Jump to content

Okuvunda Kw'ebiramu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Okuvunda_Kw'ebiramu

"Okuvunda kw’Ebiramu"

      (Organic decay)

Okuva mu kitabo kye "Essomabiramu"(BIology), Muwanga Charles ayogera ku sayansi ali emabega w'okuvunda kw'ebiramu nga wano wansi:

Okuvunda(decomposition/rotting) y’engeri ekintu ekibaddewo gye kikutulwakutulwamu okuzzibwa mu kirala. Emibiri gy’ebiramu gitandikirawo okuvunda olumala okufa naye okuvunda kuno kugenda mu maaso mu mitendera ate era mu buli kikula kya kiramu okuvunda kugenda mu maaso mu ngeri ya njawulo kyokka emitendera gye kuyitamu gye gimu.

Waliwo okuvunda kw’ebiramu(biotic decomposition) n’okuvunda kw’ebitali biramu(abiotic decomposition). Okuvunda kw’ebitali biramu kuba nga kufumya kintu ne sabusitansi eya kemiko oba ng’efunyibwafunyibwa. Okuvunda kw’ebiramu kuba kukutulakutula mu mubiri gw’ekiramu okuyita mu bulamu obulala obusirikitu(microorganisms).

Omuntu afudde avunda okuyita mu mitendera etaano ; ayegayega(omubiri gufuuka yegeyege nga y’akakutuka ate olwo ne gukakanyala) , ekiddako n’afuma(bloat), avundira ddala(active decay), n’akunkumuka(advanced decay).

1. Okuyegayega

Omutima olusirika , wabaawo enkyukakyuka ez’ebuziba(chemical changes) mu mubiri era obutaffaalikazimbamubiri nebutandika okusereba nga buviibwaako obuzimbe bwabwo.Kino kiviirako okufulumya enzaimu ez’obutaffaali eziyinza okusobozesa okukutulakutula mu butoffaalikazimbakiramu endala. Wano tewaba kyamaanyo kiba kirabibwa nti kigenda mu maaso.

Okuyegayega kubaawo ng’omuntu ya kakutuka ng’omubiri gwonna gufuuse yegeyege ate oluvannyuma ne gukakanyala. Olw’okuba omusaayi tegukyatambula mu mubiri guwagamira mu mubiri, kino ne kikolawo endabika eya bululu(livor mortis). Mu ssawa ssatu okutuuka ku mukaaga, wabaawo okukakanyala(rigor mortis) . Omuntu olumala okukutuka omubiri gutandika okunnyogoga(algor mortis) ng’ebbugumu lifuluma wa bweeru.

2. Okufuma

Okufuma( bloat ) kwe kulaga nti waliwo ekigenda mu maaso mu nkyuukakyuuka eri mu mubiri ogufudde. Mutereezabulamu(metabolism) mu mubiri ng’amazi okukoma wantandika okubeerawo aketalikiriro k’obuwuka bunakavundiza obuleetawo mutereezakuvunda(anaerobic metabolism) ,ekintu ekiviirako okwekuluumulula kw ggasi ne kizimbya olubuto n’okufulumya amazzi okufa buli katuli ka mubiri ng’ennyindo, akamwa n’emabega .Ggaasi zino era zikola akanyigirizi akayinza okuleetera olususu okwesala . Singa ebiwuka bituuka ku mulambo, ebivunyuvunyu(maggots) byalula ne bitandika okulya omubiri..

3. Okuvundira ddala(okusebengerera)

Mu kuvundira ddala(active decay) ennyama etandika okusaanirawo ddala olw’envunyu eziba zigirya n’amazzi ga nakavundiza(decomposition fluids) gaba gafulumizibwa .Wano okuwunya okw’amaanyi we kutandikira . Enkomerero y’okuvunda yeyolekera mu kugenda kwa nvunyu okuva ku mubiri nezigenda mu kiwummulo( to pupate) .

4. Amasitukiro

Wano ekisigalawo kiyitibwa ebisigalira omuli akawanga ne ngumbagumba endala.Kyokka mu essoambiramu, tetwagala nnyo kubiyita bisigalira wabula amasitukiro(skelton) ekitegeeza, amagumba okusitukira omubiri gw'ekiramu.

Okuvunda nakwo kugenda mu maaso mu mitendera, okutandika n’okukala(okuggwaamu amazzi n’okukamula ebipooli bya kaboni ebimerenguka mu kikolwa kino.Ekiddako kuba kumenyekamenyeka kw’ekimera obutundutundu obuyinza okulumbibwa ebiwuka obulungi.

Ebbugumu liyamba nnyo mu kuvunda kw’ebimera era okuvunda kwanguwa nnyo nga waliwo okwokya oba ebbugumu ery’amaanyi . Kino kiba kitegeeza nti ekimera ekiri awookya kyanguwa okuvunda okusinga ekiri ewannyogoga.. Ebbugumu lye lifuga emisinde gy'okuvunda era ekigerageranyo ekifu kwe kifundira kyeyongera buli ebbugumuu lwe lyeyongera era okiraba nti n'ekimera mu mbeera eyokya kivunda mangu okusnga mu bunnyogovu. W

Mu mbeera gye tulimu empiira(omuliro) , ebiwuka, ebirya ebintu ebiri mu kuvunda , enkuyege, ensolo ezirya omuddo , n’okusattira kw’ensolo ezirinnyirira omuddo nga zitambulirako bye biyamba okukutulakutula mu muddo ate olwo bakitiria ne fungi nezongezaayo okuvundiza ebimera ebyo.

Mu kuvundiza oba okuvunda kw’ebimera , okutomaggana kwa kemiko okugenda mu maaso kuvaaamu okufulumya omukka ogwa kaboni-bbiri-okisayidi. (carbon dioxide).