Jump to content

Olukusense

Bisangiddwa ku Wikipedia
olukusense

Olukusense[[1]] bwe bumu ku bulwadde nnamutta obwogerwako mu nsi muno. Busaasaanyizibwa akawuka akayitibwa measles virus.

Obubonero

[kyusa | edit source]

Obumu ku bubonero bw’omuntu alina olukusense bwe buno: omusujja, ekifuba, ennyindo ezikulukuta eminyira n’okumyuka amaaso. Oluvannyuma lw’ennaku bbiri oba ssattu, ng’omuntu amaze okufuna obubonero obwo, omuntu asobola okufuna obugondo obweru mu kamwa obuyitibwa Koplik's spots. Obutulututtu obumyufu obutera okutandikira mu maaso nga tebunnasaasaana mu mubiri gwonna butandika mu nnaku ssattu oba ttaano oluvannyuma lw’okufuna obubonero bw’obulwadde buno. Obubonero buno butera okujja mu nnaku 10-12. Olulala, omuntu afunye obulwadde buno, asobola okufuna embiro, okuziba amaaso oluusi n’obulumi ku bwongo.

Olukusense kirwadde ekitambulira mu mpewo, era nga kisinga kusasanira mu kukolola wamu n'okukuba emyasa (okwasimula) okuva ku muntu omulwadde. Wabula, amalusu oba eminyira gy'omuntu alina obulwadde buno nabyo bisobola okubusiiga omulala atabulina. Singa abantu abalamu babeera mu kifo kye kimu n’omulwadde, wabaawo emikisa mingi nabo okukwatibwa obulwadde obwo mu nnaku nnya (4) zokka. Bwe kityo okwekebeza akawuka akaleeta olukusense kwa mugaso mu bitundu gye tubeera.

Obukadde nga 20 obw’abantu bwe bukwatibwa olukusense, okusingira ddala mu bitundu bya Afirika ebikyakulaakulana. Mu mwaka gwa 2013 abantu 96,000 be baafa ekirwadde kino, okuva ku bantu 545,000 abaafa mu mwaka gwa 1990. So ng'ate mu mwaka gwa 1980 abantu obukadde 2.6 be baafa ekirwadde ky’olukusense.

Engeri y’okujjanjabamu olukusense

[kyusa | edit source]

Nazzikuno abaana abaakwatibwanga mulangira baabafumbiranga ebintu bino wammanga: enkejje, omutulika, enseenene n’ebirala bingi eby’ayambangako mu kufulumya obulwadde obwo. Laba Enzijanjaba y'Olukusense okumanya enzijanjaba y'olukusense ey'Ekiganda. Wabula, omulwadde w'olukusense asobola okukubwa empiso wamu n’okumira amakerenda mu nzijanjaba ey'Ekizungu.

References

[kyusa | edit source]

Enzijanjaba y'Olukusense