abaami, n’okusembayo ye nnannyinimu , akyazizza .

Mu ngeri endala bwe waba nga tewali mugenyi mukulu , abagabuzi bayinza okusalawo okutandika n’abakyala n’abaami abasingayo obukulu, abaana, abakyaala abalala, okudda wansi ku bavubuka. Ekigaana okutandika n’abaana abato obutereeevu kwe kubayigiriza obugumiikiriza n’okulindirira. Oluusi abateesiteesi bayinza okusalawo okuva okumu awatali kubuusa muntu mmere. Kino nakyo kirina bingi bye kiyamba.

Emmere n’ebyokunywa bitera kugabulwa okuva ku kkono olwo okufuluma ne kuba ku ddyo naye era kino kiyinza okukolebwa mu ngeri endala okuva ku ddyo okudda ku kkono.

Empisa ez’Ebijjulo eby’obuwangwa obw’enjawulo


Eddiiro kitegeeza ekisenge omuliibwa emmere awaka oba mu kitongole ekirala kyonna. Waabangawo ebijjuro eby’emikolo gy’ekinnansi nga embaga n’ okwabya ennyimbe ate era ne wabaawo ebijjulo ebitongole mu bisaakate by’abaami nga bakyazizza Kabaka oba abaami ba Kabaka mu butongole. Ebijjuro ebitingole n’ebyemikolo gy’ekinnansi byonna byalina engabula ennambulukufu okusobola okulaba nga buli muntu atuukibwako eby’okulya mu bukulu bwe .


Ku mulembe guno era waliwo n’ebijjulo mu maka , ku mikolo oba ebitongole eby’njawulo . Ebijjulo ebitambula n’omulembe omujja naddala ebijjulo ebitongole (formal meals), ebisinga nga bigabirwa ku mmeeza ey’eddiiro (dining table) birina empisa oba nneeyisa ebigenderako:

Ebijjulo bya mirundi ebiri . Waliwo :

(i) ekijjulo eky’okutuula wansi

(ii) Ekijjulo ekyo ku mmeeza.


Obutafaanana kijjulo kizungu ekikwatirwa waggulu ku mmeeza , ekijjulo ekiganda kyalinga kya kutuula wansi ku lwaliiro.


I. Ekijjulo Ekiganda:

Emmere esaanikibwa mu muwumbo gwe basiba mu ndagala mu kibbo. Mu kibbo basooka kwaliriramu ebyayi bibiri nga bya kasaalaba olwo ne balyoka bateekamu olulagala omwokusiba emmere. Nga tebannaba kusiba mmere eno n’ebyayi bino, kungulu kw’emmere bateekako obulagala obusalemu obuyitibwa “obuwuuwo”. Emmere bw’eba ya kunyiga, ng’etuuse okunyiga obuwuuwo basooka kubujjako ate bwe bamala okuginyiga ne babuzzaako ne baddamu ne basaaniika okujizza ku muliro eboobere. Obuwuuwo buno bwe bukozesebwa okubega nga emmere ejjuddwa.

Emmere ejjulirwa mu fumbiro n’ereetebwa mu ddiro nga eteekebwa ku kiyitibwa olwaliiro oba olujjuliro. Olwaliiro lukolebwa akawempe k’emmere akakolebwa mu bitoogo n’zimu ku ndagala eziba zasaanise emmere ezaalirirwa ku kawempe k’emmere wakati mu ddiiro.

Ekijjulo kino ekiganda kibeera wansi ku lwaliiro; si ku mmeeza. Wansi wasookawo akawempe akaluke obulunji mu bitoogo .Kuno kwe kuteekebwa olwaliiro olw’endagala eziba zisaaniise emmere . Bwe gaba amatooke guba muwumbo gwa matooke amanyige ate bw’eba emmere endala nga lumonde, muwogo, endaggu, kyetutumula , n’endala nayo ebeera mu muwumbo ogutali munyige.

Okufanana n’emmeeza enzungu, ekijjulo ky’olwaliiro nakyo kibaako amateeka agakifuga , omuli :

 Abato obuterumaruma oba okwogera nga balya  Okutuula obulungi nga tebayigulizza yadde okusimba olukono.  Okulya awatali kuswankula yadde okwanguyiriza. Omuntu alina okugaaya emmere mpolampola esobole okukolebwako obulungi mu lubuto nga ekutusekutuse bulungi.

 Okwebaza Katonda mu kutandika okulya  Okufumbya.Kino kitegeeza kwebaza afumbye emmere nga omalirizza okulya.  Obutaleka balala ku lujjuliro nga omaze okulya.


Nga bwe tulabye , ekijjulo ekiganda tugenda kulaba n’empisa ezigendera ku bijjulo eby’obuwangwa obw’enjawulo naddala obw’abazungu obw’ekijjulo ekyo ku mmeeza naye katusookere ku nteekateeka ya mmeeza enzungu.

