Okuva (Motion)

Bisangiddwa ku Wikipedia

"Okuva"(Motion), kye kigambo ky'Oluganda ekivvuunula "motion". Okuva nakyo kye kimu ku miramwa gya sayansi egizimbiddwa Ssekalowooleza Muwanga Charles.

Okuva kivudde mu bugambululo "okuva mu kifo".Kino bwe tukisalira (Clipping) ne tusigaza "okuva"Motion). Kati nno Mwami Muwanga asobodde okuwandiika ku Mateeka ga Newton ag'Okuva(Newton's Laws of Motion) n'okulamblula omulamwa guno mu Luganda.

Empalirizo (forces) zirina okuteekebwa ku kintu okukijja mu kifo (okukitambuza) oba okukyusa okuva kwakyo. Enkyukakyuka mu kuva tezijja zokka. Kati okuva kuno kwonna kupimibwa kutya?

Bannassomabuzimbe(Physicists) balina emiramwa gye beyambisa nga bannyonnyola oba basoma okuva. Emisinde ekintu kwe kiddukira oba kwe kitambulira, emisinde gyakyo oba eng’enda (velocity), byonna biva ku mpalirizo. Osaana okimanye nti yadde emiramwa gy’emisinde n’eng’enda gitera okukozesebwa okutegeeza ekintu kye kimu, mu sayansi girina amakulu ga njawulo.

Okutebenta (acceleration) kyekuusiza ku mulamwa gwa ng’enda (velocity). Okutebenta kipimo kya nkyukakyuka y’eng’enda y’ekintu mu kiseera ekigere (ekitera okuba buli sikonda). Eng’enda ziyinza okulinnyisibwa oba okussibwa mu buli kiseera ekigere. Enzitoya mulamwa omulala ku kuva. Enzitoya (mass) kitegeeza obungi bw’ekintu obuliwo era enzitoya epimibwa mu ggulaamu (oba kiroggulaamu). Olubaawo luba n’enzitoya nnene okusinga olupapula. Ekidduka nga motoka kiba n’enzitoya, eng’enda n’ekigerageranyo ky’entebenta (rate of acclerartion).

Okuva kiraga kukyusa kifo omuntu oba ekintu we kibadde. Omuntu oba ekintu kiba mu kuva singa ekifo kyabyo kikyuka ng’obigerageranyizza n’omuntu oba ekintu ekiri mu kifo ekimu oba ekigenda akasoobo.

Bw’otambula mu motoka ogambibwa okuba mu kuva kubanga buli kintu ekirala kyonna ng’okigerageranyizza ne motoka n’abajirimu kiri mu kukyuka buli kaseera. Kyokka abantu babiri abali mu motoka eno baba tebali mu kuva nga buli omu omugerageranyizza n’omulala. Kino kiri bwe kityo kubanga ekifo kyabwe buli omu okusinziira munne tekikyuka ate era nga n’emotoka tekyuka. Bwe tuba tutegedde engerageranya (relation) eno, tukkaanya nti okuva kusinziira ku mbeera. Okusobola okutegeera okuva, olina okulowooza ku mpalirizo (forces), okutebenta, amasoboza, okukola, n’enzitoya. Bannasayansi okuva bakutunuulira mu ngeri satu: (i) ekintu kidduka ku misinde ki? (ii) Kidda ludda ki? (c) Ku misinde ki kwe kwe kikyusiza okuva (omugendo) kwakyo?

Okusoboka okutegeera obulungi omulamwa gw’okuva (omugendo), olina okunnyonnyoka omulamwa gw’empalirizo, entebenta, amasoboza (energy), omulimu, n’enzitoya (mass). Bino byonna bye bikola ekitambuzo (mechanics

Kakensa Isaac Newton yali munnassomabutzimbe (physicist) era omubalanguzi (mathematician) eyannyonnyola obulungi ensibuko y’ ebigereeso by’essikirizo (gravity) n’okuva (motion). Yagereesa nti (he theorized that) “empagi ewaniridde Seng’endo mu bwengula y’esonga y’emu lwaki bw’okanyuga ekintu kidda ne kigwa wansi. Kiva ku ssikirizo (gravity)”.

Omugendo , okujugumira oba okukankana byonna biri mu kikolwa kya kuva naye okujugumira oba okukankana teguba mugendo.Ekisinde kika kya mugendo era ekitabo kya bbayibbuli “Exodus” kyandiyitiddwa kisinde oba mugendo.

