Jump to content

Omugeranyo=Ekigero

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Omugeranyo=Ekigero (Average=mean))

Gakuweebwa Charles Muwanga !! Omugeranyo =Ekigero(Average =Mean)!


Omugeranyo gulaga kigero (mean) ky’ekibinja oba ekigero ky’omugereko gwa namba (set of numbers). Omugeranyo gwe mulamwa gw’osanga nga gukozesebwa buli lunaku; omugeranyo gw’abaana mu buli kibiina mu ssomero, omugeranyo gw’obubonero bw’abayizi ku lipoota emalako olusoma, omugeranyo gw’emisinde (average speed), omugeranyo gw’ennyingiza y’abakozi mu ggwanga, n’okweyongerayo.


Singa kiba kikwetaagisa okuzuula omugeranyo (omuwendo ogw’ekigero =mean/average) ky’omugereko ge’emiwendo ate ng’omugereko guno gwesudde amabanga ge gamu nga 2, 4, 6, 8, 10, 12, 14, omugeranyo ye namba eba mu makkati mu mugereko guno kubanga waliwo omuwendo ogwa kigaanira ogwa entonnyeze za kalonda (data items). Mu ky’okulabirako kino, omugeranyo (omuwendo ogw’ekigero) guba 8.


Singa wabaawo omuwendo gwa kyegabanya ogw’entonnyeze za kalonda, wabaawo namba bbiri ez’amakkati: 4, 8, 12, 16, 20, ne 24. Wano, omugeranyo kiba “kigero” (mean) kya namba ebbiri ez’amakkati. 12+16 = 28 ne 28 gabizaamu 2 n’ofuna 14.


Omugeranyo kifundiwazo kya ‘omuwendo ogw’ekigero omugerageranye”. Ekigeranyo (quostient) kifundiwazo kya “ekigero eky’omugerageranyo”. Manya nti ekigerageranyo kivvuunulwa “rate”. Omugeranyo (average) ogw’omugereko gwa namba (set of numbers) guba mugatte gwa namba nga ogabizzaamu namba (omuwendo) ya namba ezo .


Omugeranyo (average)= Omugatte gw’emiwendo/ Namba y’emiwendo


Okutuuka ku kigero ky’ebintu ogatta emiwendo gyonna n’olyoka ogabiza ne namba y’emiwendo. Ka tugezeeko ekikunizo:


Ekikunizo 1 : Zuula omugeranyo gw’omugereko guno: {15 , 12 , 17 , 21 , 13 , 19,10,22 }


Ekibazo: gatta namba omunaana eziri mu mugereko guno: 15 + 12 + 17 + 21 + 13 + 19+10+22 = 139. Kati gabiza 139 ne 8, namba y’emiwendo egiri mu mugereko: 139 ÷ 8 = 17


N’olwekyo ekigero ky’omugereko kiri 17.


Ekikunizo 2: Tempulikya mu digiri eza faneti mu wiiki esooka ey’omwezi ogw’omukaaga ziri bwe ziti: 73, 66, 54, 77, 85, 74, ne, 70. Zuula tempulikya ey’ekigero eya wiiki eno: Gatta wamu tempulikya zonna omusanvu: 73+ 66 + 54 +77 + 85 + 74 + 70. = 499; 499 gabizaamu 7, namba y’ennaku ezipimidwako 499 ÷ 7 = 71 . N’olwekyo tempulikya eya kibogwe mu wiiki eno yali 71º falaneti (Fahrenheit)


Ekikunizo 3: Buli kibiina okuva ku Kibiina ekisooka (K1) okutuuka ku kibiina eky’omusanvu(K7) mu Buwama Junior School kirimu abaana bwe bati :


K1 K2 K3 K4 K5 K6 K7 30 35 28 25 33 31 20


Zuula omugeranyo ogw’abaana abali mu buli kibiina mu Buwama Junior school . Omugeranyo= Omugatte gw’emiwendo/ Namba y’emiwendo

= 30+35+28+25+33+31+20 7 Omugeranyo= 202 7 = 28.9