Ekijjulo Ekizungu eky’Emmeeza

Ku mulembe guno bwe twogera ku kijjulo tutegeeza eky’ekinnansi n’ekyo eky’enkola ey’ekizungu eyo ku meeza.

Empisa z’ekijjulo kyo ku mmeeza tetuyinza kuzeewala bwe tuba nga tuli ba kutendeka baana baffe okuba nga buli wamu bagyaawo n’okubafuula abatabanganyi obulungi. Ebijjulo byo ku mmeeza tubitunuulira mu nteekateeka z’emmeeza y’ekijjulo satu :

(iii) Enteekateeka y’emmeeza ey’ekijjulo esookerwako

(iv) Enteekateeka y’emmeeza ey’ekijjulo entongole

(v) Entekteeka y’emmeeza ey’ekijjulo etali ntongole.

Nga bwekyetaagisa okusomesa abaana empisa ez’ekijjulo kyaffe ekiganda ekikwatirwa ku lwaliiro ng’abantu batudde wansi, kyetaagisa nnyo mu Nsi ey’akakyo kano era okubayigiriza empisa ezigendera ku kijjuliro ekizungu ekyo ku mmeeza baleme okwetya nga bali mu mbeera ey’ekijjulo kino ekizungu .

Enteekateeka y’emmeeza ey’ekijjulo (ekizungu) , kintu ekyetaagisa ennyo okuyigiriza abaana okuva nga bato mu bulamu obwa bulijjo bwe kiba kisobose oba mu luwummula kubanga amasomero gaffe agasinga mu Uganda kino tegakiteekako ssira so nga ate getaagisa .

Omuzadde omuganda ow’omulembe guno kimukakatako okusomesa abaana be empisa ezigendera ku kijjuliro ekyaffe eky’obuwangwa kyokka olw’okuba omulembe guno gwa kutambula na kubeera mu mbeera ey’empisa ez’abazungu ezikola mu butongole mu bijjulo by’amakampuni , obubaga , ne ku bugenyi mu nsi z’abazungu , kino kyongera okuyamba abaana obuteetya n’obutatiisibwatiisibwa kalonda gwe baba basanze ku mmeeza y’ekijjulo ekizungu.

Okuteekateeka emmeeza y’ekijjulo kyetaagisa nnyo okumanyiiza abaana baffe basobole obutemotyamotya n’okubeera abakujjukujju wakati mu kuteekateeka emikolo n’okugabula abagenyi awatali kwetya.

Kyokka okuyigiriza kuno olina kukukola mu mitendera okusinziira ku myaka gy’omwana era olina okumanya ki omwana ky’asobola okukolako okusinziira ku myaka gye. Omwana ow’emyaka etaano aba asobola okuteekateeka napukini, wuuma, n’ebijiiko.

Olina okumanya nti mu kuteekateeka emmeeza ebigobererwa kumpi bye bimu naye bikyukamu katono okusinziira ku buwangwa bw’abazungu obw’enjawulo naddala mu bulaaya.

Bw’oba nga oli mweteefuteefu okuyigiriza abaana bo okutekateeka mmeeza, kyetaagisa ggwe osooke okikole okubalaga bwe bagiteekateeka . Yogerera buli kintu nga bw’oba okisengeka ku mmeeza. Bw’omala bagambe bakole ky’obadde okola nga bw’obowabula era nga bw’obebaza ku buli kye balaga nga bakitegedde bulungi.

Empisa ez’ekijjulo ky’emmeeza

Okukung’aana awamu ku kijjulo kalombolombo ka lubu lwa muntu akakadde ennyo. Akalombolombo kano kakwetaagisa okubaako empisa z’ogoberera nga oli ku kijjulo n’abalala , awaka, mu kitundiro ky’emmere, ku bugenyi, oba ku mukolo gwonna . Kino kiyamba okufuula ekijjulo ekinyuvu singa buli muntu akiriko aba agoberedde empisa ez’obuntu bulamu , okusinziira ku bulombolombo obukkaanyizibwako okuba obusaanidde mu ntabaganya.

Okuteekateeka emmeeze okusookerwako.

Kirungi okumanya ebigobererwa okuteekateeka emmeeza y’ekijjulo kyokka olw’okuba amaka n’amasomero gaffe agasinga kino tegakiteekako ssira , bantu bangi tebamanyi ngeri ki kino gye kikolebwamu. By’olina okusooka okwebuuza mulimu:

(i) Emmeeza etukula ? Longoosa emmeeza nga okozesa eddagala oba ekisimuula ekiyonjo okusinziira ku matiiriyo y’emmeeza yo. Laba nga ojja ku mmeeza buli kintu ekiyinza okukukunala mu kitambaala ekyalirirddwa ku mmeeza.