Okuva obadde oyinza okukiyita omugendo naye olw’okuba omugendo kuba kuva okuzingulukufu , waliwo embeera z’okuva ezitakola mugendo. N’obuziba (atomu) obuli mu ntebe kw’otudde buyinza okuba nga bujugumira naye nga tebuli mu mugendo.

“Okuva “(motion) okwa buli kika kusibuka mu mpalirizo (forces). Mu butuufu, awatali mpalirizo tewayinza kubawo kuva.

(i)Okutambula kw’emotoka kuva ku mpalirizo ezigireetera okuva mu kifo


ii)Ebibuuka nga ebinyonyi, ennyonyi n’ebizungirizi okubuuka mu bbanga nakyo kiva ku mpalirizo ebigireetera okukola omugendo mu bwengula.

Bw’oba osotta eggaali ng’olinnya akasozi osanga obuzibu kubanga oba osindika ekidduka ku mpalirizo ez’enjawulo ng’olinnya akosozi kyokka mu kudda wansi empalirizo zino ziba wansi.

Ekikuubagano kibawo nga safeesi bbiri zikwatanganyene kireetawo okukendeeza embiro, naddala nga safeesi za lukyakya (are rough).

Ekigugubiro ky’empewo nakyo kireetera embiro okukendeera. Eno y’ensonga lwaki ennyonnyi n’emotoka bisongolwa (streamlined) okukendeza ekigugubiro ky’empewo. Kino era kye kiretawo obwetaavu bw’ekitondekamaanyi , ebidduka okukola amasoboza okw’ang’anga ekigugubiro ky’empewo. Wetegereze bino wansi :

(a)Amasitula = amasoboza agasitula ekizungirizi oba ennyonyi (Lift) okubuuka mu bbanga (b)Ensitula=Empalirizo eziwaliriza ekidduka okuva mu kifo(lift) (c) Amasukuma = amasoboza agasukuma ekizungirizi/enyonyi (thrust) (d) Ensukuma=Empalirizo esukuma ekidduka(thrust) (e) Amawalabulo = Amasoboza agawalabula Ekizungirizi/ennyonyi (drag) (f) Empawabulo=Empalirizo ewalabula ekidduka nga kiyita mu mpewo.

Ezo zonna mpalirizo ezeetagisa ekidduka, ennyonyi oba ekizungirizi okubuuka mu bbanga. Eng’enda, Emisinde, Okutebenta, n’Okutebentuka

Eng’enda (Velocity) n’emisinde (speed) miramwa egifaanagana ennyo kyokka eng’enda eba kipimo kya mbiro ng’olaga n’obwolekero (oludda ki ) ate emisinde kipimo kya mbiro zokka awatali kufa ku bwolekero. Singa tumanya nti omuvuzi avugira motoka ku km 45 buli saawa naye nga tetutegeezeddwa ludda ki, egyo giba misinde , teba ng’enda(velocity). Kyokka bw’oba otambulira ku km 45 buli ssaawa ng’oyolekedde obukiikaddyo, wano munnassomabuzimbe aba agamba nti eng’enda yo eri km 55 buli saawa okwolekera bukiikaddyo . Abagoba b’emmeeri ku mazzi n’abagoba b’ennyonyi bakozesa nnyo ebigendo (vectors) omuli okumanya eng’enda y’ekidduka.

Emisinde

Emisinde era oyinza okukiyita embiro. Tunnyonnyola embiro ekintu kwe kiddukira nga “emisinde” gyakyo. Bwe tuba tusobola okupima disitansi (obuwanvo) ekintu kwe kitambula mu kiseera ekigere, tumanya emisinde gyakyo giba kiromiita emu buli ssaawa era kino kiwandiikibwa nga km1 bs (Kisomwa kiromiita emu buli ssaawa).

Eng’enda

Bwe tulaga oludda ki , ntegeeza obwolekero ki n’emisinde gy’ekintu kwe kiddukira, tuba twogera ku ng’enda yakyo. Manya nti eng’enda tekitegeeza “mbeera” yakyo wabula “ngeri” gye kigendamu. Oli bw’akubuuza nti emotoka ebadde edduka ngeri ki ? Aba asuubira nti ojja kukola omukunuukirizo gw’emisinde n’okulaga obwolekero, ntegeeza ludda ki lw’eyolekedde.

N’olwekyo tuyinza okunnyonnyola eng’enda y’ekintu nga emisinde n’obwolekero bwakyo. N’olwekyo ennyonnyi eddukira mu misinde egya mairo 650 buli ssaawa nga eyolekedde obuvanjuba egambibwa okuba n’eng’enda  eya mairo 650 buli ssaawa ku ludd olwa buvanjuba.

