Jump to content

Okwetta

Bisangiddwa ku Wikipedia
okwetta neddagala

Emirungi mingi tuwulira abantu nga besse. Okwetta kuli mu buli nsi na mu buli kitundu abantu gye babeera.

Biki ebiviirako abantu okwetta

[kyusa | edit source]

Okwetta kuva ku bintu bingi okuli obulwadde bw’okubwogo nga okwenyamira , obukyayi (okwekyawa), obutamiivu, enkyukakyuka mu mbeera z’omuntu oba okukozesa eddagala. Ensonga endala mulimu okweraliikirira okuva ku buzibu bw'okufuna ensimbi wamu n’obutakkaanya mu mukwano oba okunyoomebwa.[1]

Heading text

[kyusa | edit source]

Okuziyiza okwetta

Ebimu ku bikoleddwa okuziyiza okwetta bye bino: okukendeeza ku busobozi bw’omuntu okwetuusako obutwa, okujjanjaba obwongo n’okulwanyisa enkozesa y'eddagala mu bukyamu.

Engeri abantu gye batta

[kyusa | edit source]

Engeri z’okwetta nnyingi. Okwetta kusinzira ku bintu ebyetoolodde omuntu ayagala okwetta. Okugeza emiti, obutwa, emiguwa, ebiso, ebyogi n'ebirala. Ebintu ebyo ebyetoolodde omuntu bireetera omuntu okwetta mu ngeri zino, okwetta nga yeetuze, okwewa obutwa, okwefumita ekiso n’engeri endala nnyingi. Engeri ezisinga okukozesebwa mu kwetta ze zino: okwetuga, okunywa obutwa bw’emmese n’okweyokya. Mu mwaka gwa 2013 abantu 842,000 betta ate nga mu mwaka gwa 1990 baali 712,000. Okweta, kukwatta ekifo kya 10 mu bireetera okufa kw’abantu munsi yonna.

Ekikolwa ky’okwetta kisinga kukolebwa basajja. So nga ate mu mawanga agaakula edda abaana abato be basinga okugezaako okwetta ate nga kino kisinga mu baana bawala.[5]

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_Suicide