(ii) Emmeeza eriko ekitambaala.?Yalirira ekitambaala ku mmeza. Ekitambaala kirina okweyala obutereevu ku mmeeza nga kikka kyenkanyi ku buli luuyi olw’emmeeza

(iii) Bintu ki bye wetaaga mu kuteekateeka emmeeza y’ekijjulo ? Ebintu bye wetaaga mubeeramu : • Amasowaani g’emmere

• Wuuma z’emmere

• Ebijiiko bya supu

• Obwambe bw’emmere

• Wuuma za saladi

• Obusowaani bw’emigaati

• Giraasi ez’ebyokunywa

• Napukiini

• Obuso

(iv) Amasowaani n’amagiraasi biteekebwa wa mu buli kifo ? Teeka amasowaani n’amagiraasi butereevu mu buli kifo buli kimu we kirina okubeera . Essowaani y’emmere giteeke butereevu mu maaso g’ekifo wennyini . Esowaani y’omugaati eteekebwa waggulu ku kkono w’essowaani y’emmere ate giraasi z’ebyokunywa ne ziteekebwa waggulu ku ddyo w’essowaani y’emmere.

(v) Ebyuma biteekebwa wa ? Ebyuma, ntegeeza wuuma, obwambe, n’ebijiiko butereevu buli kimu we kirina okubeera. Wuuma eteekebwa ku kkono w’essowaani y’emmere ; akambe n’bigiiko biteekebwa ku ddyo w’essowaani y’emmere . Akaso, oludda oluliko obwogi lwe lutunula mu sowaani ; akaso ka bbata kateeke ku sowaani y’omugaati nga okakiseeko , nga awasala tewatunudde mu sowaani ya mmere.

(vi) Ate napukiini ? Napukini gizingemu. Oyinza okugiteeka ku ssowaani y’emmere oba ku ddyo wa wuuma.

(vii) Oyinza okutona ku mmeeza y’ekijjulo ?. Oyinza okutonatona ekisaanidde kyokka tofuutiika nnyo kubanga olina okuleka amabanga agamala okubeeramu ebibya omugabirwa eby’okulya. (viii) Ntuula ki esanidde ku mmeeza ey’ekijjulo ? Kya bugunjufu okuteeka obukokola ku mmeeza yadde okugogola amaanyo nga oli ku mmeeza ?

Okuteeka mu nkola enteekateeka y’emmeeza

a) Tandika nga oteeka esowaani y’emmere mu maaso ga buli kifo ekiri ku mmeeza. Essowaani y’emmere erina kuba mu makkati gennyini aga buli kifo era nga eri yinsi nga emu okuva ku lubalama lw’emmeeza.

b) Teeka wuuma y’emmere ku kkono w’essowaani y’emmere nga akaso k’emmere kali butereevu ku ddyo w’essowaani y’emmere. Singa ekijjulo kijja kubaako supu,teeka ekijiiko kya supu ku ddyo w’akambe k’emmere. Wuuma za saladi zo ziteekebwa ku kkono wa wuuma y’emmere.

c) Giraasi z’amazzi ziteekemu amazzi ebitundu bisatu-bya-kuna ebya giraasi. Bw’omala giraasi zino oziteeke waggulu w’akaso k’emmere mu buli kifo. Bw’oba onogaba ekyokunywa ekirala nga soda oba viini(wine), giraasi zino zisigala nkalu okutuuka abagenyi bonna nga bamaze okutuula era zirina kuteekebwa ku ddyo wa giraasi z’amazzi.

d) Amasowani g’emigaati gateeke waggulu wa wuuma mu buli kifo ku mukono ogwa kkono w’essowaani y’emmere. Yadde nga essowaani y’omugaati si ya tteeka ku buli kijjulo , yetaagisa era abagenyi bayinza okujikozesa mu ngeri emu oba endala singa eba w’eri. Akambe ka bbata kayinza okuteekebwa ku ngulu kw’esowaani y’omugaati

e) Ekisembayo , ku nteekateeka y’emmeeza yo gattako napukiini nga ezingidwamu ekitundu kimu kya kubiri okukola enkula eya kyesimba(rectangle) oba eya mawetasatu(triangle) era napukiini eno eyinza okuteekebwa bulungi ku ngulu kwa sowaani ey’emmere.

f) Bw’oba nga otandise okukozesa ekiriisa (sirverware,) tokizza ku meeza w’okisanze naye.

g) Bw’oba omaze okulya galamiza akambe ko ne wuuma wamu ku sowaani nga obugalobwa wuuma butunudde waggulu. Laba nga obiteekako bulungi bireme kugwa nga omuweereza abijja ku mmeeza. Tandika okulya nga buli omu ku mmeeza amaze okugabulwa . Mu maka agamu lindako si kuba nga omukyaza ayagala musooke musabire ekijjulo. Wewombeekeko nga ekijjulo kiri mu kusabirwa.


