Jump to content

Omugga Ishasha

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox river  Ishasha mugga ogusangibwa mu Bukiikaddyabwobuggwanjuba bwa Uganda, nga gukola ng'ensalo ne Democratic Republic of the Congo. Gukulukuta okuva mu Bukiikakkono bw'e Kabale nga guyiwa mu Nnyanja Edward.[1][2] Obuwanvu bw'agwo buli mu kilomita 100 (62 mi) ng'ogyeko ensulo ez'ekutulako.[3]

Okunyonyola[kyusa | edit source]

Omugga guno gubimba olw'emidumu egyasimibwa okuva mu faamu eziri mu kilomita 20 (12 mi) mu Bukiikakkonobwobugwanjuba bwa Kabale. Gukulukutira mu Bukiikakkonobwobugwanjuba okuyita mu biwonko by'ensozi okutuusa w'e guyingirira mu Bukiikakkono bw'ekkuumiro ly'ebisolo erya Bwindi Impenetrable National Park. Okuva awo, gw'eyongerayo mu Bukiikakkonobwobugwanjuba nga guyita mu kibira okutuuka Kanungu dam, awali ekkolero ly'amasanyalaze erya Kanungu Hydroelectric Power Station, era erimanyikiddwa nga Ishasha Power Station.

Bwe guva ku kkolero ly'amasanyalaze, gweyongerayo mu Bugwanjubabwobukiikaddyo nga guyita mu nsozi okutuusa lwe gwegatta ne gufuuka ensalo ezaawula Uganda ne Democratic Republic of the Congo (DRC). Oluvanyuma lw'okukyuka ne gudda mu Bukiikakkono, gweyongerayo mu kibuga kya DRC Ishasha mu Bukiikaddyo bw'ekuumiro ly'ebisolo erya Queen Elizabeth National Park (QENP). Gusigala ng'ensalo z'ekkuumiro ly'ebisolo mu Buggwanjuba bwa QENP okutuusa lwe gwegatta ku lutobazi lw'ennyanja Edward.[4][5]

W'e gusangibwa[kyusa | edit source]

Template:PoI start Template:PoI Template:PoI Template:PoI Template:PoI Template:PoI Template:PoI Template:PoI end

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]