Oluwumu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Oluwumu y'emu ku ndwadde z'olususu. Lukuba ebiba ebisooka okuba ebitono ng'ebisente kyokka bwe bitafuna kujjanjaba amangu ago lusobola okusaasaanira omubiri gwonna. Bwe lukula ekisusse, olususu lw'omuntu lutandika okulabika g'oluyisiddwaako evvu.Lusobola n'okuviirako omuntu okutandika okuva ekisu. Lusobola okusiigibwa omuntu gaayita mu kukozesa ebintu ng'engoye n'ebikunta era olw'okuba tebuluma, bangi bagayaalirira okulujjanjaba ne batuuka okuvaamu olusu. Enzijanjaba yaalwo mu kinnansi; funa ekifuula, akatuntunu akatono, mageregankoko, ebikoola by'ensugga, omucuula, kafumbe omusajja noluwoko. Eddagala lisekulire wamu n'oluvannyuma kuuta mu bifo ebirimu obulwadde buno. Eddagala lye limu liteeke mu bizigo weesaabe mu bifo byonna ebirimu obulwadde buno waakiri emirundi esatu olunaku.Singa onoonyiikira ojja kufuna enjawulo. Ebikoola by’amatungulu nabyo ddagala ku luwumu. Bigatte n’amatungulu agengedde, sekula bigonde bulungi. Tabulamu omwenge Omuganda oba enkanja zaagwo. Buli lw’omala okunaaba siiga mu bifo ebirimu obulwadde.