Enkozesa ya Napukiini


Napukiini si ya kusangula ntuuyo oba ennyindo yadde okusiimuula essowaani, emmeeza, oba ebiriisa ebirala! Gyalirire ku laapu(ebisambi) ogireke awo. Singa oba ova ku mmeeza, gizingeko ogiteeke ku ludda olwa kkono olw’essowaani yo .

Enkozesa ya naapukini ku mikolo ya kwegendereza nnyo. Erina kusiimula ku mimwa gyokka kyokka terina kulaga kuddugala mu kukola kino. Kino kiba kiraga nti emimwa gyo gibadde migyama . Olina okukimanya nti ekimu ku biigendererwa y’enneeyisa ku lujjuliro oba emeeza y’emmere kwe kukuuma obuyonjo.

a) Okusooka. Amangu ddala nga wa katuula, jja naapukiini okuva w’ojisanze mu kifo kyo , gyanjuluze, ojiteeke ku laapu yo( waggulu ku bisambi byo). Singa naapukini yo egwa wansi ku mukolo omutongole ennyo, togirondawo naye temya ku omu kwabo abagabula akufunire endala.

b) Nga omalirizza okulya. Bw’oba ova ku mmeza nga omaze okulya, teeka naapukini okuliraana essowaani yo. Togivungavunga mu ngeri yonna. Naapukini era terina kulekebwa mu ntebe .

Nga omalirizza okulya, teeka wansi ku sowaani y’emmere akambe ne wuuma nga bikoze akasaalaba okulaga nti omaze okulya. Buli lw’omala okukozesa ekiriisa kyona , tokizza ku meeza we wakisanze naye kiteeke ku sowaani yo ey’emmere oba mu kibya.

Ebyokunywa

Teeka ebiriisa (utensils) byo byonna wansi ku sowaani yo olyoke onywe eky’okunywa kyo. Singa omuntu asaba okubbongesa amagiraasi , bbongesa(toast).

Obutakunuukiriza

Saba emmere ekuweerezebwe mu kifo ky’okukunuukiriza ekibywa mweri . Singa ekibya kiba kiyisibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala , tokwakkula mmere kuva mu kibya kino naye linda okutuuka nga oli amaze , olyoke osabe emmere okukuweerezebwa .

Obutaswankula

Gaaya emmere yo nga omumwa gwo ogubisseeko okukuyamba obutaswankula era toyogera nga emmere ekuli mu kamwa ate era teeka ekitiibwa mu banno abali ku kijjulo.Tokwaata mu masowaani gaabwe kugajjamu mmere.

Ebirala by’olina okumanya

Ekisookerwako kwe kumanya buli kikozesebwa ku mmeeza ey’ekijjuro n’engeri gye kikozesebwamu . Abantu banji nnyo baba n’okutya nti bajja kubuzaabuzibwa ebikozesebwa mu kulya ebiba bibateereddwa mu maaso ku mmeeza ey’ekijjulo . Mubutuufu mu bifo eby’omulembe bakuteeka mu maaso ebikozsebwa okulwa eby’enjawulo , kino ne kiba nga kiyinza okukubuzaabuza ku ki ekyokukozesa .

Empisa ennungi ekwetaagisa okukitwala nti omugabuzi engeri gy’asengesemu ebikozesebwa ku mmeza y’ekijjulo eba eraga buli kikozesebwa kye kirina okukola. Mu bazungu ekijjulo kiyinza okubeeramu emitendera egiyitibwa “courses“ . Buli mutendera bwe guggwa nga baleetayo eky’okulya ekirala era n’ebikozesebwa by’omutendera guno nga bijjibwawo nga ate bakuleetera ebikozesebwa eby’omutendera oguddako.

Olumu ojja kusanga mu maaso go essowaani nga ku ludda olumu wateereddwawo obujiraasi bw’ebyokunywa . Essowaani eno eyitibwa “essowaani eweereza”( "service plate," ) kyokka eno teba ya kuliirako. Ejjibwawo nga eby’okulya eby’omutendera ogusooka bituuse ku mmeeza oba si ekyo ekibya (dish) kiba kituuzibwa ku ngulu kwayo

(i) Enjagazakulya (appetizer). Enjagazakulya eba mmere oba eky’okunywa ekisitimula (stimulant) okwagala okulya (apetayiti) era egabulwa nga okugabula kutandika .Wano okozesa ka wuuma akatono akaweteddwa mu jjiiko ya supu . Wano we wokka etteeka ly’okuteeka wuuma ku kkono w’essowaani we litakolera .

