Jump to content

Okuyimbulukuka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Okuyimbulukuka

Okuyimbuluka [[1]] mbeera ya bulamu amasavu agayitiridde we gabeerera mu mubiri okutuuka ku ssa wegatuukira okubeera nga gakosa obulamu by’omuntu. Abantu battwakibwa okuba abayimbulukufu singa emibiri gyabwe gibeera n’obuzito, oba ekipimo ekifunibwa oluvannyuma lw’okugabiza obuzito bw’omuntu n’ekitundu (square) ky’obuzito bw’omuntu bubeera nga buli waggulu wa kilo amakumi asatu (30 kg/m2), ng’obuzito obuli wakati wa kilo 25-30 kg/m2 bwe butwalibwa ng’obuzito obusukkiridde. Amawanga agamu mu buvanjuba bwa ssemazinga wa Asia bakozesa ebipimo (values) bya wansiko. Okuyimbulukuka kuleetawoemikisa gy’okufuna endwadde ez’enjawulo okusingira ddala obulwadde bw’omutima, sukaali, okuzibikirwa kw’empewo, ebika bya kookolo eby’enjawulo, n’obulwadde bw’ennyingo.

Ebiviirako okuyimbulukuka

[kyusa | edit source]

Okuyimbulukuka kusinga kuleetebwawo omugatte gw’ebintu eby’enjawulo okuli okulya okuyitiridde, obutakola dduyiro,okufuna obutoffaali okuva ku bazadde obuleeta embeera eno. Okugamaba nti omuntuasobola okuba ng’alya katono wabula era n’ayimbulukuka oluvannyuma lw’omubiri okulemererwa okumenyamenya emmere eno tekirina byakulabirako bikiwagira. Okuyimbulukuka kuleetera abantu okubeera nga bakozesa amaanyi mangi okusinga bannaabwe abatono olw’okuba kiba kyetaagisa amaanyi mangi okukuuma obuzito bw’omubiri obweyongeddeko.

Okuziyiza Okuyimbulukuka

[kyusa | edit source]

Okuyimbukuka kusoboka okuziyizibwa ng’omuntu ateekawo enkyuka kyuka mu nkola y’ebintu bye mu bulamu bwe obwa bulijjo wamu n’okukola okusalawo ng’omuntu. Okukyusa endya n’okukozesa omubiri dduyiro bwe bujjanjabi obusooka era obusinga obukulu. Omutindo gw’emmere gusobola okukyusibwa ng’omuntu akendeeza ku kulya emmere enzito, okugeza emmere erimu amasavu amangi ne sukaali, n’okulya ennyo ebika by’emmere ebitasoboka kumenyebwamenyebwa mu mubiri. Obujjanjabi busoboka okukolebwa nga bugattiddwa wamu n’endya ennungi, okukendeeza ku bwagazi bw’okulyaoba okukendeeza ku kulya amasavu.singa endya, dduyiro n’obujjanjabi bibeera nga tebikoze, awo omuntu asobola okussibwa ku nkola y’okusala amasavu oba okulongoosebwa okusobola okukendeeza ku bunene bw’olubuto ekireetera omuntu okuwukira ng’akkuta mangu oba okukendeeza ku bungi bw’ebirungo omubiri bye guyingiza.

Akabi akali mu kuyimbulukuka

[kyusa | edit source]

Okuyimbulukuka kimu ku bintu ebireeta okufa mu nsi yonna wabula nga buziyizika. Kino kyeyongera buli kiseera mu bantu abakulu ne mu baana abato. Mu 2004, abantu abakulu obukadde 600 nga bye bitundu (13%) n’abaana abato obukadde 42 abali wansi w’emyaka etaano baali bayimbulukufu. Obuyimulukufu bulabikira nnyo mu bakazi okusinga mu basajja. Ab’obuyinza kino bakyigerako ng’ekizibu ky’ebyobulamu ekisinze mu kyasa ekya 21. Embeera y’okuyimbulukuka ereetera abantu abakulina okubeera nga basongebwamu ennwe naddala mu nsi ey’obugwanjuba , newankubadde nga kyali kitwalibwa ng’akabonero k’obugagga n’obugimu bw’omuntu mu byafaayo ebyedda wamu ne mu bitundu ebimu eby’ensi mu kiseera eky’olwaleero. Mu 2013, ekitongole ekimu mu America ekiyitibwa American Medical Association kyabinjiwaza obuyimbulukufu ng’ekika ky’obulwadde.