Jump to content

Okutya (fear)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Omwana ngattide

Embeera y’obuntu ey’ Okutya(the emotion of fear).

Okutya kuleetebwawo buzibu oba akatyabaga akaba keyolese nti kanaatera okubaawo oba enkyukwe. Okutya “ngerekera ya kwerwanako”(survival instinct) singa embeera ey’obulabe eba yekiise mu bulamu bwo. Okutya kuleetawo ekiwuggwe ,okwesisiwala ,okumaguka , kawereege ,okutaatagana , n’ebirowoozo okukyankalana .

Waliwo n’okukubwa enkyukwe . Omuntu akubiddwa enkyukwe afuna okwekengera ,okutya ,okwesisiwala ,obuteetegeera ,obutakyayala ,akakyankalano ,okwekanga, oba “enviiri okumuva ku mutwe”.

Engerekera y’okutya (the instinct of fear) ya kwetaasa n’okutaasa abalala.Obugunjufu kikwata ku kumanya buvune obuyinza okuteeka abalala mu mbeera ey’okutya n’okuyamba abo abayingidde mu mbeera eno .Okutya mbeera ya mulengera (mental condition) ekuleetera okwekengera nti ggwe oba munno ayolekedde okufuna obuzibu. Ono ye kalonda omweyolekera embeera y’obuntu ey’okutya:

 Bw’otya omuntu oba wekengedde nti oyinza okumufunamu obuzibu

 Bw’otya okutwalibwa mu kkomera oba wekengedde nti oyinza okukifunamu obuzibu obw’enjawulo.

 Bw’otya okugobwa ku mulimu oba olowooza nti oyinza okukifunamu obuzibu. Kino kikuyamba okweteekateka nga otuukana n’omutindo oba nga onoonya ekirala eky’okukola nga obadde ogobeddwa.

 Bw’otya okwogera ku kintu kiba kitegeeza nti oyinza okukifunamu obuzibu.

 Bw’otya ensolo kiba kitegeeza nti wekengedde nti eyinza okukutusaako obuzibu (obuvune).

 Bw’otya obwavu kiba kitegeeza nti otegedde nti obwavu mpologoma , ekutta olaba era olina okubulwanyisa.

 Bw’otya okuswala, okuswazibwa, obutafiibwako, oba okukyayibwa oba wekengedde obuzibu obuli mu kino

Ku ludda olulala, okutya kya mugaso kubanga kitusobozesa okwewala obuzibu nga twetaasa mu ngeri ey’okwetegekera obuzibu obuba butweyolese , tusobole okubwang’anga oba okubwewala.