(ii) Supu. Manyirawo nti ekijiiko ky’olaba ku mutendera guno kiba kya supu yekka .

(iii) Saladi. Wano oyinza okukozesa akaso oba olugalo olunene ku wuuma okusobola okusala mu saladi ennene nga tokozesezza kaso.

(iv) Ekyenyanja. Okulya ekyennyanja, wabaawo akaso ne wuuma. Wuuma ey’ekyenyanja etera kuba nnyimpiko okusinga eyo ey’ennyama.

(v) Nnyama y’ente. Wuuma n’akaso ebiba wakati biba bya kukozesebwa ku mutendera gwa nnyama.

(vi) Desaati. Desaati kiba kya kulya oba eky’okunywa ekigabibwa nga okulya kuwedde. Muno mulimu : keeki, bisikwiiti, ekibala, oba ayisikuliimu. Desaati kiba kintu ekiwomerera.

Ebikozesebwa ebikomekkereza amasala era bireetebwa wamu ne desaati.Bwe kiba kyayi oba kaawa akagiiko ka kyayi kabaako era kateekebwa ku kasoosi. Bwe kiba ekirala ne wuuma eyinza okubeerako.

Enteekateeka ya Emmeeza ey’Emitendera (Courses)


Engeri gy’oteekateeka emmeeza

Nga bwe tulabye, singa oba olina omukolo ogw’enjawulo wetaaga okuteekateeka emmeeza . Oyinza okwagala okugabula abagenyi bo mu mitendera(couses) egy’enjawulo.

  Ebimu ku bifuula omukolo omunyuvu mubaamu enteekateeka y’emmeeza . Osengeka otya emmeeza okusobola okusanyusa abagenyi bo ?  Olina okugoberera obukwakkulizo  bw’enteekateeka y’emmeeza  naddala ng’ekijjulo kirimu emitendera  egy’enjawulo osobole okwewala okujjuza emmeeza .

Nga bw’okola ku kijjulo ekitali kya mititendera era na wano :

a) Yalirira olugoye ku mmeeza naddala olwa kkala enjeru

b) Kung’aanya ebiriisa(cutlery) ebimala abantu abali mu nteekateeka yo.

c) Entebe eziri ku mmeeza zisengeke bulungi okulaba nga zonna ozawudde kyenkanyi buli emu okuva ku ndala.

d) Zinga naapukiini oziteeke mu makkati g’essowaani z’ekijjulo.

e) Teeka obwambe ku mukono kw’essowaani ogwa ddyo . Ekitundu ky’akambe ekyogi kye kirina okutunula eri essowaani . Obwambe buyinza okuba obusatu eby’okulya bwe bibaamu emitendera(courses) egy’enjawulo.

f) Wuuma ziteeke ku mukono ogwa kkono . Oyinza okuteekawo wuuma ssatu , emu ya mutendera ogusooka, emu ya mutendera ogw’okubiri, n’endala ya mutendera gwa saladi.

g) Ebijiiko bya supu biteeke ku ddyo w’obwambe . Akajiiko ka desaati ke kabeera ku mutwe gw’essowaani.

Amagiraasi gasengeke nga bwe galina okukozesebwa waggulu w’obwambe nga ggiraasi ey’amazzi y’esooka ku kkono , n’ozzaako eya viini eya kasaayi(red wine) , eviini enjeru, n’osembyayo giraasi eza kyampeeni.

h) Ebyuma by’okozesa ku mmeeza bisinziira ku mitendera gy’ebyokulya (courses) ebiba bigabulwa . Singa omanya nti oli wakugabula emitendera 2-3, olina okuteekateeka , ebiriisa ebimala obulungi okusinziira ku muwendo gw’abantu b’oba oyise. Singa emitendera gisukka mu esatu , ojja kuba wetaaga okuleeta ebiriisa ebijja buli lw’oleeta omutendera omulala nga omutendera ogusookera ddala guvuddewo.

i) Ojja kwetaaga wakati w’ejjiraasi 2-4 : emu ya mazzi, emu oba bbiri za viini ,ate nga emu nga ya “kyampeeni “ oba viini ya desaati. Eggiraasi ezetaagibwa :

 Giraasi y’amazzi  Giraasi ya viini enjeru  Giraasi ya viini eya kasaayi

j) Ebiriisa (cutlery) bisengekebwa okusinziira ku nkozesa yabyo bwe biti :

• Wuuma ya saladi : eba wabweeru ku kkono w’essowaani • Wuuma ey’emmere; ebeera munda ku kkono w’essowaani . • Akambe ak’okusazisa emmere ;munda ku ddyo w’essowaani. • Akaso ka saladi ; mu makkati ku ddyo w’essowaani . • Ekijiiko kya supu ; wabweru ku ddyo w’essowaani. • Akaso ka bbata : ku essowaani y’omugaati . • .Wuuma ya desaati : munda waggulu w’essowaani . • Akajiiko ka desaati : wabweru waggulu w’essowaani. • Obwoji bw’obwambe bwonna bulina okuba nga butunudde mu ssowaani. .