Singa tusobola okupima omuwendo ne tufuna n’obwolekero , ekyo tukiyita kipimo kipimo kya kigendo (vector). N’olwekyo “eng’enda” (velocity) kiba “kipimo kya kigendo” (vector quantity).

3.Okutebenta oba Entebenta

Emisinde n’olbwolekero bw’ekintu biba bikyuka buli kaseera. Emisinde gy’omuvuzi w’emotoka giyinza okukyuka okuva KM 30bs okudda ku KM40bs ate ne gikka okutuuka ku KM20bs. Okutwalira awamu essomabuzimbe litwala okutebenta oba entebenta nga “ekigerageranyo ky’enkyukakyuka y’engenda” (the rate of change of 'velocity'). Ka tugambe nti omuvuzi wa motoka yakyusizza emisinde okuva ku KM30 buli ssaawa okutuuka ku KM 40. Kino kitegeeza nti yayongezza emisinde gye na KM10bs, n’olwekyo tugamba nti entebenta ye oba ekigerageranyo ky’enkyusa mu misinde kwabadde KM10bs. Okutebenta tekikwata ku kwongeza misinde kyokka wabula n’okukendeeza emisinde.

Okukyusa eng’enda

Mu kukyusa eng’enda ekigambo okutebenta (accerelation) we kijjira. Okutebenta nakyo kipimo kya kigendo (vector). Twogera ku kwongeza emisinde singa okutebenta n’eng’enda biba bisonze mu ludda lwe lumu. Mu kukendeeza emisinde (decereration) singa okutebenta n’eng’enda biba bisonze mu ludda olwa kikontana oba kiyite obwolekero obwa kikontana (opposite direction). Bw’otebenta oba n’okendeeza emisinde oba okyuusa eng’enda yo mu kipimo ekigere ku kiseera ekigere. Okukendeeza emisinde kuba kutebentuka(deceleration)

Entebenta ey’ Entakyuuka (Constant Acceleration)

Waliwo embeera nga entebenta ey’entakyuka (oba ka tugambe kuba mu ntakyuka (constant accereration) nga waliwo empalirizo ey’entakyuuka eteekeddwa ku kintu. Ekyo’okulabirako ly’essikirizo (gravity). Okusika kw’essikirizo mu bintu kuba kwa ntakyuuka era kusikira mu makkati ga nkulungo. Essikirizo ery’enkulungo ya Ddungu lya njawulo ku eryo ery’enkulungo y’Ensi kubanga zirina enzitoya za njawulo. Yadde nga essikirizo liyinza okuba eddeneko oba ettonoko, liba lireetawo okutebenta okw’entakyuuka okumpi ne safeesi ya Ensi.

Okutolontoka (Momentum)

Okutolontoka kuba kupima engeri ekintu ekitebenta oba ekidduka gye kiyinza okuba ekizibu okukiyimiriza.

Okutolontoka kweyongera nga enzitoya oba eng’enda byeyongedde. Okutolontoka kwenkana Enzitoya kubisaamu engenda y’ekintu.

Okutolontoka (Momentum) nakyo kipimo kya kigendo (it’s a vector measurement). Bannasayansi babalanguza (to calculate) okutolontoka nga enzitoya y’ekintu bagikubisaamu eng’enda. Okutolontoka kiraga ngeri ekintu ekidduka oba ekiri ku misinde gye kiyinza okuba ekizibu okuyimirira.

Singa oba odduka nga olina enzitoya ya kirogulaamu 70 n’eng’enda eya miita 15 buli sikonda nga odda ebuvannjuba (wano oba odduka nnyo) , entolontoka yo eba kg 1,050 buli sikonda okwolekera buvanjuba.

Jukkira Etteeka lya Newton erisooka: Ekintu ekiri mu mugendo kisigala mu mugendo okujjako nga kifunye okutaataatanyizibwa. Etteeka eryo era likola ne ku okutebentuka. Singa ekipimo ky’enzitoya n’eky’eng’enda bisigala nga bye bimu, ekipimo ky’entolontoka kisigalanga kye kimu. Bw’okanyugira omuntu ejjinja n’alumizibwa, limukuba nnyo olw’okuba kibadde kizibu okuliyimiriza (lyabadde n’entolontoka ya waggulu).

