Olubuguumiriro lw'Enkulungo y'Ensi
Olubuguumiriro lw’Enkulungo y’ Ensi (Global warming)
Olubuguumiriro lw’enkulungo y’Ensi (global warming) kwe kulinnya kwa tempulikya okuva ku kigero ekyetaagisa obulamu (average temperature) ku safeesi y’ensi ne mu semayanja .Kino kizze kiba bwe kito okuva mu makkati g’ekyasa ekya 20 olw’okutaataganya "ensengekera ez’obutonde"(natural systems) . Kino kireetawo “ ekitegabbugumu ekikalaamufu” (green gas effect).
“Ekitegabbugumu” ye ngeri okwokya okuli mu lubugumu (thermal radiation) ku saafeesi y’enkulungo y’Ensi gye kuyingizibwamu ggaasi ezitega ebbugumu eriba liddayo mu bwengula mu ngeri esukkulumye ku bwetaavu obw’obutonde olw’ebikolwa eby’obujeemu ebyonoona obutonde bwa Katonda nga bukozesebwa mu ngeri ey’ekyeyonoonero. Okukaalamuka kwa Kitegabbugumu kikwata ku :
• Enkyukakyuka mu tempulikya z’Ensi ezekigero.
• Kitegeeza kweyongera kwa zigaasi mu nampewo eziyingiza n’okufulumya olubugumu (radiation) olulina obuwanvu bw’amayengo agali emabega w’emmyufu agayitibwa ma-mmyuufu(infrared) .
Ekirala , ggaasi eyitibwa wozoni mu nampewo , ekugira omuntu obutatuukwako lubugumu lwa kabenje lwonna nga olwa Uvi oba ggama-le . Embeera y’ekituli kya woozoni (ozone hole) mu nampewo ne okubuguumirira kw’ensi (Global warming) ebireetebwawo “okukaalamuka kwa kitegabbugumu” bye bimu ku bizibu ebyolekedde omuntu.
Woozoni, ggaasi ebikkiridde ku nampewo, esibuka mu kutomeragana kwa kitangaala ekya langi eri emabega w’emmyuufu (Ma-mmyuufu) ne molekyo za okisigyeni ezirina obiziba oba atomu za wokisigeni ebbiri ne zaabuluzibwamu mu atomu za okisigyeni eza namunigina.
Ekyo bwe kiggwa , okisigyeni ow'obuziba (atomic oxygen) ne yegatta ne okisigyeni ataabuluziddwaamu okutondekawo Wozoni. Wozoni ono wa mugaso nnyo mu nampewo kubanga atutangira obutatuukibwako migendo (rays) oba mayengo (waves) ag'akabenje aga U-vi (Ultraviolet) okuva ku njuba.
Ensengekera y'Ekitegabbugumu (green house system) evaako okwokya kwa safeesi y’enkulungo (planet) y'Ensi olw’okuba nga mu nampewo w’enkulungo mulimu ggaasi ezitega ne ziyingiza ebbugumu eriba liddayo mu bwengula.
Zo ggaasi ezitega ebbugumu nga kaboni-bbiri-okisayidi zitega ebbugumu eriba lizzibwayo okuva ku saafeesi y’ensi ne nampewo, ekintu ekiziyiza tempulikya obutakka nnyo kuleeta bunnyogovu bwa kabenje kyokka ggaasi zino bwe zisukkuluma mu napewo ate era kireetera tempulikya okulinnya wonna mu nsi ne kituleetera akabasa k’ebbugumu (olubugumu} erisukkulumye.