Okuteekateeka kiyamba nkozesa ya kalonda ow’enjawulo. Kalonda(detair) ono bw’asengekebwa obulungi n’ekijjulo kitambula bulungi .

Okuyigiriza enteekateeka ey’abasooka(abato) nga myaka 4-5


Okozesa otya akaso, wuuma, n’ejjiiko?

Ebigobererwa mu kukozesa akaso, wuuma, n’ejjiiko bigenderera okulaba nga omuntu tafuna kubuzaabuzibwa na kwetya mu nkozesa yabyo. Ekikulu kwe kumanya enkwata y’ebikozesebwa (utensirs) mu kulya.

a) Enkwaata y’ebikozesebwa mu kulya. Ejjiiko ne wuuma bikwatibwa mu ppeto (angle) eriri wakati w’obugalamivu (horizontally) n’obwesimbu(vertically).

b) Enkola ya matenkane . Okusooka buli kyuma ekikozesebwa mu kulya kya kwatibwanga mu mukono gwa ddyo , olw’okuba abantu abasinga gwe bakozesa. Kino kireetawo obuzibu nga omuntu alina okusala mu mmere yetaaga akambe ne wuuma , naddala okusala ennyama okusobola okujjamu ekifi ekyangu okugayibwa mu kamwa. Kino nga kibaddewo, wuuma ekwatibwa mu mukono gwa kkono enyigire ekifi ky’ennyama wansi ku ssowaani okusobozesa omukono ogwa ddyo ogulimu akambe okusala mu nnyama eno. Nga ekitundu oba ekifi ekisobola okugaayibwa kisaliddwa , olwo omuli ateeka akambe wansi ku ssowaani olwo n’azza wuuma mu mukono ogwa ddyo okusobola okukozesebwa okuteeka ennyama esaliddwa mu kamwa. Kino kye kiytibwa matenkane (zig-zag style).

c) Ekingereza oba kinnabulaaya. Ekingereza oba kinnabulaaya ("Continental,) y’engeri y’okukozesa akaso ne wuuma mu ngeri ennyangu ekozesebwa ennyo ebulaaya ne mu Amerika. Wano wuuma ebeerera ddala mu mukono gwa kkono era n’ekozesebwa okulya. Kino kitegeeza bwe kiba kyetaagisa okusala ennyama tewetaagisa kukyuusa by’okozesa kubanga wuuma eba eri ku ludda lwa kkono ate nga akaso kali mu ddyo, ekintu ekyetaagisa okusala obulungi eky’okulya.


Empisa ezo ku Kijjulo ky’Emmeeza

Ebimu ku bizibu okusalawo nga obadde olya mulimu:

• Nkola ki nga ntadde ekyokulya mu kamwa kyokka ne kinnema okumira oba ne mpulira nga saagala ku kimira ?Kisindike n’olulumi lwo ku wuuma gy’osembezza okumpi ku mumwa gwo, olwo osse wuuma wansi ku ssowaani yo , Kino kiyamba obalala obutakifaako kubanga eyo y’entambula ya wuuma wakati w’essowaani n’omumwa.

• Nga oli ku mmeeza entongole tokwatanga mu mmere ya masavu oba esaabaanye woyiro na ngalo zo okujjako nga nkalange.

• Sena supu n’ekijiiko n’obwegendereza okulaba nga takuyiikako(takuyiikira) . Oyinza okwewetamu katono okulaba nga singa aba ayiise tatuuka ku ngoye zo.

• Wegendereze ebirungo ne supu . Sooka olegeko kubanga oyinza okubibunya emmere yo yonna ne bitakuwoomera era emmere yo yonna ne bigyonoona.

• Teweronda mmere mu manyo nga okyali ku mmeeza ya kijjulo (dining table) . Ky’okola oyinza okunywa ku mazzi n’onyumunguza mpola mu kamwa okujjamu emmere eba ewagamidde mukamwa n’amazzi gano nga tonnaba kugamira kyokka bw’owulira nga oyagala kukozesa buti bwa mannyo(tooth pick) va ku mmeeza oddeko ebbali okukola kino.

• Singa ebyokulya ebimu bitoolebwa na buti bwa mannyo , tozza kati ko akamaze okukozesebwa ku ttule . Kakanyuge mu kasero k’ebikozeseddwa oba si ekyo sigala nako okutuuka nga oyina okufuna aw’okukasuula.

