Oleru Huda

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Huda Abason Oleru (yazaalibwa nga 3 Ogwekkuminebiri 1975) Munnayuganda munnabyabufuzi mubazi w'amateka eyali omubaka omukazi mu Paalamenti owa Disitulikiti y'e Yumbe mu Paalamenti ya Uganda ey'omunaana n'ey'omwenda.[1][2] Yali talina kibiina naye kati yegatta ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement.[3] Era yali Mininsita omubeezi ow'ensonga z'abannazirwanako.[4][5][6]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Huda yali muwala wa Ayub Adiga (kitaawe) ne Drakai Khadija (nnyina) ab'ekyalo kya Pania, Ggombolola y'e Kophi mu Distulikiti y'e Yumbe. Huda yasomera ku Limidia Primary School ng'atannakwegatta ku joining Yumbe Secondary School. N'oluvanyuma yegata ku Mvara Secondary School. Ng'amaliriza emisomo gye egya Sekendule, Huda yegatta ku Islamic University in Uganda (IUIU) gye yafunira Diguli esooka mu kukola emirimu gya Gavumenti. Nga tannaba kwegata ku byabufuzi, Huda era yafuna Diguli ey'okubiri mu kukola n'okukwasaganya emirimu gya Gavumenti.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Huda yakola ng'omusomesa ku Aringa Primary School era yali muwandiisi w'abavubuka b'e Ggombolola y'e Romogi nga tannaba kuyingira byabufuzi. Era yali akulira akakiiko k'abavubuka aka National Resistance Council Youth mu Ggombolola y'e Romogi mu 1996. Wakati wa 1996-1998, yali musomesa ku Limitia Primary School. Yali asomesa abantu mu pulogulaamu ya Community Actor Programme wakati wa 1998 okutuusa mu 2000. Wakati wa 2000 ne 2003, Huda yali sentebe w'abamusiga nsimbi owe Ggombolola ya Lulu.[1]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Huda mufumbo eri Mohammed Abason Ingamule.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Olukalala lw'ababaka ba Paalamaenti ya Uganda ey'omunaana

Disitulikiti y'e Yumbe

Naima Melsa Gule Avako

Zaitun Driwaru

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/99582
  2. https://uganda.ureport.in/story/183/
  3. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/c219b699-fcd1-4c1b-b44d-7e3ed013f0cd/
  4. https://www.independent.co.ug/updf-to-conduct-nationwide-verification-of-veterans/
  5. https://www.watchdoguganda.com/news/20220130/129276/updf-is-now-a-professional-force-says-minister-oleru.html
  6. http://ugandaradionetwork.com/story/updf-to-conduct-national-wide-verification-of-veterans-