Jump to content

Okwekuuma

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ssemateeka w’a Uganda Owokubiri

Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Okwekuuma n’okuziiyiza obuzzi bw’Emisango

Si kya bugunjufu omuntu okwekuumira mu butamanya. Wano mu Uganda , abantu banji beekuumira mu butamanya kubaga bangi si basomi ba bitabo era ate nga ensigo eno eviira ddala mu maka mwe bakulira omutali yadde etterekero ly’ebitabo ettono.

Abaana abakula nga balina etterekero ly’ebitabo awaka era ne bakula nga balaba maama ne taata, yadde nga baamala okusoma mu matendekero, naye nga bajjuumbira okusoma ebitabo eby’enjawulo awaka mu biseera byabwe eby’eggandaalo batera nabo okuba abasomi.

Ebimu ku bitabo ebirina okubeera mu kisenge ky’abagenyi mu maka amagunjufu mulina okubaamu:

• Ebitabo ebitukuvu eby’Olungereza n’Oluganda

• Ebitabo bw’obulunzi n’obulimi eby’oluganda n’olungereza. Ebitabo by’ebyobulamu ebisookerwako

• Ebitabo ku miramwa gya sayansi egy’enjawulo okutandika n’obwengula okudda ku butonde bw’ensi egy’Olungereza n’Oluganda.

• Enkuluze ez’Olungereza n’Oluganda

• Senkuluze (Encyclopaedia) ez’Olungereza n’Oluganda.

• Ebitabo eby’obuwangwa bwaffe obw’enjawulo okutandika n’obyobuwangwa by’Abaganda okudda ku bw’obuwangwa bw’abatuliraanye n’obwebunaayira gye tusuubira okukola emikwano egizimba.

• N’ekisembayo omuntu omugunjufu oba amaka amagunjufu tegalina kubulamu bitabo ku mateeka , n’ebyo ebikwata ku kuziiyiza obuzzi bw’emisango eby’enjawulo.

Omuntu yenna omugunjufu alina okumanya nti obutamanya kiyinza okukusibisa kubanga ojja kukola ebintu bingi by’otamanyi nti bikontana n’amateeka nga tomanyi nti obutamanya mateeka tekikujjaako musango gw’ozizza mu butamanya bwo. Kino kisibuka mu njogera y’abalooma ab’edda eyali egamba nti: “Ignorantia juris non excusat” ekivvuunulwa nti "obutamanya mateeka tekikujjaako musango".


Omuntu ow’omulembe guno n’olwebyo alina okuba ng’amanyi etteeka. Kino kyava mu bakakensa mu by’amateeka n’obuzzi bw’emisango okukizuula nti omuntu ayinza okuzza omusango akagenderere bw’atuuka mu kkooti ne yekwasa nti yazzizza omusango ogwo olw’obutamanya nti kye yakoze kimenya mateeka.


Mu butuufu omuntu nga oyagala okumanya oba amaka mw’okyadde magunjufu, tofa nnyo ku bulungi na nsimbi zakozesebwa kuzimba nnyumba naye sooka otuuke mu kisenge ky’abagenyi olabe oba mulimu etterekero ly’ebitabo bw’omala osabe okugendako emmanju mu kabuyonjo okakase oba ddala amaka ago galina kabuyonjo ate nga nnyonnjo.


Mu butuufu obugunjufu obutandikira mu maka butendeka omwana okwekuuma embeera zonna ez’obulabe awaka, mu kkubo, ku masomero n’amatendekero ne ku mirimu k’ebe nnimiro , busuubuzi, makolero, oba wofiisi okutandika n’okwekuuma obutujju obw’omulembe guno.


Okwekuuma Obutujju


Okwewala Bbomu

Bbomu kintu eky’obulabe ku bulamu bw’omuntu. Abatujju bayinza okutega bbomu mu ngeri ez’enjawulo omuli:

1. Bbomu enkusike (ennekusifu).

Zino zinyinza okuba mu:

a) Makeesi, ensawo, obuveera, ebikapu n’ebisawosawo ebirala byonna.

b) Ebirabo oba obulabolabo.

c) Ebiganda by’ebimuli

d) Bbaasa oba ebitereke

e) Motoka oba ebidduka ebisimbidwa mu kifo kyonna nga tezimanyiddwako bizikwatako.

f) Eby’amasannyalaze nga lediyo, amaawa, amasimu ago mu ngalo, kamera, TV, n’ebirala.

g) Ekintu kyonna ky’olabako waya eziringiza oba ezitategerekeka nga zisibiddwako.

h) Kasasiro n’ebidomola oba ebipipa bya kasasiro.

Ebyo waggulu nga obadde obirabye, kola bino:

a) Nannyini kintu bw’aba mu kitundu we kiri , mujjukize okufa ku bintu bye aleme kumala gabireka awo.

b) Nannyini kintu ekyekengerwa bw’aba talma w’ayinza kulabibwa (kusangibwa) oba nga tamanyiddwa kola bino:

i. Tokwata yadde okuseetula ekintu kyonna nga okyekengedde.

ii. Tegeeza abalala abaliwo ku kintu kye wekengedde.

iii. Vva mu kifo ekyo mangu ddala

iv. Laba nga obeera miita ezisukka 200 (bibiri) okuva awali ekintu oba ebintu bye wekengedde .

v. Kubira Poliisei essimu .Omuntu yenna omugunjufu arina okuba ne namba za Poliisi y’ekitundu ez’ebijja bitalaze.

vi. Toddayo ewali ekintu kyewekengedde yadde nga olina kyewerabiddeyo.

vii. Wewale okuyimirira okumpi n’ebifo awali amafuta, serinda za ggaasi, ebirawuli , egiraasi oba wansi wa waya z’amasanyalaze kubanga bino bikola akabenje ak’omutendera ogw’okubiri nga bbomu ebadde etulise.

viii. Jjako ebyempuliziganya byonna ebya eratekinologiya (electronics) oba eby’amasanyalaze nga leediyo ezitambuza amaloboozi oba amasimu.

2. Bbomu ezikwekebwa mu bbaasa oba amabaluwa.

a) Ebinnyonnyozo

Ebbaluwa oba ekitereke ekikuleetera okwekengera kiyinza okuba :

i). Nga kizito, kyekubidde olubege era nga tekitudde mu kyenkenyi.

ii) Kiriko waya ne bbaatule ezirinza oba ezirabika okuba nga

   ziragaya.

iii) Okulabikamu obutuli obutono.

iv). Okuvaamu okuwunya okwenjawulo

v) Ne sitampu za poosita ennyingi okusingawo ku za bulijjo.

vi) Nga teziriiko ndagiriro(address) yo’yo aba aweerezza ekitereke.

vii) N’endagiriro enyukutiddwa obubi (badly spelt)

viii) N’akabonero ka poosita ebbaluwa oba ekitereke gye kivaakatali bulijjo .

b) Eky’okukola nga ozudde ekitereke oba bbaasa gyewekengera:

- Togezaako ku kisumulula oba okukiggula.

- Togezaako kukinyiganyiga oba okukisindika

- Togezaako kukiteeka mu mazzi oba kukibikka mu musenyu oba okukiteeka mu kintu ekirala kyonna.

Wabula: - Labula abantu abalala okuva mu kifo ekyo amangu

- Tegeeza poliisi mangu.

3. Nga ofunye essimu etegeeza nga bwe waliwo bbomu

Nga ofunye essimu ekutegeeza nti waliwo bbomu:

a) Sigala nga oli mukkakkamu ogezeeko okumanya oyo akubye nga:

- Wetegereza enjogera ye.

- Amalooboozi agali emabega

- Emyaka n’ekikula kye: Musajja oba Mukazi

b) Oyo akubye essimu muleke amalirize obubaka bwe awatali kumujja ku mulamwa era ogezeeko okuwandiika obubaka bwe mu bigambo by’akozesezza era olage n’ekiseera w’akukubidde essimu.

c) Gezaako okusaba omukubi w’essimu okuddamu obubaka, omuteeke mu mbeera ey’emboozi.

d) Mubuuze ebibuuzo bino:

- Bbomu eteekeddwa (etegeddwa) mu kifo ki?

- Efaanana etya.

- Egenda kutulika ku ssaawa meka

- Lwaki yategeddwa.

- Ggwe ani.

e) Singa eba erabise weyategeddwa, gitwale nga ekintu ekyekengerwa.

- Abantu bajjibwe mu kifo kino.

- Bw’eba mu kizimbe munda, amadirisa n’enzigi byonna bisaanye okulekebwa nga biggule.

- Nawe vva mu kifo oba ekizimbe naye toggalawo.

- Ziiyiza abantu abalala obutagenda kumpi na kizimbe nga obalabula

- Tegeeza ab’ebyokwerinda oba kubira Poliisi ku masimu ag’ebigwa bitalaze agakuweebwa poliisi

4. Bbomu z’emotoka (Ebidduka)

Ebidduka biyinza okukozesebwa abatujju okuyingiza bbomu mu kifo we baagala okukola obutujju. Ekidduka ekya buli kika kiyinza okukozesebwa.