• Aw’okuteeka ebikozesebwa ebimaze okukozesebwa mu kulya. Nga ekintu kyonna kimaze okukozesebwa mu kulya, waliwo ebirina okugobererwa wa awokukiteeka. Ekisooka kwe kumanya nti ekintu kyonna ekikozeseddwa mu kulya tekirina kuteekebwa ku mmeeza kwennyini kubanga kiyinza okujamawaza olugoye olubikka ku mmeeza. Tekikkirizibwa yadde okuwummuliza omukonda gw’akampe, ejjiiko, oba wuuma ku lugoye lw’emmeeza nga ekitundu ekirala kyesigamye ku ssowaani.

• Buli kumaliriza kwa mutendera gwa kulya tewali kikozesebwa(utensil) kikkirizibwa kusigala mu kibya(dish) kyonna ekitali kya museetwe(flat plate) , k’ebe jjiraasi oba kikopo. Ebintu bino byonna bitera okuteekebwa ku ssowaani wansi . Kuno ebikozesebwa nga obwambe, ebijiiko, oba wuuma kwe birina okuteekebwa.

• Oyo agabudde ekijjulo kyandibadde kirungi y’aba asembayo okugabulwa . Singa emmere etandika okuwola , oyo atuuzizza omukolo gw’ekijjulo ayinza okubaako ky’agamba abagenyi be nti : bannage tulye nga emmere ekya yokya.

• Si kya buntubulamu okunywa ng’ate okyagaaya. Sooka omalirize okugaaya olyoke onywe ku ky’okunywa kyo .

• Nga obadde ogabula abantu kyayi , ekikopo ne soosi yakyo biteke ku mukono gwa ddyo kubanga abantu abasinga bakozesa mukono gwa ddyo n’olwekyo omukonda gw’ekikopo gulina okutunuulira oludda olwa ddyo.

• Omukyala ng’amaze okulya naye nga okyali ku mmeeza kiba kirungi ogambe  :”munsonyiweko” , oddeko ebbali wayinza okwesiigira lipstick.

• Mu butongole, ebibya ( dishes) bireetebwa okuva ku ddyo w’omugenyi ate ne bifuluma okuva ku kkono . Amagiraasi gajjuzibwa okuva ku ddyo.

• Bw’oba olya ennyama , kisaanye osale ekifi , oteeke akambe ko wansi , olwo olye oba wandibadde osooka kusalasala nnyama yo yonna n’olyokoka olya ? Ekisaanidde kwe kusala ekifi kimu kimu nga bw’olya . Mu ndya ey’ekimerika teeka akaso ko wansi , okwate wuuma yo mu mukono gwa ddyo omale okulya ky’osaze . oba oyinza okusala ekifi nga bw’olya awatali kusooka kuteeka kambe wansi ku sowaani.

• Emmere erina kugabulwa okutandikira ku mukono ogwa ddyo eri abo abali ku mmeeza.

• Bw’oba oyagala kunyiza gamba:”munsonyiweko” ove ku mmeeza omale okunyiza naye tokozesa napukiini kunyiza. Bw’omala okunyiza olyoke okomewo ku mmeeza.

• Bw’oba oli ku mmeeza oyinza okugabanya eky’okulya n’abo abali nawe ku mmeeza olw’ekigendererwa ky’olegako nga boli nabo bakyagadde kyokka sabayo obusowaani obulala obutono era sooka osiimuule ku busowani buno .

• Kikulu okutandika okwemanyiiza okusooka okwetegereza enkola eyinza okugobererwa ku kijjulo ku meeza oba ku mukolo okusobola okwewala ensobi .Eky’okulabirako kiyinza okuba nga kijja kwetaagisa okusaba ssaala ey’okulya . Kiba kibi essaala ey’okulya okutandika nga ggwe omaze okuteeka emmere mu kamwa.

• Buli mutendera gwa kyakulya ku kijjulo , laba nga buli omu amaze okugabulwa era nga omukyaaza atandise okulya. Olumu omukyaza ayinza okusaba abagenyi buli omu atandikirewo olugabulwa , naddala ku mikolo eminene nga okulinda buli omu kijja kuwoza emmere y’abamaze okufuna. Naye era linda osooke olabe nga waliwo abagenyi abalala abamaze okugabulwa .

Tekirabika bulungi nga ggwe wekka ku mmeeza ali mu kulya.

• Entuula. Gezaako okulaba nga toteeka bukokola bwo ku mmeeza. Engeri gy’otuulamu ku mmeeza (olujjuliro) kikulu nnyo. Tuula nga wesimbye bulungi nga emikono gyo giri kumpi n’omubiri gwo.Tolina kwesigama nnyo ku ntebe yo oba okweweta ennyo mu maaso okuteeka enkokola ku mmeeza. Kyokka kikkirizibwa okwewetamu katono n’okukoona enkokola katono ku migo gy’emeeza , kasita kiba nga kirabika nti emigo toli mu kujikozesa kwewanirira.

