Okutta omukago

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Emu ku mpisa Abaganda ze beenyigirangamu okunyweza omukwano n’abantu be baabanga baagala kwe kutta omukago. Omukago era gumanyiddwa ng’Ekirayiro kya Buganda.

Omuntu omuntu gwe yattanga naye omukago ng’ayitibwa Owoomukago. Omukago guno gwakolebwanga mu ngeri ntongole era nga guliko obukwakkulizo n’empisa ezaalinganga okutuukirizibwa okulaba nga tewaba kugusobya. Nga bwe tugenda okulaba, omuntu eyasobyanga omukago ng’aliwa oba okubonerezebwa.

Engeri gye guttibwamu[kyusa | edit source]

Omukago gwattibwanga bwe guti: omusajja bwe yayagalanga ennyo munne baayinzanga o kuteesa okutta omukago. Kino baakikolanga okunyweza omukwano gwabwe. Omu ku basajja bano yalinanga okuyita munne n’ajja mu makaage ne bakola omukolo gw’okutta omukago.

Ku mukolo ogwo, oyo akyazizza yakolanga ekijjulo, ekyafumbibwanga mukyala we. Ekijjulo ekyo kyaliirwangako sseggwanga. Oyo eyajjanga okutta omukago yakeeranga ku makya ddala ewa munne. Nnyinimu yaleetanga akamwano, olubugo n’ettu ly’emmwanyi. Buli omu ku bagenda okutta omukago yatuulanga erudda w’olubugo. Omu ye yasookanga n’akwata akamwano n’asala wansi w’ekkundi lye ne wajja omusaayi mutono ddala; n’addira emmwanyi emu n’agisiigako omusaayi oguzze n’agiwa munne n’agimira bugobo; kwe kumira emmwanyi nga nnamba awatali kugaaya. Buli omu ku basajja bano yamisiganga munne emmwanyi ng’akozesa omukono ogwa ddyo. Mu kukola kino, ab’omu maka g’oyo akyazizza munne bonna baabeerangawo. Bombi bwe baamalanga okumira emmwanyi, buli omu ku bo n’asiimuula ku lubuto lwa munne. Ekyo bwe kyaggwanga ate ne bagambagana kinnoomu, mu ngeri ya kulayirira nti, “Okuumanga abaana bange bonna, abajjwa n'abazzukulu.” Ekyo bwe kyaggwanga nga bajjula emmere nga bonna balya.

Ebyemiziro ku mukago[kyusa | edit source]

Omukago bwe gwamalanga okuttibwa nga abo abagusse beekuuma nnyo okulaba nga tebagusobya. Mu kwekuumanga okwo mwabangamu n’okwerinda obutalyazaamanyagana. Aboomukago bwe baasoowagananga, omu yayinzanga okuvuma munne, kye bayita okuyita ku mukago. Okuvuma omukago oba okukolima kwabeerangamu ebigambo ebiringa bino: “Tewandibadde munywanyi wange n'ondyazaamaanya nga walayira mu masaso gange, n'aga baganda bange n'ababo, kale nze kangwe mu kyoto nga ggwe oyinaayina.” Ebyafaayo biraga nti oyo eyakolimirwanga olw’omukago yayinzanga okulwala n’afa.

Ne Kabaka atta omukago[kyusa | edit source]

Kabaka naye yasobolanga okutta omukago bwe yabanga ayagadde. Ne kabaka yennyini yeerindanga obutayita ku mukago. Mu kwerinda okwo, kabaka oyo gwe yattanga naye omukago nga tayinza kumutta era yamulayiriranga bw’atyo.

Bwe wabaawo okusoowagana[kyusa | edit source]

Aboomukago bwe baasoowagananga, baasobolanga okuddiŋŋana. Kino baakikolanga na kufumba kijjulo abo abaasoowagana ne baliira wamu era ne basonyiwagana. Oyo eyavumanga munne omukago ng’amugamba ku kijjulo ekyo nti, “Munywanyi wange sikyakulinako kabi”. Ebigambo ebyo yabiwerekezanga ekitole ky’ettooke n’akimuwa n’akirya era ne basonyiwagana bwe batyo.

Abattanga omukago baafuukiranga ddala ba Luganda.

Singa wabaawo obukuusa[kyusa | edit source]

Wabula era nga abantu bulijjo bwe babeera abakuusa, ne mu mukago namwo mwabeerangamu abaguttanga n’obukuusa. Kino baakikolanga nga emmwanyi eri gye twalabye mu kusooka, bo tebagimira wabula nga babutika mbutike mu matama oluvannyuma ne bagiwandula. Naye nno kigambibwa nti abo abaattanga omukago n’obukuusa, baalwalanga amatama ne gazimba era ne bakyama n’emimwa. Ku bubonero obwo abantu bwe baategeereranga omuntu eyatta omukago n’obukuusa ne bwe baba nga ku mukolo tebaaliyo.

Ebyafaayo biraga nti mu Buganda omukago gwattibwanga basajja bokka, abakyala bafaanana okuba nga tebaaguttanga. Kyandiba nga kyakolebwanga bwe kityo olw’ekifo ekya wansi ekyalabibwangamu omukyala ate n’okuba nti omukyala abaana b’azaala mu Buganda tebaba ba kika kye. Singa baali bakutta mukago, gwandibadde gukoma ku bo bokka abagusse.

Ensangi zino[kyusa | edit source]

Ensangi zino okutta omukago kulabika nga tekukyakolebwa ng’ensi bw’ezze ekyuka. Wabula, weewaawo kino tekikyasoboka, abantu balina emikwano egya nnamaddala egiyinza okugeraageranyizibwa n’egyo egy’omukago.

References[kyusa | edit source]

1. Kimala, Adam. Abaganda ab'edda 2. Kaggwa, Apolo. Empisa z'Abaganda