Ate era bw’okasukira omuntu akayinja akatono n’ejjinja eddene ku misinde gye gimu, ejjinja eddene liba likuba omuntu n’entebentuka ennene (greater momentum), liba zzibu okuyimiriza, era likola obuvune bwa maanyi okusinga ku ttono. Enzitoya bw’eba ennene (ku misinde gye gimu), entolontoka eba ya maanyi okusingawo. Essasi kya kulabirako kw’ekintu ekirina enzitoya entono ennyo naye nga kirina entolontoka ey’amaanyi kubanga liba ku misinde miyitirivu nnyo. Kino kitegeeza nti amasasi mazibu okuyimiriza, ekitegeeza togezaako kuliyimiriza kyokka liviire buviizi.

Amateeka ga Isaac Newton ag’Okuva (Newton’s laws of Motion)

Kakensa Sir Isaac Newton y’omu ku bannasayansi era omubalanguzi (mathematician) ab’amaanyi abaali babaddewo. Kakensa ono yazaalibwa mu Bungereza mu 1643, omwaka gwe gumu kakensa omulala Galileo gwe yafiiramu.

Isaac Newton yakulira ku Jjajja we omukyala n’asoma okutuuka waggulu kyokka ng’ali mu bbanguliro yayagala nnyo ekibalangulo (mathematics), essomabuzimbe (physics), n’essomabwengula (astronomy) era yasoma n’afuna diguli esooka n’eyokubiri.

Bwe yali ng’ali mu bbanguliro (college), n’atandika okuwandiika ebirowoozo bye mu kitabottabamiruka eky’abayivuwavu (journal). Ebimu ku birowoozo bye byali ku mulamwa gw’okuva (motion), kye yayita Amateeka g’Okuva Asatu (the three laws of motion). Kyokka era yatondekawo ebirowoozo ku Empalirizo esikira mu Nzitoya (a force that pulls from a mass) oba mu bumpimpi essikirizo (gravity), empabya y’ekitangaala (diffraction of light), n’empalirizo (forces). Bye yatuukako gwe musingi gwa sayansi ensi kw’etambulira leero.

Buli nkulaakulana etuukibwako mu sayansi ne tekinologiya yesigamye ku “sayansi wa kuva” (the science of motion) oba ka tugambe nti yesigamye kukunnyonnyoka sayansi wa kuva n’amateeka agafuga sayansi ono ow’okuva.

Wano mu nsi z’abaddugavu nga ne Uganda mw’eri, tetugenda kwetengerera mu sayansi ne tekinologiya okujjako nga tugandawazza emiramwa egyetaagisa mu sayanzi w’okuva, ne sayansi yenna okutwalira awamu.

Weetegereze emiramwa gy’oluganda gino egyekuusiza ku sayansi w’okuva  :

• Okuva motion • Omugendo motion, movement • Omugendo gw’amasanyalaze current • Omugendo gw’amasoboza movement of energy • Omugendo gw’ekitangaala Light ray • Embiro speed • Emisinde speed • Eng’enda velocity • okutebentesa/okutebenta to accelerate • Entebenta acceleration • Entebentuka momentum • Okutebentuka to increase momentum • Amateeka ga Netoni ag’okuva (omugendo) Newton’s laws of motion. • Ekikolwa n’okuva mu mbeera Action and reaction • Amateeka g’okuva the laws of motion • Ekikolwa act • Ensindikano oba okuva mu mbeera reaction •

Amateeka asatu ag’Okuva 

Etteeka ly’okuva erisooka

Etteeka 1ka:“Enzitoya bw’eba mu kiwummulo esigala mu kiwummulo oba bw’eba mu mugendo etambulira mu ng’enda ey’entakyuka okutuusa nga eteekeddwako empalirizo”. (If a body is at rest it remains at rest or if it is in motion it moves with uniform velocity until it is acted on by a resultant force). Etteeka ly’okuva erisooka era liyitibwa etteeka lya kiremeramumbeera (the law of inertia). Okusinziira ku tteeka lya kigaaniramumbeera:

Ekintu ekiri mu kifo ekimu kisigala mu kifo ekyo okujjako nga kiteekeddwako empalirizo ey’enjawulo ate kyo. Ekintu ekiri mu kuva kigenda mu maaso mu mugendo ku misinde n’oludda lwe lumu okujjako nga kiteereddwako empalirizo ey’enjawulo Okusinziira ku tteeka lino erisooka, ekintu ekiri mu kiwummulo kisigala mu kiwummulo ate ekintu ekiri mu kuva kisigala mu mugendo n’emisinde gye gimu ku ludda lwe lumu.