Nga bbomu ebwatuse (etulise) :

i) Vva mangu mu kifo nga bwe kisoboka singa abe osobola.

ii) Tobaako ky’olonda kuva mu kifo ekirumbiddwa okujjako ekyo kye wazze nakyo.

iii) Toddayo mu kifo ekirumbiddwa yadde nga olina kyewerabidde.

iv) Bw’oba osobola, kubiriza abantu abalala baamuke mangu ekifo kino.

v) Kubira mangu Poliisi . Nga omuntu omulabufu olina okuba n’amasimu gonna agayinz okukuyamba nga waliwo ebigwa tebirze naddala aga poliisi.

vi) Wesuule obuwanvu bwa miita ezitakka wansi wa 200 okuva ku kifo ekirumbiddwa.

vii) Omuntu yenna mu kifo kino ayinza okusalako ekifo kino obutakkiriza muntu yenna kukiyingiramu okutuuka nga poliisi ezze

viii) Nga Poliis etuuse , gondera poliisi ng’abakugu mu by’okerinda awatali kufa ku bitiibwa byo

ix) Ebidduka birina okukyusibwa okuyita mu makubo amalala.

x) Bw’oba olina ekintu kyonna ky’omanyi ku bulumbaganyi buno , tegeeza Poliisi buli kyomanyi oba ky’olabye.

xi) Singa oba oyagala okuyamba abatuusiddwako obuvune, wateekwa okubaawo enteekateeka z’ebyokwerinda ez’enjawulo z’olina okugoberera. Sooka webuuze ku b’ebyokwerinda abaliwo.

xii) Bw’oba tolina mulimu mu kifo kino, tambula oveewo kubanga okusigalawo kwo kuyinza okukuleetera obuzibu obulala oba okufa kubanga wayinza okubaawo bbomu endala ezitegeddwa okumpi.

xiii) Wemanyiize:

a) Okwekebejja ekifo w’okolera nga wakayingira okulaba oba webaddewo okuyingirawo mu ngeri emenya amateeka oba ey’obulabe.

b) Tokkiriza balongoosa n’abakola emirimu emirala awaka oba mu nnyumba yo oba mu woofisi yo awatali muntu gwe wesiga abaliko.

c) Kuuma ebifo byonna awka wo , mu nnyumba yo, ne wokolera nga biri mu nteekateeka ennungi , kino kiba kikuyamba okulaba amangu ekintu kyonna ekitasaanidde ekiyinza n’okuba bbomu.

Enkolagana ezebyokwerinda mu Ntabaganyo

Enkolagana ez’ebyokwerinda mu ntabaganyo zigenderera okufuula entabaganya zaffe ez’emirembe. Enkolagana zino zibaamu abakulembeze b’ebyalo, emiruka, eggombolola, okutuukira ddala ku distulikiti era enkolagana zino ziri wakati w’obukulembeze bw’abantu obw’emitendera egy’enjawulo, ebitongole ebya nakyewa, amasomero n’amatendekero, awamu n’amasinzizo nga bakolaganira wamu n’abaabyokwerinda, naddala Poliisi.

Obukuumi mu ntababuvo yo

Obukuumi mu ntababuvo (community safety) butandikira ku buli muntu kinnomu okufa ku bukuumi bw’obulamu bwe gy’abeera gy’akolera ne gy’akyakalira.

Okulembewaza(Policing)

“Okulembewaza” (to police) kitegeeza okukuuma emirembe mu ntabaganyabantu . Abalembewaza be ba ofiisa abatendeke mu busirikale abakola mu kitongole “Ekirembewazo”(Poliisi) . Ekitongole ekilembawazo era mu luganda oyinza okukiyita “Poliisi” .

Obukuumi mu ntabaganyo bwetaagisa kawefube ow’enjawulo nga “Okulembewaza Emiriraano” (Neighbourhood Policing) oba Okulembewaza Entabaganyo (Community Policing).

Okulembawaza kw’emiriraano

Okulembewaza kiva mu kigambo “mirembe”. Okulembewaza n’olwekyo kitegeeza okukuuma emirembe munda mu ggwanga. Kino kikolebwa abalembawaza(Police officers)

Ekigendererwa okulembewaza kw’emiriraano kiri mu bwetaavu bwa buli muntu kinnomu okwekuuma obuzzi bwe’emisango, ebintu bye, wamu n’okukendeeza embeera ey’okutya mu ntabaganye ye olw’obuzzi bw’emisango nga:

a) Alongoosa obukuumi mu maka ge

b) Ayongera obusobozi bwe okwekengera ebiyitayita oba abayitayita mu kitundu.

c) Azimba omwoyo gw’entabaganyo(community spirit)

d) Alongoosa embeera mw’ali e) Ng’alongoosa enkolagana ye ne Poliisi awamu n’abakulira eby’okwerinda ab’ebitongole eby’enjawulo.

Buli Kabondo ka miriraano ketaagisa okuteekawo omuntu omu akwanaganya eby’okwerinda mu kitundu kye . Omukwanaganya w’eby’okwerinda mu kaabondo k’emiriraano akola nga olutindo wakati w’entabagabyo ne polisi y’ekitundu kyokka yadde nga ono w’ali buli muntu mu ntabaganya akwatibwako kyenkanyi okuketta obuzzi bwemisango.

Mu kutondikawo obubundo bwa ebyokwerinda mu bariraanwa kiteekwa okumanyibwa nti buli ntabaganyo eba n’ebizibu ebyoyo ebiyinza okuba nga byawukana n’ebyentabaganyo endala, ekintu ekyetaagisa obutabuusibwa maaso mu kukola enteekateeka z’okwekuuma mu bubondo bw\emiriraano egy’enjawulo.

Ebikulu okumanya mu nteekateeka z’okwokuuma mu miriraano kwe kwaba nti buli muntu mu kabondo;

a) Bw’aba wa kutambula, emisana oba ekiro akola enteekateeka omuli okutegeeza abantu be, ab’emikwano, n’abaliranwa ddi ne wa gy’agenda era ne ani gwagenda naye bwe kiba kisoboka na ddi lw’akomawo.

b) Gezaako okulaba nga obaako okuwerekera buli lw’otambulako. Wemanyiize obutamala agatambula nga tolina muntu wo gw’otegeezezza wa n’ani gw’oli naye.

c) Ekiro oba emisana , wewale okuyita mu bifo eby’ebbali ,ebisegyuusi , n’ebifulukwa nga oli wekka. Mu tawuni oba ebibuga kozesa enguudo eziriko amataala nga obudde kiro.

d) Wemanyiize okubuuza oba okukebera ku banno nga oyitirayo oba okuba essimu.

e) Wemannyiize okukubira banno b’obadde nabo oba gy’ova nti otuuse bulungi nga ozzeyo awaka wo.

f) Wemanyiize okuba ne namba za ab’ebyokwerinda , naddala eza Polisi mu ssimu yo.

g) Wemanyiize okuloopera polisi w’osanze obugyagalalo, n’obuzzi bw’emisango obutonotono nga okunyakula ensawo, okusumulula motoka oba ebidduka, n’ebiduula ebitwalitra amateeka mu ngalo.

By’olina okwebuuza oba nga awaka wo wakuwa obukuumi Okusobola okumanya aba awaka wo si wangu kumenya na kuyingirirwa; webuuze ku;

i) Enzigi. Enzigi zonna awaka wo ng’umu era ziriko amakufulu oba eminyolo emigumu? ii) Wabweru w’ennyumba . Wabweru w’enyumba wazibuwalira omuzzi w’emisango okuyingirawo n’okwekweeka?

iii) Amadirisa: Amadirisa gonna awaka wo magumu?

iv) Eby’emigaso: Ebintu byonna eby’omugaso biri wanywevu, webitalabikira yadde okutuukibwako amangu ?

Ekikukusa- n’Ekibuzabantu

Waliwo abantu ababuzibwawo ne bataddayo kulabika nga bakyali balamu ate ne wabaawo abo abakukusibwa nga balimbibwa okutwalibwa okukola emirimu egy’empeera oba omusaala kyokka ne bakomekkereza nga bafuuliddwa baddu, bafuuliddwa bagabuzi ba kaboozi oba okuwalirizibwa okwegadanga ku buwaze wakati mu kutiisibwatiisibwa okutuusibwako obuvune.

Waliwo ebintu bingi kw’oyinza okwekengera nti omuntu oyo ayinza okuba nga akukusiddwa mu maka , ku faamu , ekkolero , oba mu bifo omulengerwa omukwano, aba mu makubo.

Obubonero obulaga nti omuwala akozesebwa lwa buwaze.

a) Omutiini ng’ali n’omukwano omusajja nga mukulu ennyo ku ye.

b) Omusajja ono aba amufugiriza

c) Akwatibwa kubutambi obulaga ebifaananyi bye nga yerigomba ne mukwano gwe ono oluusi ne mikwano gya mukwano gwe ono ow’obuwaze.

d) Amukyusakyusa okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Ku nguudo

a) Ebinuubule, ebiwundu oba ebifumito.

b) Okutya abakulu naddala abakuumi b’eddembe.

c) Nga waliwo omuntu omu omukulu alabika okuba nga ye mukuumi w’ekibinja ky’abato.

d) Ekibinja ky’abasabirizi abato oba abakulu batwalibwa mu bifo eby’enjawulo buli lunaku kyokka ekiro baddayo mu kifo kimu mwe basula.

e) Mu ntambula ey’olukale batambula nga kibinja.

f) Oluusi mu kutambula wesannga nga;

- Omuntu tatabagana bulungi na banju mw’ali

- Omwana muto oba abato ali yekka oba bali bokka

- Abato Tebalina bintu bingi naye balina essimu

- Bekengera abakulu

- Batya nnyo okuzzibwayo ewaabwe .Kino kiyinza okukulaga nti baddukayo olw’embeera ey’obulabe

- Mwana muto naye alabika obuba nga mukugu mu by’omukwano eri abasajja. Wano kyetaagisa okuzuula gyenvudde we.


Ku faamu oba mu kkolero


a) Omuntu alabika si musanyufu

b) Akozesa ebikola ebitatuukana na mutindo

c) N’engoye z’ayambadde tezikwatagana na mulimu gw’aliko.

d) Tebagya mu ntabaganyo mwe bali

e) Tafuna lunaku lwa kuwummula.

f) Talina biwandiiko bimwogerako. Biyinza okuba nga biri mu mikono gya muntu mulala oba oyo abakozesa obumbula.

Abakola awaka

a) Omukozi tatera kukkirizibwa kufulumako wabweru wa nnyumba ,okkujjako nga amukozesa ali naye

b) Atulugunyizibwa, atuntuzubwa , tasasulwa

c) Talina kifo kisuufu wa kusula . Asula ku sementi oba mu ntebe .

d) Taliisibwa bulungi oba alya bifikidde.

