Okwetukuta kw'emisuwa
Enfaanana y’obulwadde buno
[kyusa | edit source]Okwetukuta[[1]] y'embeera egyawo oluvannyuma lw'emisuwa egitwala omusaayi mu bwongo n'omusuwa ogutambuza omusaayi mu nkizi okulemererwa.
Obubonero
[kyusa | edit source]Obumu ku bubonero bw'obulwadde buno mulimu nga okulwala omusujja, okulumwa omutwe n'okulumwa ensingo. Obumu ku bubonero obulala mulimu ng’omuntu okusoberwa mu ngeri gy'akolamu ebintu, okusesema n'ebirala. Mu baana, obulwadde buno bubaviirako okuggwaamu amazzi wamu n'okutaataganyizibwa mu ndya yaabwe.
Obulabe
[kyusa | edit source]Okwetukuta kuno kuyinza okuleetebwa obuwuka bw'omusaayi oba okukozesa ebidagaladagala. Okwetukuta kw'omusaayi kuno kwa bulabe nnyo kubanga emisuwa gino girinaanye obwongo n'omusuwa gw'omu nkizi era embeera eno ebeera ya bwerinde nnyo. Obulwadde buno buyinza okwewalibwa nga abantu begemesebwa. Abantu basobola n'okuweebwa eddagala era nga bwe bujjanjabi obwandisookeddwaako. Okwetukuta kuno kuyinza okuviirako omuntu okufuna endwadde endala nga Ensimbu, Okukulungutana n'ebirala. Era nga kino kiyinza okuviirako omuntu okufuna obulemu ku bwongo singa tafuna bujjanjabi mangu.
Obulwadde buno mu nsi yonna
[kyusa | edit source]Mu 2013, Obulwadde buno bwakosa abantu obukadde 16 era nga kino kyaviirako abantu 303000 okufa okwetoloora ensi yonna okuva Ku bantu 464000 abaafa mu 1990. Obulwadde buno butera kumeruka mu mwezi gwa Deesemba n’Ogwomukaaga mu bitundu yba Afrika era buno bwe bw'ekika kya "meningitis belt".