Kino kitegeeza nto okuva oba obutabaawo kuva tekisoboka kukyusibwa awatali mpalirizo ekitekebwako. Singa tewabaawo kintu kyonna kikutuukako togenda kuva mu kifo. Bw’oba ogenda oludda olumu, okujjako nga waliw ekikutuseeko, oba weyongerayo ku ludda lwe lumu mu ntakyuka.

Wali olabye bannabwengula (astronauts) ku TV? Okiraba nti ebikozesebwa byabwe bitengejja? Kye bakola kwe kubiteeka mu bbangane bisigala mu kifo kimu. Tewali mpalirizo ebitekebwako okuleetawo embeera eno okukyuka. Kiba bwe kityo era singa bakasuka ekintu mu maaso ga kamera. Ekintu ekyo kitambula butereevu (mu layini engolokofu). Singa wakati mu kutambula mu bbanga eyo mu bwengula babaako kye bakasuka, ekintu ekyo kigenda mu maaso nga kigenda ku ludda lwe lumu era ku misinde egy’entakyuuka okujjako nga waliwo empalirizo ekiteekeddwako, ka tugambe singa ensikirizo y’enkulungo eba ekisikirizza.

Ekiremeramumbeera (inertia) kitegeeza ki?

Kino kitegeeza nti waliwo engeri ey’obutonde ekuuma ebintu okusigala oba okuremera (okulobera) mu mbeera gye bibaddemu oba okusigala nga bikola ekyo kye bibaddeko. Buli kintu kigezaako obutayagala gugenda mu mbeera ya nkyukakyuka oba ka tugambe kigezaako okulemera mu mbeera gye kibaddemu. Buli kintu kiremera mu mbeera ey’okuva gye kiba kirimu okujjako nga waliwo empalirizo ey’enjawulo ekiteekeddwako; kino kitegeeza nti ekintu ekiri mu kuva kiba kyesigaliza embeera yaakyo ey’okuva. Manya: (a) Mu essomabuzimbe (study of structures , nature, physics) ekigambo “kiwummulo” kirimu omulamwa gwa “being at rest” kyokka mu essomabiramu(biology) ekigambo “ekiwummulo” kirimu mulamwa gwa “pupal stage”.

(b) Ekigambo “okuva” kye kirimu omulamwa gwennyini ogulimu amakulu g’omulamwa gw’olungereza ogwa essomabutonde ogwa “motion”. N’ekigambo “omugendo waliwo w’oyinza okukikozeseza ku mulamwa gwe gumu kyokka si buli “kuva” (motion) nti guba mugendo. Mu butuufu n’ekintu nga emmeeza oba ejjinja eriri mu kifo ekimu libaamu “okuva” okw’okujugumira kw’atomu zaayo mu ngeri emu oba endala yadde kiba tekiri mu mugendo. N’olwekyo “omuugendo kuba kuva naye okuva kuyinza obutaba mugendo bwe guba nga tegweyongerayo kuva mu kifo kimu kudda mu kirala mu layini engolokofu. Mu nzitoyo eri mu kifo ekimu nga ey’olubaawo, atomu ziba zenyenyeza mu kifo kimu awatali kweyongerayo. Guno teguba mugendo kyokka wabaawo okuva.

(c) Ate emiramwa “omugendo” ne “eng’enda” nagyo gyawukana. Eng’enda erimu omulamwa gwa “velocity” ate omugendo ne gubaamu omulamwa gwa “movement. Mu sayansi, si buli mugendo nti eba ng’enda.

(d) Eng’enda ey’entakyuka (= constant velocity). Mu ngeri endala, etteeka erisooka ligamba nti “ekintu etitali mu kuva (mu mugendo) oba nga kiri mu ‘eng’enda ey’entakyuka’ (constant velocity) kisigala bwe kityo okutuusa nga waliwo ekikisindise oba ekyekiise mu kkubo lyakyo. Kyokka okusinziira ku kye tulaba bulijjo, oyinza okugamba nti mu butuufu ebintu tebibeerera awo awatali kuva (kuba mu mugendo) kubanga, eky’okulabirako, ejjinja bw’olikasuka waggulu, terisigalayo singa liba liteereddwa, kyokka era tebisigala mu mugendo ku misinde egy’entakyuuka. Eky’okulabirako, oguyinja oguyiringita okuva ku kasozi waggulu gweyongera emisinde buli kaseera akayitawo mu kukka so ng’ate ejjinja eriyiringita ku museetwe likomekkereza likkalidde (nga lirekedde awo okutambula); kyokka empalirizo eziriteekebwako nga ensikirizo y’ Ensi (earth’s gravity) n’ekikuubagano singa bijjibwawo, etteeka ly’okuva erisooka tuba tuliraba. Lino ly’etteeka ly’okuva erisooka erikwata ku bintu ebiri mu mugendo ogw’entakyuka.