• Okuwuuta supu. Nga owuuta supu, bbika ejjiiko mu supu nga okisembezeyo okuva ku mubiri okutuuka nga kiri ebitundu bibiri bya kusatu , olyoke owuute nga tosolobeza nga owuutira ku ludda lwa jjiiko kyokka toteeka jjiiko yonna mu kamwa . Bw’otokola kino ojja kweyiira supu.


Okumanya Ebikolwa ebigootaanya enkulaakulana mu Ntabaganya (bantu).

Mu “ebyofuna” waliwo ekiyitibwa obutabuzitabuzi . Ebikolwa ebitabulatabula obumu n’enkulaakulana mu ntabaganya buli muntu alina okubimanyaako oba okubiketta oba okubyekengera era abeeko ky’akola okulaba nga tebigenda mu maaso kuleeta butabuzitabuzi na kuziiyiza nkulaakulana . Tosobola kugamba nti oli mugunjufu nga wenyigira mu bikolwa ebigootanya enkulaakulana y’entabaganya yo.

Omukuza yenna, okuva ku muzadde, omusomesa, okudda ku bakulembeze ab’ennono oba ab’ebyobuwangwa, alina okutendeka omwana oba abaana b’eggwanga okusobola okuketta n’okulwanyisa ebikolwa ebigootanya emirembe n’enkulaakulana y’entabaganyabantu (society). Ebikolwa ebigootaanya enkulaakulana mu ntabaganya byeyorekera mu:-

a) Kwetundako obutunzi ettaka mu kifo ky’okulikozesa nga tutondeka eby’ebyettunzi.

b) Butayawula kibi na kirungi, omulabe n’omukwano, omuwabuzi n’omuwakanyi, okuvuganya n’okukolagana.

c) Kusosola mu buwangwa oba mu mawanga amadiini n’embeera y’obuzaale.. Obutayagala buwangwa na ggwanga lyo oba okukola ebikolwa ebikyayisa eggwanga lyo eri abo ab’amawanga amalala ggwe osobole okuganza gye bali olw’ ekigendererwa eky’ebyanfuna.

d) Okwagala ennyo okwejalabya n’obulamu obw’okudiibuda.

e) Enkwe.

f) Enge

g) Empiiga.

h) Obutafaayo oba okwesuulirayo ogwa nnaggamba ku byaliwo, ebiriwo, oba ebinajja.

i) Obwannakyemalira, okwemanya, emputtu, n’obutayagala kuwabulwa oba kugambwako.

j) Obutayagala kuyigirizibwa

k) Okusosola oba okukuma enjawukana mu bantu

l) Okusiga obukyayi

m) Okunoonya okuganza ng’oyita mu kulimba, okuwereba enziro eno nga bw’ovuvuba abalala .

n) Okutondawo obubondo obusekeetera abalala .

o) Obwannanfuusi .

p) Obujja n’entondo.

q) Obutagambwako, emputtu n’okwemanyamanya.

r) Okwagala okukuumira abalala emabega.

Okwang’anga ebikolwa ebitaataganya enkulaakulana

Okusobola okwewala obikolwa eby’obutabuzitabuzi ebitaataganya(ebigootaanya) enkulaakulana, kyetaagisa okuteekawo enkola omw’okuyita okujja endowooza enkyamu mu bantu ababuzaabuziddwa .Enkola zino ze zireeta enkyuukakyuuka ez’omuggundu Muno mulimu:

(i) Enkola z’ebyobufuzi

Nga wabaddewo enneeyisa egootaanya empisa, amateeka, n’ebiragiro mu nzirukanya oba enkola y’emirimu mu maka ,entabaganyi, entabaganya oba ggwanga , omuzadde, munnabyabufuzi oba omukulembe yenna asaanye okusooka yettanire nnyo “okubuulirira” ng’atuula n’oyo aba akoze ensobi oba aba yenyigidde mu kikolwa kyona ekyokugootaanya n’amunnyonnyola ensobi ye ng’ayita mu: • Okuyigiriza oba okuwabula

• Okuteeka mu lujjudd nga enkola endala zigaanyi

(ii) Enkola eza Nakiteekamunkola

Singa enkola ezigonjoola obuzibu ez’ebyobufuzi ziba zigaanye , omukulembeze wano aba takyalina kya kukola okujjako okukozesa enkola eza nakituukirizankola(administrative methods of work) :

o Okutwala mu kooti oba mu kakiiko akakwasisa empisa.

o Okubonerezebwa mu ngeri egoberera amateeka