Okuziŋŋama obwongo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Enfaanana y’obulwadde buno[kyusa | edit source]

Okuziŋŋama obwongo[[1]] kitegeeza embeera omuntu w’abeerera n’obuzibu obw’endaga butonde obulimu obungi bw’obutoffaali obusirikitu obwawula omuntu omu ku mulala nga busukka ku bw’omuntu owa bulijjo. Embeera eno etera okuwerekerwa n’okulwawo okukula, okukaluubirirwa mu bisomwa wamu n’enfaanana etali ya bulijjo. Omuntu omukulu alina ekizibu kino enteegera ye ebeera ku 50 ng’eba yenkanankana n’eyomwana alina emyaka 8 oba 10 naye nga kino kisobola okwawuka mu bantu ab’enjawulo.

Abazadde abazaala omwana ono babeera balamu bulungi era nga obulwadde buno bugwa bugwi, tewali abweyagalira. Tewaliiwo nneeyisa oba mbeera mu butonde bw’ensi eyinza okukyusa kino obutabaawo. Ekizibu kino kisobola okukeberebwa ng’omukyala ali lubuto nga bayita mu ku mwekebejja ng’ali lubuto, okukumukebera ng’azadde wamu n’okukwekebejja endagabutonde ye kko n’omwana. Okwekebeza buli kiseera (buli mwaka) endwadde kigambibwa okuba nga kya mugaso nnyo era kiyamba.

Tewaliiwo ddagala livumula mbeera eno naye ng’okusoma n’okwefaako ekisaanidde kusobola okwongera ku mutindo gw’obulamu. Abaana abato nga balina ekizibu kino batera okusomesebwa mu bibiina eby’etongodde ate bo abalala basomesa bo bokka. Abaana abamu nga balina ekizibu kino basoma ne bamalako eddaala erya haaya era ng’abamu ku bano bafuba ne batuuka mu matendekero agawaggulu. Mu bantu abakulu, okugeza mu nsi eya Amerika baagala gavumenti ebayambeko okubateerawo emirimu egibagyamu, okussa essira ku mateeka agafuga eggwangu ko n’okussaamu ensimbi okusobola okutwala enkola eno mu maaso. Abantu abafa olw’ensonga nti babeera n’emyaka 50-60% newankubadde nga beerabirira bulungi.

Obulemu buno bwe businga okulabikira mu bantu abalina obutaffaali obusukka ku obwo obwawula omuntu ow’ekikula ekimu ku mulala. Obulemu buno bukosa omwana omu ku buli baana 1000 abazaalibwa. Mu 2013, abaana 36,000 baafa olw’ekizibu kino okuva ku abo 43,000 abaafa mu 1990. Endwadde eno yatuumibwa mu Lungereza Down Syndrome, mu Lungereza oluvannyuma lw’omusajja John Langdon Down okuginnyonnyolako mu 1866. Ebirala Jean-Étienne Dominique mu 1938, ne ÉdouardSéguin mu1814. Ensibuko y’obulwadde buno yazuulibwa abasajja Abafannsa mu 1959.