2.3. Etteeka ery’okubiri ery’okuva: Etteeka 2li: “Empalirizo yenkanankana enzitoya ng’ekubisiddwamu entebenta”. (Force is equal to mass times acceleration). Okusinziira ku tteeka ery’okubiri ery’okuva, okutebenta kutondekebwawo nga empalirizo eteekedwa ku nzitoya. Enzitoya (y’ekintu ekiba kitebentebwa) gy’ekoma okuba ey’amaanyi n’amaanyi g’empalirizo agetaagibwa (okutebentesa ekintu) gye gakoma obungi. Etteeka ery’okubiri ligamba nti entebenta y’ekintu ereetebwawo empalirizo egendana butereevu n’empima (magnitude) ey’empalirizo eyo ate n’egendana kifuulannenge n’enzitoya y’ekintu. Ekifuulannenge guba muwendo gw’emu ku namba endala, kifuulannenge ya 5 eba 1/5.

Etteka ery’okubiri liraga nti singa oteeka empalirizo y’emu ku bintu bibiri ebirina enzitoya ez’enjawulo, oba ofuna entebenta (enkyusa mu ng’enda) ya njawulo kubanga okutebenta okubeera ku nzitoya esingako obutono kuba kusingako. Ekiva mu mpalirizo eya netoni 10 ku mupiira kiba kinene okusinga empalirizo eyo yennyini ekwatiddwa ku kimotoka. Ekiva mu kutebenta kiva mu kuba nti enzitoya za njawulo.

Jjukira nti empalirizo gy’ekoma omaanyi entebenta gy’ekoma okuba ennene. Kino kitegeeza ki?

Etteeka lino buli muntu alimanyi mu kimpowooze. Buli muntu akimanyi nti ekintu gye kikoma okuzitowa gye kikoma okwetaaga empalirizo okukijja mu kifo oba ka tugambe okukiseetula okuyita mu disitansi y’emu ng’ekintu oba ebintu ebiwewuka. Kyokka etteeka ery’okubiri lituwa akakwate kennyini wakati wa empalirizo (force), enzitoya (mass), n’entebenta (acceleration). Kino kiyinza okulagibwa nga nakyenkanyanjuyi y’ekibalangulo eno:

Empalirizo = Enzitoya x Entebenta

Kino kye kibalangulo ky’etteeka lya Netoni (Newton) eryokubiri:

Motoka ya basajjassubi ezitowa kirogulaamu kg 10,000, eweddemu amafuta nga egenda ebunjakko. Basajjassubi agezaako okujisindika okutuuka ku ssundiro ly’amafuta ng’agitambuliza ku mita 0.05 buli sikonda ng’adda bukiikakkono. Nga okozesa etteeka lya Netoni ery’okubiri oyinza okubaza obunji bw’empalirizo Basajjassubi ly’ateeka ku motoka eno okujiseetula bw’oti:

Empalirizo = 10,000 x 0.05 Empalirizo = Netoni 500 Kati wano tuba tusobola okweyongerayo ku tteeka lya Netoni ery’okusatu. Etteeka lino liwa ensonjola n’embalanguza y’empalirizo okuyita mu nzitoya n’entebenta (Okutebenta). Emp. = Enz x Ent Emp. = Empalirizo Enz. = Enzitoya Ent. =entebenta

Eky’okulabirako, obuzito eba mpalirizo gye tufuna ku Nsi ereetebwawo ensikirizo y’ Ensi. Obuzito bubalanguzibwa nga: Obuz. = Enz x Ens. Ens. = okutebentesa kw’ensikirizo eba mu kifo eri nga miita 9.8 buli sikonda eya kyebiriga

Obuz. = Obuzito

Ensikirizo eba miita 9.8 buli sikonda2 (Fuuti 32 buli sikonda2) ku Nsi. Entakyuka y’ensikirizo ey’awamu eri miita 9.8 buli sikonda2 ku Nsi. 2.4. Etteeka ly’okuva ery’okusatu Etteeka 3tu: Etteeka lya Netoni ery’okuva ery’okusatu ligamba nti: “Buli kikolwa kireetawo ensindikano ekyenkana okuva ku ludda olwa kikontana”.