Obutayigiriza baana kwekuuma okufaanana nga obutabawa bukuumi si kya bugunjufu.

• Nga obadde ova awaka , bwe kiba kisoboka obaana abato baleke eka nga waliwo abalabirira gwe wesiga .

• Yigiriza omwana wo okugenda awali wofiisi oba abalabirira ekifo ng’abadde akubuzeeeko aleme kutambula mulambaalo ng’akunoonya.

• Yigiriza abaana okukubeera ku lusegere nga muli ebweru oba mu kifo ekya lukale nga mu kusaba, amasinzizo oba ebivvulu.

• Tolekanga baana kubeera mu motoka yadde okubeera we’eri bokka

• Bw’oba osimbula emmotoka sooka wetegereze okulaba nga tewali mwana wansi, mabega oba mu maaso gayo

• Yigiriza abaana amannya gabwe gonna, we babeera, amannya n’essimu yo, okusobola okubiwa poliisi nga kyetaagisa.

• Yigiriza abaana okukutegeeza amangu nga waliwo abakijjanya, abakwatirira oba abasendasenda mu ngeri emu oba endala.

• Buulirira abaana bo abatiini, abawala n’abalenzi, engeri y’okwekuuma emikwano emibi .

Omuntu ayawula atya omukwano omulungi n’omubi ? Mutegeeze nti si buli amusekera oba ayogera gy’ali n’eggonjebwa nti wa mukwano. Oluusi aba mulabe wo nga yefudde omulungi. Naye  yogera naye bulungi kyokka tomwewa nnyo omale okumuyiga obulungi.

Okumanya enjawulo wakati w’Okutulugunya n’Okubonereza

Sooka okumanye nti omulabe asooka eri omwaba oba abaana be ye ggwe wennyini naddala nga toyawula kubonereza na kutulugunya . Waliwo abazadde abalina omutima ogw’ensolo oba ogw’ekitemutemu kyokka ne wabaawo abo abatagulina naye nga obuzibu bwabwe butayawula kikolwa kya kubonereza na kyakutulugunya.

Sooka omanye nti abantu abasobola okutulugunya omwana, omuli n’okumukabawaza muyinza n’okubaamu ab’oluganda nga kitaawe omugwenyufu, bba wa maama we, munnaddiini oba omusomesa we omugwenyufu., n’abantu be wandiyise ab’ebitiibwa oba abo abalala abamubeera ku lusegere. Si kyabugunjufu ennaku zino omuzadde omukyala okunoba olw’empisa envundu eza mwami we z’amanyi obulungi kyokka n’aleka abaana be n’omusajja ono . Bw’oba onoba wandibadde onoba n’abaana bo naddala abawala oba n’osigala mu ddya nabo, tomanya kitaabwe ayinza okufuna omwoyo omugwenyufu oba ogw’ekisolo..

Okutwalira awamu, okusobola okugunjula omwana obulungi , omuzadde olina okunnyonnyoka ki kye kitegeeza okutulugunya omwana( oba omuntu yenna ). Mu kutulugunya omwana mulimu:

a) Obutamufaako n’okumusuulirira . Muno mulimu obutawa mwana byetaago bya bulamu nga emmere, engoye, obujjanjabi, omukwano(okwagala) ,okumusomesa mu masomero n’amatendekekro, n’obukuumi eri embeera yonna ey’obulabe.

b) Okutulugunya okw’omubiri. Obuvune obw’omubiri (physical abuse) kiva ku kubonereza n’oyita we wandikomye oba okubonereza okw’obukambwe. Buli kubonereza kulina kuba na kigendererwa kya kugunjula so si kutulugunya .Okutulugunya mu linnya lw’okugunjula olumu kiva ku muzadde butamanya kufuga mbeera ze za buntu ( emotions) nga okunyiiga, okwennyika, obujja mu bakazibajja, obukyaayi nga omusajja akyawaganye ne maama w’abana be ate n’afuna omukyaala omulala , n’okwagala okusanyusa omukyala oyo omupya ayinza okuba nga tayagala baana b’asanze mu maka. N’okwekatankira omwenge ekiyitiridde n’ebiragalalagala nga enjaga biremesa omuzadde okufuga embeera ze ez’obuntu, ne kimuleetera okukola ebintu ebitulugunya abantu be. Obuvune obw’omubiri buyinza okweyorekera mu binuubule, okumenyebwa amagumba, okwokebwa , omuliro , oba amazzi agookya.


c) Okutulugunya embeera z’obuntu. Obutaba nga kutulugunya kwa mubiri, kiyinza okuba ekizibu okumanya nti omwana ali mu kutulugunyizibwa mu mbeera ze ez’obuntu(okutulugunyizibwa okw’ebirowoozo). Singa omwana atulugunyizibwa mu mbeera ze ez’obuntu akula yetya, tammuka, tayogera bulungi mu bantu, era nga si mutabaganyi , oluusi n’okubeera omukambwe ekiyitiridde. Embeera z’obuntu mu mwana zitulugunyizibwa singa buli kaseera aba akyunyibwa, avumwa, ajeregebwa, asosolebwa, tafiibwako,aswazibwa mu banne, agugumbulwa mu kifo ky’okuwabulwa oba okulagirirwa eky’okukola, oba buli bbanga n’aba nga ageraageranyizibwa ne banne mu ngeri egenderera okumulaga nti talina ky’asobola , asobole okuggwamu amaanyi okubaako kye yenyigiramu .

N’okusuubira ekiyitiridde mu mwana, naddala mu misomo, emizannyo , n’ebirala nakyo kimujja mu mbeera n’abeera nga buli bbanga ali ku bunkenke olw’okutya okulemererwa.

d) Okukabawaza . Okutulugunya omwana nga omukabawaza mulimu okumuwemula, okumufungula, okumukwatirira, okumulaga obusajja, n’okumukaka omukwano oba okumukwata. Oluusi kino kiyinza n’okukolebwa ab’eng’anda oba abantu be ab’okulusegere . Okuziiyiza obuzzi bw’emisango kye ki?

Omuntu yenna okweyita omugunjufu ateekwa okuba ng’alina okumanya engeri y’okwekuumamu obuzzi bw’emisango n’okumanya engeri gy’ayinza okuyamba okuziiyiza obuzzi bw’emisango n’obutujju. Okuziiyiza obuzzi bw’emisango nakwo kutandikira mu maka agalimu abakulu oba abazadde abagunjufu.

Entabaganyo (communities) okwenyigira mu kawefube ez’okukunga omuntu kinnoomu okuziiyiza obuzzi bw’emisango kiyamba kinene okusinga okujjanjaba abo ababa batuusiddwako obuvune oba okufiirwa ebintu byabwe mu buzzi bw’emisango.

“Okuziiyiza obuzzi bw’emisango”(crime prevention) kitandika na kumanya nti obuzzi bw’emisango buyinza okubeerawo essaawa yonna awantu wonna, n’okumanya embeera ezisikiriza obuzzi bw’emisango, engeri y’okulabiriza obuzzi bw’emisango, na buli ekiyinza okukolebwa okukendeeza obuzzi bw’emisango , omuli n’okuyamba ku poliisi n’okugitegeeza , okugiwa obujulizi ng’abantu bewaayo okuwa ebigambululo(statements) n’okuyigiriza abo mu maka gabwe , naddala abaana okwekuuma embeera ez’enjawulo, okuva nga bakyali bato.

Okuziiyiza obuzzi bw’emisango kyetaagisa okukunga abaana, abavubuka na buli muntu mu ntabaganyo(communities) okwenyigira mu kuziiyiza obuzzi bw’emisango. Okuziyiza obuzzi bw’emisango kyetaagisa okukwatira awamu n’enkolagana wakati wa poliisi n’entabaganyo(community) okulaba nga wabaawo ekikolebwa nga emisango teginnazzibwa, giziyizibwe.

Olw’okuba namunigina y’entabaganya (smallest unit of society) esookerwako y’enju (family), okuziiyiza obuzzi bw’emisango kwetaagisa kutandikira mu maka.Kyokka amaka gano gateekwa okuba n’abazadde abagunjule (ababangule) obulungi mu bintu bw’okwerinda obuzzi bw’emisango. Enteekateeka z’okuziiyiza obuzzi bw’emisango ziba zikendeeza obuzzi bw’emisango, ne zisitimula obumanyirivu bw’omuntu kinnoomu n’entabaganya , okutwalira awamu mu kulemesa obuzzi bw’emisango, nga ekolaganira wamu n’abebyokwerinda.

Yadde nga ebitongole ebirwayisa obuzzi bw’emisango bye bivunaanyizibwa ku kino , buli muntu mugunjufu alina okukwatira wamu nabyo okuziiyiza obuzzi bw’emisango buno.


Okwekuuma kw’omuntu kinnoomu


Omuntu omugunjufu ow’omulembe guno ateekwa okuba ng’atendekeddwa mu by’okwerinda okuva nga muto asobole okwekengera embeera eziyinza okuba ez’obulabe n’okwewala ebikolwa ebimenya amateeka n’ebiragiro.

Ensi gy’ekoma okukulaakulana , n’obumenyi bw’amateeka gye bukoma okweyongera . Buli kaseera abazzi b’emisango baba bapanga okukola obulumbaganyi ku balala kino ne kireetawo obwetaavu bw’okwekuuma , okuviira ddala ku buli muntu kinnoomu .

Buli muntu alina okukimanya nti alina ekitundu ky’obwongo ekimusendasenda okuba omumenyi w’amateeka” (criminal mind) ekiyinza okumuleetera okwagala okukola ebintu ebimu kifuulannenge(inversery) mu ngeri etali ya buntu. Ekitundu ky’obwongo ekisikiriza omuntu okukola ebintu kifuulannenge tekiriimu busaasizi yadde okuteeka nannyini bwongo mu kifaananyi ky’omuntu omulala okumanya ennaku n’obulumi bw’oyo alumbiddwa .

