Omugobansonga (Dialectician)
Appearance
Gakuweebwa Charles Muwanga !!Omugobansonga(Dialectician)
Omugobansonga ye sekalowooleza oba nakalowooleza (critical thinker) agoba ensonga nga:
(a) Yefumiitiriza ku buli ky’alowozaako
(b) Anoonya amazima oba okumanya
(c) Anoonya obumu bw’ebyawukana n’enjawulo ey’ebifaanagavu
(d) Buli nsonga agyekebejja okuva ku buli ludda.
(e) Tayogera ntotto
(f) Tava ku mulamwa
(g) Tavvoola yadde okugyereegerera boogezi banne
(h) Atunuulira ekintu okuva ku buli ludda
(i) Atayogera yadde okukola ekintu nga tamaze kwefumiitiriza
(j) Anoonya akakwate wakati w’embeera emu n’endala
(k) Omugobansonga ow’omutendera ogusingayo ye munnasayansi ne “munnabyabufuna”(Political economist)