Okuwangaala mu Luganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

ETTEEKA ERIFUGA OKUWANGAALA MU LUGANDA[kyusa | edit source]

Mu kuwandiika olulimi Oluganda, tuwandiika ennukuta empeerezi ebbiri singa ennyingo ebeera ewandiikibwa ebeeramu eddoboozi eriwangaala. Kino kitegeeza nti awawangaala tuwandiikawo empeerezi bbiri nga mu bigambo bino:

  • Kasooli
  • Mukeeka
  • Wandiika
  • Ekkooti n’ebirala

Wabula, kino tekitegeeza nti buli wabeera eddoboozi eriwangaala lirina kwolesebwa na kuwandiikawo mpeerezi bbiri. Ojja kwesanga nga waliwo w’owulira eddoboozi eriwangaala mu kigambo wabula nga teryoleseddwa mu kuwandiika olw’amateeka agafuga empandiika y’olulimi Oluganda. Okuwandiika nga tuwangaala “n’empeerezi ebbiri” kireetebwawo embeera zino wammanga:

1. Singa tuba tuwandiika nga mu kigambo mulimu ennyingo eraga obusukkulumu bw’omuntu bw’alina okusinga ku balala. Akayingo akasukkulumu bwe kaddirirwa ekigambo nga kitandika n'empeerezi, olwo tufuna okuwangaala. Eby’okulabirako

  • Ssaabasajja
  • Ssaabasumba
  • Ssaabalangira
  • Nnaabalongo n’ebirala

2. Singa tuba tuwandiika mu kiseera ekinajja mu muntu asooka mu bumu, tuwandiika nga tuwangaala. Akabonero ak'ekiseera ekinajja ke kano, naa-.

Eby’okulabirako i) Anaagenda ii) Nnaalinda iii) Onaamusanga iv) Nnaasiima

3. Era singa tuba tuwandiika ebigambo ebyewole oba ebyagandawazibwaokuva mu nnimi endala, tuwandiika nga tuwangaala.

Eby’okulabirako

  • Ekkooti
  • Essaati
  • Ttaanka
  • Bbookisi
  • Ppaasi n’ebirala.

4. Bwe tubeera ne nnakasigirwa ekolebwa n'ensirifu n'empeerezi, ba-, ne tugikozesa mu kikolwa ekiri mu kiseera ekyayita, tufuna okuwangaala. Ebyokulabirako:

  • Baalya
  • Baasoma nnyo ne bayita bulungi ebigezo.

5. Waliwo n'okuwangaala okuggyawo olw'akawango akalaga okwekolako, -ee-. Okugeza, neesaze, neetemye, beerumye, yeerimba, n'ebirala.

Waliwo n'engeri endala ez'okulaga okuwangaala mu Luganda z'osobola okulowoozaako oba okwetegereza.

Ebyo byonna bye tulabye waggulu kye tuyita okuwangaala n’empeerezi ebbiri ezifaanagana nga ziwandiikiddwa mu kifo kimu.

Weetegereze: Waliwo etteeka erifuga okuwangaala nga tukozesezza ennukuta 'ggy'. Ennyukuta ezo bwe zibeera mu kigambo ne kiwulirwa nga kiwangaala, tuba tulina okuwangaala mu mpandiika. Wabula ku nnyukuta endala tetukkirizibwa kukola bwe tutyo.

  • Eggwaatiro
  • Tumuggyeemu
  • Eddwaaniro
  • Ettwaatwa n’ebirala.

Wabula ennykuta eya “ny” yo tugitwala okuba ennukuta emu nga n’olwensonga eyo etteeka ery’okuwangaala n’empeerezi emu yo terigikwatako, kwe kugamba; ewawangaala ku yo wassibwawo empeerezi bbiri ezifaanagana mu maaso gaayo. Okugeza:

  • Nyaabula
  • Nnyaanya