Waliwo obuzzi bw’emisango obw’okukozesa eryanyi (violent crimes) nga okukwata abakazi olw’empaka , obuliisamaanyi mu bakyayigang’ana , n’okutigirira olw’empaka( sexual assault). Bino bibeerawo mu bato , abakulu, n’abakadde , omuli abaana, abavubuka , abakulu n’abantu ab’obuvunaanyizibwa mu ggwanga , kyokka abasinga okulumbibwa baba bakazi .Okukwata abawala oba abakazi okusinga kuva ku kwagala kwekkusa naye olumu liba fujjo na kigendererwa kya kumenya mateeka.Omuntu yenna alina okumanya embeera eyinza okumuteeka mu katyabaga ng’ako oba eyinza okuteeka abaana be mukatyabaga ng’ako era n’abayigiriza okwekuuma buli we babeera.

Waliwo obwakkondo, ekitegeeza okubbisa eryanyi, omuli n’okubbisa ebissi n’okubba emmotoka n’ebissi . Emisango gino nagyo givaako okutuusa obuvune obw’amaanyi nga kkondo ajjawo okugugubira kw’oyo gw’aguddeko oba okumutemula akagenderere naddala okusanyaawo obujulizi .

“Ekimenyamayumba” kisinga kuva ku kwagala bintu  nga sente kyokka kuyinza okufuuka “ekimenyamayumba ekyobulabe” ( aggravated burglary)  singa  mu kiseera ekyo mu nyumba mubaamu omuntu oba abantu.

Kino kiri bwe kityo kubanga omuntu amenya n’ayingira mu nyumba okubba nga mulimu abantu ayinza okubatusaako obuvune mu kwerwanako. Waliwo n’ekizindamaka(home invasion) naddala nga kikolebwa ng’abantu bo mu nju eyo mwebali basobole okuntuntuzibwa mu ngeri zonna oba okutemulwa.

Emisango gy’ekikwatabakazi(rape) girimu okukwata olw’empaka n’ekikwatabato(defilement). Okusinziira ku mateeka ,omwana omuwala ali wansi w’emyaka 18 talina busobozi kukkiriza kugenda mu kikolwa kya mukwano era omusajja oba omulenzi bweyegadanga naye yadde nga bamaze kukkaanya , etteeka likitwala okuba nga amukutte lwa mpaka.

Wano we wali obwetaavu bw’omuzadde omugunjufu okuyigiriza omwana we okwekuuma obuzzi bw’emisango mu buli mbeera. Kintu kikulu okumanya nti obuzzi bw’emisango n’obubenje biyinza okubeerawo ekiseera kyonna , osobole okubaako ky’okola okubiziiyiza . Okumanya engeri gy’oyinza okuziiyiza obuzzi bw’emisango kyetaagisa nnyo mu bulamu bwa buli muntu, mu buli maka, buli kifo, na mu buli ntabaganyo oba entabaganyabantu.


Omugunjufu aba omwetegefu mu buli mbeera , nawe :

• Beera mwetegefu buli bbanga awaka, mu kkubo, mu bivvulu, ku mirimu, mu nnimiro, ku faamu, na buli wantu.

• Teeka ebirowoozo byo ku mbeera ekwetoolodde .Webuuze ki oba ani akuli emabega ne mu maaso awatali kubuzibwabuzibwa kintu kirala kyonna.

• Tambula n’ekigendererwa nga wekenneenya ne wekkaanya abantu abali mu kifo ky’olimu , gy’ova ne gy’olaga naye nga tobalaga butereevu nti olina ky’oketta oba kye wetegereza.

• Kkiririza mu ngerekera (instincts) zo oba emmeeme yo ky’ekugamba. Singa tewekakasa mbeera gy’olimu giveemu mangu ogende w’osubira okuba n’obukuumi.

• Wefuule omuzibu okulumbibwa nga obeera mwetegefu. Gendako mu dduyiro z’emizanyo egy’okwerwanako, k’obe muwala oba mulenzi, musajja oba mukazi.

• Nga oli mu kifo w’otamanyiddwa , laba nga omanya bulungi embeera mw’oli . Manya Poliisi w’esangibwa, abakulembeze b’ekitundu oba amasinzizo w’oyinza okufuna obuyambi awatali kutya.

• Singa waliwo akugoberera, tambula nga odda mu bantu oba kuba essimu ku poliisi oba omuntu omulala ayinza okukuyamba , oba byombi. Bw’oba ovuga emotoka


Omugunjufu aba mwetegefu eri obuzzi bw’emisango ng’ali awaka we , nawe  :


• Teeka kkufulu n’eminyolo emigumu ku nzigi, n’amadirisa.

• Wabweru w’ennyumba; tema amatabi g’emiti agayinza okuyamba omubbi okulinnya ku nnyumba oba mu kalina eya waggulu.

• Obulikondo ne buppanya obuteetaagisa busikiriza ababbi. Buzibe!

• Bw’oba obuliddwa ebisumuluzo by’awaka oba ng’oyingidde mu nnyumba endala, kyusa amakufulu mangu ddala.

Omugunjufu yekengera buli akonkona ku lujji

Kibaddewo emirundi egiwera abantu abali awaka naddala abaana oba abakozi okutugumbulwa abantu abazze ng’abagenyi nga abakulu tebaliiwo. N’olwekyo:

• Buli lujji luteekeko akalingiza (peephole) okusobola okulaba ali wabweru nga togguddeewo lujji.

• Toggulirawo muntu yenna gw’otamanyi okujjako nga ofunye obukakafu obumala ku kigendererwa kye .

• Ne b’omanyi nga tobekakasa tobaggulirawo. Oluusi abantu omuntu b’amanyi be bamutusaako obuvune oluusi n’okumutemula.Sooka okubire banno abatali waka essimu okubategeeza nti waliwo omuntu azze awaka nga tonnaba kumuggulira.

Omugunjufu yekengera n’ amasimu agamukubirwa

• Tobaako kintu kyonna ky’omala gabuulira bantu oba muntu akukubidde essimu nga tomutegeera oba nga obuusabuusa oba nga ky’akugamba kya’li ky’ekyo.

• Sooka webuuze okufuna obukakafu nga tonnaba kubabuulira kintu kyonna kye bakubuuza ekikukwatako yadde ekikwata ku bantu bo.

• Singa ofuna essimu ezikutiisatiisa oba ezikukyankalanya toyogera bingi naye fuba okuwuliriza bye zigamba n’amaloboozi emabega wazo mu bukkakkamu.

• Bw’oba awantu wonna , ku ssomero oba ettendekero , mu wofiisi , oba awaka , oli n’akukubira essimu ng’akuyita ogendeyo gy’ali oba omusange awantu olw’ensonga emu oba endala tomala gagendayo kubanga abantu abamu batuusiddwako obuvune oluusi n’okubuzibwawo mu ngeri eno ne bataddayo kulabikako oba ne basangibwa nga batemuddwa.Wabula sooka wetegereze ye ani, akwagaza ki , ky’akwagaza kikwetaagisa kugenda gy’ayagala omusange ? Bw’oba teweekakasa togendayo oba kwatagana n’abebyokwerinda nga Poliisi oba abantu abalala be wesiga babalinnye kagere ku kagere. Batera okulimbalimba nti balina obubaka okuva eri omwagalwa wo oba bw’oba omusuubuzi nti balina kye baagala okukuguza oba kyebaagala okukugulako , okusobola okukusendasenda ogende gye bali oba bakutuseeko obulabe .

• Ebiseera ebimu abantu abakola olukwe okutuusa obuvune ku balala b’ebo b’amanyi obulungi era kino kisikiriza omuntu okugenda ono amukubidde essimu w’amugambye awatali kwekengera na kubuulirako muntu mulala yenna, ekintu ekizibuwaza okukwata abafere bano nga bamutuusizzako obuvune. Sooka okubire abantu bo era omugambe butereevu nti : “ka mmale okutegeeza ab’eka” oba “ka mmale okutegeeza abantu bange “.

Omuntu omugunjufu ng’ova awaka :

• Oyinza okuleka ng’amaka go galabika okubaamu omuntu nga obadde toliiwo, ngamba nga oleka amataala nga gaaka oba leediyo nga eyogera.

• Ne ggalagi ya motoka nayo giggale bulungi baleme kulaba nti emotoka teriiwo..

• Funa “engerabiseera” (timer) okujjako ettaala buli luvannyuma lwa kiseera ate n’egizzaaako okumala ekiseera.

• Buli lw’oba ova awaka tegeeza ab’awaka wa gy’olaze ne ani gw’oli naye. Ne bwe muba musisinkanye eyo ne mikwano gyo ne musalawo okubaako gye mulaga, kubira abantu bo essimu obategeeze b’oli nab one wag ye muli oba wa gye mulaze nga ne b’oli nabo bawulira . • Abaana tobaleka bokka waka nga tewali mukulu.Waakiri batwale ku muliraano awali abakulu.


Obugunjufu bunoonya okumanya

N’obutamanya nabwo bwongereza ku mbeera ey’obulabe eri omuntu era ne kikendeeza obusobozi bw’omuntu okwekuuma obuzzi bw’emisango, obubenje , n’ebijja tebiraze.

Si kikolwa kya bugunjufu okwekuumira mu butamanya. Ennaku zino abantu abamu tebafayo kunoonya kumanya era tebaagala kusoma bitabo bya njawulo awatali kigendererwa kya kuyita bigezo.