Kino kitegeeza ki?

Empalirizo ziba mu migogo. Etteeka ery’okusatu ligamba nti ku buli mpalirizo wabaawo empalirizo egyenkana okuva ku ludda olwa kikontana. Empalirizo eno ekyenkana eba nsindikano kuba eba ekisindikanya okkudda emabega.

Bw’otuula ku ntebe, omubiri gwo guteeka empalirizo ku ntebe ate entebe eyo nayo n’eteeka empalirizo eyenkana ggwe gy’otadde ku ntebe naye yo eno eba edda wa ggulu, awatali ekyo entebe eba etendewererwa n’ekutukamu oba n’egwamu. Kino kya kyenkanyampuyi kubanga empalirizo eteekebwa ku kintu esisinkana empalirizo endala okuva ku ludda olwa kikontana.

Kiba kitya nga onyize emmanduso y’emmundu? Kiri kitya nga onyize emmanduso y’omuzinga? Essasi bwe likubwa mu bbanga ne wabaawo okubwatuka emmundu esindikibwa emabega nga essasi liwaguza okufuluma ligende mu bbanga. Empalirizo esindika essasi ebweru yenkanankana n’empalirizo esindika emmundu emabega naye ekituuka ku mundu (okusindikibwa emabega) tekirabika nnyo kubanga emmundu erina enzitoya nnene nnyo okusinga essasi.

Kino kitegeeza nti ku buli mpalirizo eteekebwa ku kintu wabaawo empalirizo ekijja mu mbeera. Eno era yeyitibwa empalirizo ey’ensindikano (reaction force) ekyenkanankana mu maanyi naye nga eva ludda lwa kikontana. Kino kitegeeza nti buli ekintu lwe kisindika ekintu ekirala kisindikibwa emabega okuva ku ludda olwa kikontana n’’empalirizo y’emu.

Ekigambululo kino kitegeeza nti ku buli kunyigiriza, wabaawo omugogo gw’empalirizo. Mu njogera endala, ku buli kikolwa wabaawo okuva mu mbeera okw’ensindikano ku luuyi olwa kikontana mu kipimo kye kimu n’ekikolwa ekyo. Ekipimo ky’empaliririzo esooka yenkanankana n’ekipimo ky’empalirizo okuva ku ludda olwa kikontana. Oludda lw’empalirizo olusooka luviirako empalirizo ey’ensindikano okuva ku oludda olulala. N’olwekyo empalirizo ejja mu mugogo, empalirizo ey’ekikolwa kanaaluzaala n’empalirizo ey’ensindikano eva mu kikolwa kanaaluzaala mu kipimo ebyenkanankana ku ludda olwa kikontana.

Mu butonde, omugogo gw’ekikolwa n’ensindikano gweyoleka mu bintu eby’enjawulo. Tunuulira ekyennyanja nga kyejjawo mu mazzi .Kikozesa amawawaatiro gakyo okukuba amazzi ekiddannyuma ne kisobola okugenda mu maaso. Olw’okuba waliwo empalirizo eziva mu kyenyanja okudda eri amazzi wajjawo ensindikagano okuva mu mazzi okudda eri ekyenyanja, empalirizo eno n’esobozesa ekyennyanja okugenda mu maaso. Ekyenyanja bwe kisindika amazzi emabega ensindikano eva mu kino esindika ekyenyanja ne kisobola okweyongerayo mu maaso. Amazzi nago galina okuba nga gasindika ekyenyanja ekiddamaaso, ekintu ekitwala ekyenyanja mu maaso.

Ekipimo ky’empalirizo eteekebwa ekyenyanja ku mazzi kye kimu n’ekipimo ky’empalirizo amazzi gye gasukuma ku kyennyanja ku ludda olwa kikontana. Oludda olw’empalirizo eteekebwa ku mazzi (ekiddannyuma) lwa kikontana n’oludda lw’empalirizo esindikibwa amazzi eri ekyennyanja (mu kiddamaaso). “Buli kikolwa kireetawo ensindikano ekyenkanankana okuva ku ludda olwa kikontana”. Omugogo gw’ekikolwa–n’ensindikano gwe gusobozesa ekyennyanja okuwuga mu mazzi.

