Okuwumuza ettaka okulongosemu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okuwumuza ettaka okulongoosemu mu Uganda[kyusa | edit source]

Kitegeeza nti ettaka erikaddiye liwumuzibwa okumala ekisera okulisobozeza okuzzamu obugimu muttaka. Mukisera kino ettaka lisimbibwako emitti egirina obusobozi okuza ekigimusa kya niyiturojeni muttaka, ejirina ebikoola ebivunda amangu era nebizza obujimu muttaka. Ekisera kyomala ngowumuzza ettaka kisinzira kubuggazi bwettaka nobungi bwa'bantu abalimukitundu ekyo. Okuwumuza ettaka okutalikulongosemu kwekuleka ettaka neriwumula lyokka ngatolina kirime kyona oba omutti gwona gwosimbyeko. Obubonero bwo mutti oba ebirime ebisimbibwa munimiro eyokuwumuzibwa;

  • okukula amangu gulemese oba biremese omuddo omulala okukula amangu era nokuziyiza okukuluguka kwettaka
  • okuba nga kiberako ebikoola bingi ate ngabivunda mangu nebifuuka ekigimusa ekyebirime
  • Nga kirina emirandira ejiriila wansi okusobola okujayo ebigimusa ebyatwalibwa wansi muttaka ebirime jebitatukka
  • Nga kisika ekigimusa kya niyiturojeni okuva mumpewo nadda muttaka
  • Kyangu okusimba era nokulabirira
  • Nga kirina emigaso emilala nga okuvaako omuddo gwe bisolo, emmeere eyempeke oba enku