Muno mulimu n’abo abaatikkiirwa amadiguli abalekera awo okunoonya okumanya nga bavudde mu lwokaano lw’okuvuganya okw’ebigezo mu masomero n’amatendekero. Beerabira nti okumanya omuntu kw’afuna nga tali mu kuvuganya kwa kuyita bigezo kwe kumukuumira mu bayivu era n’abeera omuyivu omujjuvu kuba buli ky’asoma aba akyefummitirizaako mu ngeri ey’okuvumbula .Okwewala obutamanya:

• Amaka amagunjufu gabeeramu etterekero (amasa) ly’ebitabo eby’enjawulo nga lizimbiddwa bulunji mu nnyumba oba nga liri mu kkabada ey’embaawo.

• Muno mulina okubeeramu ebitabo by’amateeka nga ag’ebidduka ku nguudo, agabonereza obuzzi bw’emisango, n’amalala.

• Era beera n’ebitabo ku by’obulamu ebisookerwako, enzaala ey’omulembe, ennima ey’omulembe, obutonde bw’ensi, n’ebitabo ebitukuvu..

• Bw’oba osobola ku nnyumba yo teekako ekisenge ekisomerwamu ebitabo (study room) okusikiriza abo mu maka go okuba abasomi.


Kawefube w’Abaliraanwa

• Agali awamu ge galuma ennyama. Kintu kikulu ab’omuliraano okumanyagana n’okukolagana okusobola okwang’anga obuzibu obuyinza okubaawo. Mukwataganyize wamu n’abebyokwerinda nga poliisi mu kitundu kyammwe.

• Mulabe nga abavubuka mu kitundu kyammwe tebamala biseera byabwe nga bakireerese , abatalina kye bakola. Mulabe nga benyigira mu mirimu egy’enjawulo, ebibiina bya nakyeewa, n’okwenyigira mu by’amasanyu ebiyigiriza, omuli katemba ayigiriza(edutainament).

• Mutekeewo obwakalabalaba mu kitundu(neighborhood Watch ) oba potolo mu ntabaganyo ( community patrol) nga mukolera wamu ne poliisi .

• Muteekewo enkolagana ne poliisi okusobola okwang’anga obuzibu mu kifo ky’okulinda obuzibu okubaswo ne ne mulyoka mweyunira poliisi .

• Nga wabaddewo enkung’aana oba emikolo egy’abantu abangi , mutegezeeko Poliisi musobole okukolera wamu nayo okulaba nga tewali buzibu naddala okwekuuma abazzi b’emisango n’obutujju.

• Ekitundu kireme kubaamu bisegguusi , kakikya, ebisaaniiko, ebifulukwa, ebimotoka ebikadde ku kkubo oba mu maka , ebiyinza okwekwekwaamu abazzi b’emisango . Ekitundu ekirimu nnyo ebintu nga bino kiba kiraga abazzi b’emisango nti abantu abakibeeramu tebafaayo ku bigenda mu maaso mu kitundu kyabwe.

• Tuukirira abakulembeze b’ekitundu naddala abo abateeka mu nkola amateeka agakugira ebireekaana, enzimba y’ebizimbe ey’obulabe, ebyobulamu , n’amateeka agakugira omuliro, ebiragalalagala ne bakireerese okwetaasa abakyankalanya ekitundu kyo.

• Mukolagane n’amasomero n’abafuga ebifo eby’olukale okuteekawo ebitundu omutabeera biragalalagala bimenya mateeka.

• Towola muntu yenna nsimbi nga tewali buwandiike buliko bujulizi kuba bw’alemwa okusasula ayinza okukwefuulira n’asaanyaawo obulamu bwo nga tewali na bujulizi bulaga nti wabaddewo akulinako ensonga.

• Kung’aanya amasimu g’ebitongole byonna mu kitundu ebiyinza okukuyamba mu ngeri emu oba endala nga waliwo obwetaavu.

• Towola wa luganda lwo oba mukwano gwo nfa nfe nsimbi kuba kino kiyinza okubatabula wabula bw’oba osobola kwatayo z’okutte omuwe buwi. Tewali kibi mu bulamu nga kutabuka na wa luganda lwo oba mukwano gwo nfa nfe. Ate aba anesiga ani ?

 Ng’olumbiddwa

• Kakkana naye nga bw’opima eky’okukola ne ki ky’oyinza okukozesa.

• Gezaako okubeera omukakkamu. Tobbamuka kuba kino kiyinza okulowoozesa omutujju nti oyagala kumutusaako buzibu oba buvune.

• Kola ekyo kye baggamba

• Bw’oba nga olina okugenda mu kifo ekirala tegeeza omubbi ki ky’oyagalayo ne lwaki. • Gezaako okwetegereza omubbi .

• Togezaako kubeera muzira. Fiirwa sente okusinga obulamu.

• Kyokka sigala nga wetegereza embeera nga bw’egenda mu maaso. Ekimu bwe kitakola baza ogezeeko ekirala. Oyinza okwogeraganya n’abakulumbye, okuyisa obudde, okubuzabuza omutujju oba okumwemululako, okumwanganga, oba okukuba enduulu.

• Omutujju oba omubbi muwe ekiseera okugenda (okuva mu kifo) . Topapa. • Wetegereze gy’akutte nga agenda • Gezaako okumanya entambula gy’akozesezza. Motoka, pikipiki, Ggaali oba ali ku bigere? • Ng’omaze okulumbibwa dda awantu awekusifu okubire poliisi • Gy’okoma okutegeeza poliisi amangu , gye kikoma okubeera ekyangu okukwata omuzzi w’emisango akulumbye. • Tonaaba oba okwoza engoye z’obaddemu ng’olumbibwa era totaataganya bujulizi bwonna obulaga ekibaddewo nga olumbibwa okutuusa nga omaze okukwatagana ne poliisi. • Tosigala wekka, wabula yita omuntu omulala ajje w’oli nga bw’oteekateeka ekiddako, nga omaze okulumbibwa.

Okuyamba omwana akabawaziddwa

Okutulugunya abaana kitera okukolebwa abantu abatali bazadde be bennyini , omuli muka kitaabwe, naye oluusi kiyinza n’okukolebwa abazadde be bennyini, maama oba taata , naddala nga waliwo embeera ey’okwennyika, obukyayi oba obugwenyufu .

Okumanya engeri gy’oyinza okufugamu embeera zo ez’obuntu kiyamba okwewala ekitulugunyabaana(chird abuse).

Nga omuzadde, olina okubeera omuntu ow’obuvunaanyizibwa, omwana bw’akugamba nti yatulugunyiziddwa, engeri gy’okitwaalamu ya mugaso nnyo okumukkakkanya. Ky’okola kwe :