Kati wekenneenye omugendo ekikyonyi kwe kibuukira. Ekinyonyi kibuuka nga kikozesa ebiwawaatiro byakyo. Ebiwawaatiro by’ekinyonyi bikkatira empewo ekiddawansi. Olw’okuba empalirizo ziva nsindikano, empewo nayo erina okuba nga eba esindika ekinyonnyi ekidda waggulu.

Ekipimo ky’empalirizo ku mpewo kyenkanankana ekipimo ky’empalirizo ku kinyonyi; oludda lw’empalirizo ku mpewo (ekiddawansi) lwa kikontana n’oludda lw’empalirizo ku kinyonyi (kiddawaggulu). “Buli kikolwa kireetawo ensindikano ekyenkanankana ku ludda olwa kikontana”. Omugogo gy’ekikolwa–ekireetawo ensindikano gwe gusobozesa ebinyonyi okubuuka mu mpewo (mu bbanga). Kati wekenneenye omugendo gw’ekidduka nga motoka nga ogenda ku mirimu gyo oba ku somero. Motoka erina namuziga ezetoloola ekiddannyuma. Namuziga buli lwe zetoloola ekiddannyuma, zikwata ku luguudo ne zisindika oluguudo ekiddannyuma.Olw’okuba waliwo empalirizo eziva mu nsindikano, oluguudo nalwo luteekwa okuba nga lusindika namuziga ekiddamaaso.

Ekipimo ky’empalirizo eri ku luguudo kyenkanankana n’ekipimo ky’empalirizo ku namuziga (ku motoka); oludda lw’empalirizo ku luguudo (kiddannyuma) lwa kikontana n’oludda lw’empalirizo ku ku namuziga (kiddamaaso). “Buli kikolwa kireetawo ensindikano ekyenkanankana ku ludda olwa kikontana”. Emigogo gy’ekikolwa – ekireetawo ensindikano gye gisobozesa ekidduka okugenda mu maaso.

• Okusinziira ku tteeka lya Newton ery’Okuva erisooka ekintu okusobola okukyusa omugendo gwe kirimu, kirina okuteekebwako empalirizo, kino nga kyeyorekera mu mulamwa gwa kigaaniramumbeera (inertia). • Etteeka lya Newton ery’okubiri lisonjola akakwate akali wakati w’okutebenta, empalirizo, n’enzitoya. • Etteeka lya Netwon ery’okusatu ligamba nti ekiseera kyonna empalirizo w’ekolera okuva mu kintu ekimu okudda ku kirala, wabaawo empalirizo y’emu eteekebwa ku kintu ekisooka. Singa osika omugwa, n’olwekyo, omugwa ate era guba gukusika. Ekitambuzo n’Okuva (Mechanics and Motion)

Essomo ly’ekitambuzo oba kiyite “ekitambuzo ky’enzitoya” (mechanics of bodies) liba ssomo ku ngeri enzitoya ezitali mu kuva (rigid bodies) gye zeyisaamu oba akakwate akali wakati w’enzitoya ezitali mu kuva n’okuwaliriza okuziteekebwako. Engeri ebitundu by’ekintu ebitali mu kuva (rigid bodies) gye bikwanaganyizibwamu okuleetawo omugendo oba okuva oba emparirizo (force) kye kiyitibwa engeri ekintu gye kikolamu (mechanism).

“Okuva” (motion) ge gamu ku masomo g’essomabutonde (physics). Buli kintu mu bwengula kiri mu kuva yadde nga okuva kuyinza okuba okutono ddala ng’okwenyeenya era nga kugenda mpola nnyo mu maaso. Manya nti ne bwoba olabika nga oyimiridde wamu, Ensi kw’oli eri mu mugendo okwetoloola enjuba ate n’enjuba eri mu kisinde (galaxy) kyayo ate nga n’ekisinde nakyo kyennyini kiri mu mugendo mu bwengula. Okuva tekukoma.

Manya nti Omugendo mulamwa ogwekuusiza ku kuva naye si buli kuva nti guba mugendo. Omugendo kitundu kimu eky’ekyo bannassomabuzimbe (physicists) kye bayita ekitambuzo (mechanics). Bannasayansi bavumbudde amateeka ag’enjawulo agannyonnyola okuva (motion) n’ensibuko y’enkyukakyuka mu mugendo(changes in motion).

Waliwo n’amateeka ag’enjawulo ku misinde gy’ekitangaala (speed of light ) oba nga bannassomabutonde batunuulidde obutoniinya (obuntu obutini ennyo) nga atomu.

Bya Charles Muwanga