• Kusigala nga oli mukkakkamu naye nga olaga nti ofunye okunyolwa. • Tomukayukira • Muzze wabbali , awatali bawuliriza balala , asobole okukubuulira obulungi ekibaddewo. • Mwebaze okukutegeezako, omutegeeze nti teyabadde nsobi ye era omulage nti ogenda kubaako ky’okola n’okukiziiyiza okubaawo omulundi omulala. • Bwe kiba kyetaagisa kutwala nsonga mu babuyinza , mutwale mu mbeera gy’alimu nga tomukyusizza ngoye yadde okumunaaza kyokka laba nga abantu abateetagisa tebabuuzaabuza mwana ku kibaddewo kuba kino kyongera okumujja mu mbeera. Okwekuuma emikwano emibi • Toyita mu ppanya(obukubo obw’ebbali) mu bifo watali bantu, naddala nga oli wekka oba oli n’abantu yadde bayizi banno b’otesiga. • Tomala getambuzatambuza mu bisaalu, ebibira oba mu nnimiro nga oli wekka awatali bantu be wesiga yadde okuliraana ettendekero ob essomero. • Tomala gesiga muntu wabula oyinza okukolagana naye nga kyetaagisa kyokka n’obwegendereza. Wetegereze oba ajjumbira Katonda. Alina eddiini ku mutima. Ye abaffe asoma ddiini ki ? • Wewale okutambula nga oli wekka oba nga oli n’abantu b’otekakasa mu nzikiza , nga obudde bukutte • Tolekanga nsawo yo ey’ebitabo n’ebintu byo eby’omugaso nga tewali gw’obirekedde ne bw’oba nga togenda kuweza ddakiika ng’okomyeewo. • Totambula na sente nnyingi mu nsawo oba waleti yo. • Lamba buli kintu kyo .Oyinza okutuukirira poliisi okuyamba mu kino. Omwana, naddala omuwala omugunjufu , alina okwawula wakati w’ekiyitibwa omwami we’omuntu , muganzi we , n’oyo ayogereza. Omuzadde alina omwana omutiini oba omuvubuka alina okumubuulirira enjawulo eri mu mikwano egy’ebika ebisatu ebyo nga bw’amukuutirira: • Obutapapira mukwano kubanga abasajja abamu abakulu n’abato ebiseera ebisinga baba baagala kukukozesaako bukozesa , olumala nga bakkuba ettale ate abalala batemu abayinza okuba nga balina ebizibu byabwe baagala muntu wa kusaddaaka. Ogendako otya okukyakalamu n’omuntu akyali mu kukwogereza era nga tewali na muntu wo amumanyi yadde ggwe okumumanya obulungi n’ebimukwatako, enneeyisa ye , n’engeri gye yettanira Katonda? • Yawula wakati w’omwogerezi, muganzi w’omuntu ne mwami oba mukyala we. • Toyisa mwogerezi (oyo akyayogereza) nga gwe wamanya edda • Bw’oba nga olina kye wekengedde ku muganzi wo , wuliriza emmeeme yo ky’ekugamba, tokakanyaza mutima gwo.Nedda ebeera nedda , era towaliriza. • Fuga embeera gy’oyogerezebwamu. Ggwe oba osalawo ki eky’okukola oba wa we mubeera mu kwogereza, ne bantu ki be mubeeramu okubayamba okweyongera okumanyagana.. • Wegendereze obutakozesebwa biragalalagala na mwenge wakati mu kumanyagana kwammwe kubanga oyo akwogereza bw’aba omukyaamu nga tonnaba kukizuula, ayinza okukutusaako obuvune. • Bwe muba mugenze okukyakala, laba nga olina omuntu omulala gw’oli naye oba nga olina gw’otegeezezzaako muntu ki gw’ogenzeeko naye ebweru nga naye awulira, wa gye mugenze n’ekiseera w’onoddira . Naye togendanga “out” na muntu gw’otannamanya bulungi bimukwatako na mbeera ze za buntu yadde enneeyisa ye. Okwekuuma mu Loofi Abantu bagenda mu loogi lwa nsonga za njawulo; abamu kuba kutambula safaali, abalala nga obudde bubakeereyeeko gya baba balaze ate nga tebaagala kutambula kiro ate abalala ziba nsonga za mukwano ne baganzi babwe. Omuntu yenna omugunjufu alina okwekuuma mu kifo w’ogenze okusula oba okuwummulako. Mu butuufu bangi batuukiddwako obuvune n’okufiirwa obulamu mu loogi ne wooteeri .Eky’okukola:  Kakasa nti loogi eno oba wooteri erina obukuumi , nnyonjo, ate nga erina ekkufulu n’obukondo obusibira munda.  Abafere batera okwokyesaamu ebisumuluzo bya loogi n’ekigendererwa eky’okuggulawo nga oli yebase , bamubbe oba okutuusa obuvune ku bulamu bwe. Yadde nga oluggi luliko omunyolo laba nga munda mulimu obukondo obulala obusibawo oyo aba ayagala okuggulawo n’ekisumuluzo ereme kusobola kukola kino.  Ekisumuluzo kireke mu munyolo nga omaze okusibawo. Kino kijja kukuyamba okuzuukuka nga omubi (omubbi oba omutemu) akikiitana n’omunyolo okuguggula nga asindikamu ekisumuluzo ekikyo.  Tosula na muntu gw’otekakasa mu loogi; lwaki weewa omusajja akwogereza oba omukazi gw’okyayogereza okutuuka awo.  Bamalaaya bangi baba batemutemu era tekimulobera kukutta atwale by’olina nga ensimbi z’akulabye nazo oba z’akusuubira okuba nazo.Wewale bamalaaya nga bw’osobola .Kyokka era mu ngeri y’emu abasajja abamu abagula bamalaaya ababa batemutemu era nabo basaana kwewala.  Laba nga woteeri oba loogi mw’osula erina ekitabo omuwandiikwa ebikwata ku bagigendamu n’okukakasa ndagamuntu zabwe.  Wekengere gw’oyingira naye singa aba tayagala kwewandiisa oba okuwaayo ebimukwatako byonna mu kitabo oba n’akola okulimba ku mannya ge.  Bw’oba ogula eky’okulya nga kipusi laba nga ofunirako lisiiti eyinza okuyamba abanoonyereza singa emmere eyo ebaamu obutwa. Okwekuuma ettamiiro n’ebitamiiza ebirala • Wegendereze abakugulira omwenge ogw’okumukumu. Bano bayinza okuba abalabe bo nga ggwe olowooza nti mikwano gyo nnyo era bakwagala nnyo. • Bw’oba omuwala oba omukyala, okunywa omwenge ennyo kikwonoona okusinga ku musajja era ne kiteeka obulamu bwo mu mikono gy’abakwaasi b’abakazi n’abatemu. • Bw’oba nga osazeewo okunywaako, baako ne ky’olya nga tonnanywa mwenge. • Manya ekikomo kyo nga onywa omwenge • Tonywa buli lunaku , kyokka bw’oba nga osazeewo okunywa buli lunaku omukyaala teyandisussizza kyupa emu eya bbiya, ate omwami teyandisussizza kyupa bbiri • Omuzadde omugunjufu teyandikkiriza baana be batanneetuuka kukomba ku mwenge nga tebannaweza myaka 20 ate naye era kyetaagisa okubabuulira obuvune obuyinza okuva mu kwekatankira omwenge omungi naddala eri oyo atasobola kugufuga. • Omwana mutegeeze nti ekiwoomereze kizaala enkenku era omwenge oyinza okugutandika empola okukkakkana nga oli lujuuju, tokyasobola na kukola , oluusi nga n’amaka gafudde. • Si kya bugunjufu okunywa omwenge ate n’ovuga kuba oyinza okusaanyaawo obulamu bwo n’obw’abalala. • Ekirala , tewemanyiiza kunyweera mu kifo kimu buli lunaku kuba abakulaba bajja kukuyita lujuuju • Toleka mwenge ng’ogusaanukudde ate n’okomawo n’ogunywa. Bw’oba ofulumamuko sooka ogumalemu oba bw’oba oguleseewo nga musumulule oba mu jjiraasi sumulula mulala, guno togunywa. • Sooka wekebejje ekyupa okakase nti tennaba kusumululwako. • Kino bwe kiggwa bagisumulule nga nawe olaba; si kujikuleetera nga ewedde okusumululwa. • Era wewale okulya emmere mu kifo kimu buli lunaku kubanga omulabe wo ayinza okuyita wano okukuteeramu kalye okawulire.


Okwekuuma obutwa mu bitundiro by’emmere Wano omuntu wewale obutwa n’ebikolwa eby’effujjo bwoti:  Toliira mmere mu kitundiro kya mmere kye kimu buli lunaku naddala okuliraana w’okolera oba w’omanyiddwa.  Toleka kya kunywa mu kyupa oba egiraasi ate n’okomawo n’okinywa. Bw’okomawo kiyiwe oba bagambe bakijjewo bakuwe ekirala.  Bw’olaba okuyombagana oba okwagala okulwanagana mu kifo ekya lukale nga ebbaala, fuluma awo oveewo kubanga awali abatamiivu tewabula mbale na bikolwa bya butemu.  Ebbaala kifo kya kwewummuzaamu. Bw’eba ezzeemu abantu abatabulatabula emirembe , giveemu mangu .  Wewale emboozi ez’ebyobufuzi n’amadiini kuba nabyo bitabula abantu abamu.

Okwekuuma omuliro

• Tosuza ssigiri mu nju mw’osula naddala nga effumbiro liri mu nju omwo. • Toleka kkando oba ttadooba mu kisenge kyo , mu kisulo oba mu nju awaka nga toliimu oba nga mulimu baana bokka. Bw’oba ogenda okwebaka sooka ojizikize. • Manya w’oyinza okuyita amangu nga omuliro gukutte era bw’oba oli ku ssomero teesa ne bayizi banno mutegeeze abakulira essomero okubasaba okubateerawo aw’okuyita nga waliwo obwetaavu obw’amangu. • Bw’owunyiriza omukka, va mangu mu kizimbe otegeeze be kikwatako. • Bw’olaba muyizi munno oba omuntu omulala alina ekibiriiti, amafuta oba ebintu mu kadomola oba mu kyupa, byekengere otegeeze mangu be kikwatako ng’abakulembeze b’abayizi oba abasomesa. Abaana b’amasomero ab’ekisulo babagamba kutwala ttooki si mafuta yadde ekibiriiti. Okwekuuma mu Ntanbula ey’Olukale

• Kakasa nti ekidduka ekyo ky’olinnya kya lukale (public transport). Bwe kiba tekikola nga kya lukale tomala gakiyingira. • Wewale okumala gayingira motoka za buyonjo. Oli ayinza okuyimirira okutwaleko ng’ayogera bulungi n’eggonjebwa naye bw’omala okuyingira , ayinza okukyuka n’okuvuga nga akuzza awalala gy’asobola okukukolerako obulabe ku bulamu bwo.Abaana abawala oba abakyala be basinga okugwa mu katego kano aka motoka eza buyonjo kubanga zibasikiriza nnyo ate era be basinga okusendebwasendebwa aboogera n’eggonjebwa oba abalaga ekisa. • Omuntu ne bw’oba omumanyi nga tomwekakasa , tolinnya motoka ye; mwebaze omugambe nti olina gw’olinze gw’ogenda naye. • Bwe kiba kyetaagisa nnyo okulinnya motoka eyo, era sooka wetegereze abantu abali munda kubanga kye weyunira tekisinga bulamu bwo. Bw’oba obekengedde toyingira. Manya nti ennaku zino abakazi nabo bayinza okubeera abafere. • Tosemberera mmotoka yonna ekuyimirirako kubanga eyinza okuba ey’abafere ne bakusikasika ne bakuyingiza munda ne basimbula. • Bw’oba otudde awali eddirisa oba olujji wegendereze kubanga omubbi ayinza okukunyakulako ekintu kyo eky’omuwendo nga essimu oba omudaali ogw’ekikomo eky’omuwendo naddala nga motoka eri mu kalippagano k’ebidduka (traffic jam). • Wegendereze omuntu oba abantu abafulumira w’oviiriddemu. Bw’oba obekengedde tambula butereevu nga odda mu kifo ekirimu abantu abalala.


Omuvuzi w’ebidduka ebya Lukale

• Toyimirira kutwala basaabaze nga obekengedde naddala abasaabaze abasajja, naddala abavubuka abambadde ebikootikooti. • Abasajja bwe bajja mu mbeera eno omu oba ababiri ne batuula mu maaso, omulala n’atuula mu makkati, abalala/omulala ne batuula emabega, tosimbula kuva wali bantu nga tonnabekakasa, kyokka bw’oba osimbudde vuga nga oyolekera awali poliisi esinga okuba okumpi. • Oli bw’akugamba nti oyimirire awantu ayagala kweyamba, toyimirira awo wennyini w’akugambye kubanga banne bayinza okuba nga bali awo bakunyagulule. Muyiseewo katono nga kitundu kya kiromiita oba kiromiita oyimirire w’ateteegekedde. • Bw’aba owa sipeeso oba bodaboda wegendereze nnyo abasaabaze ababiri naddala nga basajja ne gye bakugamba okubatwaala oba okubayisa. Tokyama mu bikomera. • Bwe kiba kyetagisa yita ab’obuyinza bamwaze kyokka wegendereze ab’effujjo abayinza okumukolako “mob justice” kuba kino kimenya mateeka ate nga ebiseera ebisinga omuntu gwe wekengedde taba mukyamu n’akatono.

Mu lifuti

• Sooka wetegereze munda nga tonnaba kuyingira • Yimirira okumpi n’amapeesa agafuga lifuti eyo • Singa omuntu gwe wekengera ayingira , ggwe fuluma • Omuntu gw’olinze naye lifuti bw’oba omwekengera toyingira • Bw’oba olumbiddwa mu lifuti nyiga alaamu (ekide).

Okwewala Okwemakula n’Ebissi

Abaana balina okumanyisibwa nti emmundu oba ebissi si bya kuzannyisa kuba bya kabenje era biyinza okubatuusako obuvune n’okubatta era bya bulabe ku buli muntu .

Abaana bayigirize nti ku mulembe guno ogw’obutujju(terrorism) , buli kitereke, ekisawo, essimu, leediyo, TV, bukompyuta, oba ekintu kyonna kiyinza okuba oba okubaamu bbomu. Bayigirize nti bwe balaba oba bwe basanga emmundu oba ekitereke, ekisawo oba ekyuma, yadde kiringa eky’okuzannyisa, kye balina okukola :

a) Butakwata ku kintu kyonna ekiringa ebyo bye ndaze waggulu. b) Bave mangu mu kifo awali ekintu kye bekengedde c) Bategeeze mangu omuntu omukulu omwesigwa nga omuzadde, omukuza, omusomesa , owa LC oba poliisi, ekintu kye bekengedde okuba ekissi .

Omuntu omugunjufu alina okwewala ebissi ebitali mu mateka oba ebyo ebiyiza okuba bbomu. Abaana bangi battiddwa bbomu lwa kumala galonda n’okuzannyisa buli kye basanze . Ate era kyetaagisa okutegeeza abaana bo nti tekikkirizibwa kuba na mundu yadde amasasi nga tolina kiwandiiko kikuwa lukusa lwa gavumenti ne layisinsi eya buli mwaka. Okuba n’ekintu ekyekusiza ku mundu oba emmundu yennyini kikusibya .

Entereka y’emmundu ng’obadde ogirina mu mateeka buvunaanyizibwa bwa buli muntu mukulu, oyo agirina n’oyo atajirina alina okulaba nti oyo agirina agikozesa bulungi ng’amateeka bwe galagira ate nga era agitereka bulungi , omuntu omulala watayinza kujijja , k’abe mwana kujijjayo kujizannyisa.

Bw’oba olina olukusa oluwandiike okuva mu wofiisi y’Omuduuumizi wa Poliisi mu ggwanga , olina okumanya amateeka agafuga enkozesa yayo oleme kukontana na mateeka ga ggwanga ate era olina okumanya ebifo mw’otakkirizibwa kugenda na mundu eyo.

Tekikklizibwa kuba na mundu mu kompawundi ya ssomero , ebifo eby’olukale nga ebisaawe byemizannyo , ebisaawe by’omupiira , amasinzizo , oba ebifo bya katemba , mu bbaala , oba wofiisi za gavumenti .

Mu ngeri y’emu tekikkirizibwa kuba na mundu yadde ofunye olukusa okuva mu gavumenti mu kifo kyonna awali omukulembeze w’eggwanga oba abakulembeze abalala abakulu mu ggwanga. Kino bw’okikola yadde nga tolina kigendererwa kya kutuusa buvune ku mukulembeze wa ggwanga oba ozzizza gwa naggomola.

 Era tokkirizibwa kuba na mundu nga tomanyi kugikozesa, kugipangulula na kugipanga kuba oyinza okukola akabenje. Olina okulaba nti ofuna okutendekebwa wofiisi ya poliisi gye kikwatako nga tonnaweebwa bbaluwa ekukkiriza kuba nayo.

Singa omuntu omulala afuna obuvune olw’obulagajjavu bwo ne mundu yo oba ojja kuvunaanibwa emisango egya naggomola.

(vi). Okwekuuma ne Motoka yo eya buyonjo

• Laba nga motoka yo eri mu mbeera nnungi okwewala obubenje • Bw’oba ova mu mmotoka okumala ekiseera ggalawo enziji n’amadirisa. • Toteeka bya muwendo , bitereke oba ebintu eby’omugaso ku ntebe ya motoka yo oba awantu wonna mu motoka we birabikira obulungi oyo ali ebweeru. Kino kisikiriza ababbi. Bw’oba olina ky’olese mu motoka nga ovaamu kijje we kirabikira. • Wekebejje mu maaso ne mu ntebe ez’emabega ne wansi ga tonnayingira mu motoka yo. • Tomala gatwala ku bantu b’otamanyi kuba bayinza okukwefuulira • Tovuga wekka kiro n’engendo empanvu. • Motoka gipakinge mu bifo ebitangaala ate oggalewo enzigi zonna bw’oba ogenda kumalayo akaseera . • Wewale ggalagi eza wansi mu “godown” singa oba osobola • Ggalawo enzigi zonna n’amadirisa nga oli munda oba wabweeru wa motoka. Tambula n’ebisumuluzo bya motokayo nga bwe wetegereza ekifo w’ojirese. • Bw’oba oli wa kugula bintu ekiro , pakinga motoka yo mu kifo ekitangaala obulungi. • Topaakinga kuliraana vaani, loole oba motoka ezirina ebirawuli ebyekinnyikaggobe ( ebitalaga munda). • Tolekanga motoka yo na baana, awatali muntu mukulu , yadde okubaggaliramu kubanga bayinza okufuna ekiziiyiro. • Kakasa nti oli n’ebisumuluzo nga tonnaggala mmotoka yo. • Bw’oba osemberera oba ova ku motoka yo, wetegereze okwetoloola wonna mu kifo w’eri. • Tosemberera motoka yo wekka nga waliwo abantu be wekengera mu kifo. • Oyinza okusaba abebyokwerinda mu kitundu oba mu kifo kino bakuwerekereko. • Nga okomawo we wapaakinze ba n’ebisumuluzo nga biteeketeeke bulungi okuggulawo amangu nga otuuka ku mmotoka yo kyokka sooka okebere oba tewali muntu ali munda naddala emabega gw’otaleseemu era bw’omala okuyingira ggala mangu olujji . • Toteeka linnya lyo yadde namba ya layisinsi ku bisumuluzo byo kubanga bwe bigwa kyangu oli okukufera. • Tomala gatwalako muntu gw’otamanyi okujjako nga kyetaagisa • Gezaako okulaba nga ttanka y’amafuta ebaamu, waakiri kimu kya kubiri eky’amafuta , kyokka motoka yo bw’efuna obuzibu mu kifo ekitaliimu bantu , ggalawo enzigi onoonye awali bamakanika n’abayinza okujikuuma . Kyandibadde kirungi n’osooka ofuna abakulembeze b’ekyaalo oba poliisi mu kitundu nga tonnaba kubaako ky’okola. Oli bw’ajja akuyambe tosooka kumwesiga nnyo naye fuba okutuuka awali poliisi oba ab’obuyinza mu kitundu . Bw’oba olina ky’otidde kuba essimu ya poliisi oba omuntu wo yenna.


Obutagula kintu nga tokikakasizza bwa Nnannyini • Bw’oba ogula ekibanja , ettaka oba motoka nga kkaadi yayo eri mu mannya ga muntu mulala sooka olabe nga osisinkana omuntu ali ku kkaadi oba nnannyini ttaka okufuna obukakafu nti ky’ogula tekiriiko bbanja. • Genda mu wofiisi ewandiisa ettaka oba motoka okebere okukakasa nti oyo agambibwa nti ye nnanyini kidduka oba ttaka y’ali mu biwandiiko bya wofiisi etereka ebiwandiiko ebiraga obwannanyini. • Kyandibadde kirungi by’oyagala obigule misana kyokka bw’oba nga oli wakugula kiro tambula ne mukwano gwo oba owo mu nju yo omulala ate osasulire mu kifo ekirimu obukuumi. • Teeka ebirowoozo ku bantu abakwetoloode oba abakuva emabega ne mu maaso. • Bwe kiba kisoboka by’oguze bisasule na “kyeeke” oba kkaadi ya kisasuza(credit card). • Ng’obadde osasuliddwa ssente enkalu, wekengere b’otamanyi abakusemberera era kino mwandikikoledde mu kifo ekirimu ebyokwerinda nga woteeri ennene oba okumpi ne ppoliisi. • Wewale okugula ekintu ekitaliiko lisiiti oba endagaano kubanga bw’onoogula ekibbe n’awe bakusiba nga eyakibbye . Eky’okubiri oli bw’aba akuguzizza empewo buno buba bujulizi nga omugguddeko omusango. • Bw’oba ogula ettaka , sooka okakase obwa nannyini nga webuuza ku bakulembeze b’ekitundu, omanye namba ya bbulooko ne poloti , osobole okubikakasa mu ofiisi y’ebyettaka. • Bw’oba ogula ekibanja sooka olabe ne nannyini ttaka yennyini oba omusigire we nga n’obukakafu webuli nti yemusigire we era n’abakulembeze ab’ekitundu bakikakase nga bassaako emikono ku ndagaano. • Buli ky’ogula tosuula alisiiti yakyo wabula funa dduloowa mw’oziteeka. Oluusi oli ayinza okukulumiriza nti olugoye lw’oyambadde lulwe. Alisiiti gye walugulirako eba ekuyamba okukakasa nti lulwo.



Okwekuuma mu kyuma ekiwanda sente (ATM) • Bw’oba nga oli wa kukozesa ATM, londa eyo eri mu kifo ekirimu eby’okwerinda oba abakuumi ate nga ekifo kikoleeze amataala. Jjayo sente zokka ze weetaaga. • Kuuma “namba ya endaga yo” (PIN) butiribiri okulaba nga tewali muntu yenna akuliraanye agiraba. • Tosuula alisiiti yo eya ATM mu kifo awali ATM gy’okozesezza kuba omuntu omukyamu ayinza okukozesa olukujjukujju okutuuka ku sente zo mu bbanka ng’asinziiira ku biri ku alisiiti eyo naddala “namba ya akawunta” (account number). Okwekuuma Eddiini ez’Ekimpatiira Ku mulembe guno eddiini ez’ekimpatiira ziyitiridde nnyo nga nnyingi ku zino zisima omusingi oguzza abantu emabega mu nkulaakulana .Zino zirimu eddiini ez’abasamize n’ezo ezerimbise mu ddiini ezikkiririza mu bwanamunigina bwa Katonda . Ekigambo “ddiini ya kimpatiira” kitegeeza enzikiriza eziyimiriddewo ku bulimba obw’okusamirira emyoyo egy’enjawulo mu kifo ky’okusinza Katonda mu bwannamunigina bwe. Njagala okukutegeeza nti eddiini y’abaganda ey’ennono yali esamirira n’okusinza Katonda owa namunigina era Essinzizo lye ekkulu lyali mu Ggulu emukono . Olw’okuba Eddiini y’abaganda ey’ennono yali yesigamye ku Katonda owa namunigina , abazungu we bajja wano n’eddiini ezisinza Katonda owa namunigina(monolithic religions), abaganda baayanguyirwa nnyo okuzeeyunira kubanga eddiini yabwe na zino zaali ku mulamwa gwe gumu ; si mizimu na misambwa ng’abasamize ab’omulembe guno bwe babijweteka. Obugunjufu kitegeeza kumanya nti eddiini y’abaganda ey’ennno yali esinza Katonda owa naminigina okufaanana n’eddiini ezaleetebwa abazungu era tewali kukontana wakati w’eddiini endala ezikkiririza mu Katonda owa namunigina n’eddiini y’abaganda ey’ennono.Okukontana kuli wakati w’eddiini ezikkirirza mu Katonda owa namunigina n’ezo ezikkirriza mu bukatonda obungi, omuli n’ezo ezisinza obutonde n’emyoyo egiri wansi Wa Katonda. Yadde nga kimanyiddwa nti waliyo emyoyo egisukkulumye ku bw’omuntu egiri wansi wa katonda mingi, si kya bugunjufu muntu kukuririza myoyo gino omuli emizimu gy’abaafa , emisambwa , n’amageege. Obugunjufu kitegeeza kweyunira Katonda owa Namunigina afuga era eyatonda n’emyoyo gino abamu gye batiitiibya okusinga katonda Namugereka ddunda.


Obusamize Edda mu Buganda essabo lye lyali essinzizo oba essabo lya Katonda owa namunigina , Namugereka ,Ddunda ,Ebimu ku byakolebwanga mu Ssabo lya Katonda mwalingamu okumusamirira mu ngeri ey’okumusaba emikisa , okumusinza, okumugulumiza n’okumutendereza. Okusamira kyalinga kikolwa kya kukoowoola Katonda ajje mu bulamu bw’abamusinza oba abamusamirira. Okusamirira lubaale n’emizimu gy’abaafa kintu ekyajja oluvannyuma ne kibuzaabuza omulamwa gw’okusamirira n’okusinza Katonda mu Baganda .Abamu ku baganda ab’edda abakatinko baagattika Katonda ne balubaale(emyoyo gya bakagezimunyu abaafa) awamu n’emyoyo emirala egisukkulumye ku bw’omuntu era oluvannyuma abantu bano abaakola okubuzabuza, bassa eddaala lya Katonda naye ne bamubalira mu balubaale(bakagezimunyu abaafa) nga bagamba nti emisambwa be bamalayika ba Katonda, ekintu ekitali kituufu n’akatono mu ddiini y’abaganda nga bwe yali.Omusambwa musambvwa ne bamalayika bamalayika. Omusambwa guba gwa ntiisa ate nga bamalayika tebaba ba ntiisa. Bamalayika bali waggulu wa misambwa n’emizimu era katonda yabawa obuyinza ku misambwa n’emizimu. Obusamize buyimiriddewo ku kulowooza nti:  Buli kintu mu bwengula kyeyolekeramu Katonda era kiyinza okusinzibwa. Ekituufu kiri nti ekibalangulo ne sayansi ayimirizzaawo obwengula bukakafu nti Katonda w’obwengula ali omu yekka.  Emizimu , emisambwa , Balubaale, n’emyoyo egy’enjawulo nagyo girimu oba Katonda. Kino kitegeeza nti Katonda yeragira mu bukatonda obw’enjawulo omuli emizimu n’emisambwa, n’amageege(ebisolo n’ebimera). Sayansi atuukiddwako mu bwengula akakasizza nti obwengula bwonna buli wamu era obumu bw’obwengula bwe bukakafu nti eyabutonda ali omu. Obusamize bukontana katonda era bukontana ne sayansi avumbuddwa mu bwengula akakasa nti obwengula bwonna n’obutonde obubulimu, kintu ekiruke n’ekibalangulo awamu ne sayansi owa waggulu alaga obumu bw’obwengula bwonna ; kino kikakasa nti omubumbi ali omu yekka era tewali n’omu amwenkana. Okusamira okw’obulimba gy’emisengeko gy’empisa egyekuusiza mu nzikiriza ezigamba nti buli kimu Katonda (pantheism) era buli ekirina kye kikola mu butonde nakyo Katonda. Okusamira okuliwo kati tekuliimu kigendererwa kya kusinza Katonda owa namunigina era kweyolekera mu : o Bukodyo bwa kukyangakyanga mazima okusobola okufuna obubaka obw ‘ekyama. Obufuusa oba okukozesa emyoyo okufuna amaanyi; okusamira, okuloga oba eddogo byonna biri wansi wa mmandwa. o Okulagula : Kuno kuba kumanyisa bubaka bukusike ku biseera ebyayita, ebiriwo kati, oba ebyo mu maaso nga omusamize akozesa amaanyi ag’emyoyo egitali ga Katonda. o Okukwatagana n’emyoyo (spiritism) nga emizimu, emisambwa, amagegege, abaafa, oba abali emagombe. Kino abakkirirza mu Katonda ow’obwanamunigina tebakikola kubanga bakimanyi nti Katonda wa bujja. o Okukozesa ebiragalalagala eby’obulabe ku bulamu (narcotic drugs). Bino biyamba emmandwa okuleetawo ekirabampewo (hallucinations) mu bagoberezi oba abasamize okusobola okubalaga nti ddala balina kye balaba mu nsi ey’emyoyo. Abanoonyereza bakizudde nti ekirabampewo n’okusegeera ebintu ekifuulannenge(illusion) kiva ku kukyankalana kwa mutereezabulamu (metabolic disfunction). o Kusamirira mu nzikiza ng’enziji n’amadirisa biggale ate nga temuli mataala, mukutte ekizikiza. Anti emyoyo gye basamirira gya kizikiza. o Okusaddaaka abantu naddala abaana abato. o Okuloosa omuntu emyoyo egy’ekizikiza mu kikula ky’amageege (ebisolo) oba omuntu alinga ekintuntu oba omuntu ow’entiisa.Katonda ne bamalayika be teyeyorekera mu ntiisa yadde ebikulekule . Ky’ayagadde akikulaga butereevyu mu bitiibwa bye n’obutuukirivu bwe awatali kutiisatiisa yadde okutulugunya . Okugunjula abaana kyetaagisa okubajja mu ndowooza ey’okusamirira ebitali Katonda nga balowooza nti lwe banaafuna bye betaaga mu bulamu nga okuyita ebigezo, okufuna emirimu, okuwona endwadde , ezzadde n’obugagga.. Ensibuko y’ebyetaago by’omuntu eri mu kukola, okukozesa obwongo, okwefumiitiriza, n’okweyunira enkala ya sayansi okuzuula n’okuvumbula tekinologiya asobola okugonza obulamu bwaffe nga tukozesa obwakalimagezi Katonda bwe yatuwa ng’abantu okutondekawo eby’amaguzi , so si kusamirira myoyo gya kizikiza na kugiwongera. Ebimu ebiraga amaka agatali magunjufu bulungi kwe kusamira mu kifo ky’okusinza Katonda w’ebutonda n’okukozesa obwongo okukola ku byetaago byago nga okwetusaako ebyetaago ebya bulijjo, okusomesa n’okukulaakulanya abaana mu magezi ag’obukugu obw’enjawulo, awamu n’okuteeka empisa z’obuntu mu baana abato. Omugunjufu talaba kukontana wakati wa ddiini y’abaganda ey’ennono esinza Katonda owa naminigina n’eddiini engwira ezisinza Katonda owa namunigina . Okusinza Katonda ali mu mannya ag’abazungu . omugunjufu takirabamu buzibu bwonna ku by’obuwangwa byaffe ; Abasoga bamuyita Kibumba, abanyakitara Ruhanga, abaluo Lubanga, abazungu Yesu , n’abalala balina amannya ge bamuyita mu buwangwa bwabwe. Ono ye katonda omu , ali omu yekka.N’ekisembayo bassekalowooleza baffe abedda abasamize be basamiria nga lubaale tubayjjukirenga olw’ebintu eby’amagezi bye baakola mu miseera byabwe eby’obulamu mu kifo ky’okubuzabuza abato nti misambwa; tewali mufu ayamba mulamu okujjako okumuyigirako bye yakolanga ebirungi nga mulamu. Nze balubaale ba Buganda abedda mbajjukira era mbenyumirizamu olw’ebintu eby’amagezi bye bakola nga bakyali balamu naye si basamirira .Nsamirira Katonda owa Namunigina eyatonda eggulu n’Ensi.