Jump to content

Omukutu gw'abakyala mu Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia
Logo

Ekitongole kya Uganda Women's Network (UWONET) Uganda kitongole ky'obwannakyewa (NGO) ekikola okukyusa ku eddembe ly'abakyala. kitongole ekikolewa wansi w'ebitongole ebirala eby'abakyala n'abantu ssekinnomu abakolera mu East Africa. Ng'akikulira ye Rita H. Aciro-Lakor.[1]

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

UWONET ky'atondebwawo oluvannyuma lw'olukungaana lwa 1993 East African Women's Conference, olw'ategekebwa mu Kampala, Uganda, mu nteekateeka y'amawanga amagate mu lukungaana lw'ensi yonna olw'okuna ku bakyala mu 1995.[2][3][4]

Ebbago ly'etteeka ku ttaka erya 1998

[kyusa | edit source]

Mu biseera by'ekyasa ky'abiri mu ogumu, abakyala mu Buggwanjuba bwa Africa baali bakola ebitundu 85 ku buli kikumi ku murimu gye y'obulimi, songa baali balina obuyinza bw'abitundu 7 ku buli kikumi ku ttaka.[5] Ebitongole by'abakyala ebiwerako saako n'abantu ssekinnomu, abaali bamalibwamu amaanyi ebibiina ebirala ebyali bitatuukiriza kuleeta bakyala mu by'obufuzi, baatandika okwegata ku UWONET – naddala kakuyege waabwe ku nsonga z'ettaka ey'atandika mu 1995.[6] UWONET, wamu ne Uganda Land Alliance, bamatiza Paalamenti mu 1998 ku ddembe ly'abakyala okusikira ettaka mu Uganda.[7] Mu 1998, etteeka ku ttaka ly'ayisibwa ng'alitekeddwamu eddembe eri abakyala.[7] Kakuyege ono y'ateerawo eky'okulabirako eri abakyala mu Uganda "okukolera awamu n'okuddukirira ensonga mu budde n'emungeri ey'okulemerako."[5]

Manifesito z'abantu

[kyusa | edit source]

Mu 2000, UWONET yafulumya "People's Manifesto", ekyalimu emiramwa ku nkyukakyuka ez'omunda mu UWONET era "n'obwetaavu okuteekawo engeri y'okukwasaganya ebyetaago by'abakyala" ku ddaala ly'obukulembeze mu Uganda.[8] Mu lw'okaano lw'akalulu k'obwa Pulezidenti n'ababaka ba Paalamenti mu 2001, UWONET yakulembera enkola eyali esoomoza ebbula lya demokulasiya mu kisinde kya Gavumenti. Wamu n'ebitongole bwe bafaananya ebigendererwa, UWONET yagatta manifesito y'empapula 26 eyatuumibwa "People's Manifesto" okwangya eddembe ly'abantu n'ebbulwa ly'abo ab'egwanyiza entebe y'obwa Pulezidenti.[3][9] Era bafulumya manifesito eri "leka ababaka ba Paalamenti mu kulonda kwa 2002 mu Ogwokusatu bategeere ebyetaago abakyala bye bagaala bikolebweko."[10]

Manifesto y'abakyala

[kyusa | edit source]

Mu 2015, UWONET, wamu n'ebitongole ebirala wansi w'ekibiina ky'abakyala ekya The Women's Democracy Group, balonkinga ekiwandiiko ku by'obufuzi, "The Women's Manifesto 2016–2021", ekyateekawo obwetaavu okuva mu kibiina ekinene eky'abakyala mu bibuga ne mu byalo. N'ebirala eby'atuukibwako, ekiwandiiko ky'akola ebyetaago bitaano: okulongoosa mu by'obulamu by'abakyala, eddembe ly'abaana ab'obuwala eri ettaka n'eby'obugagga, eby'emisomo, enkulakulana mu by'enfuna bya bakyala, n'okusalawo mu by'obufuzi.[11][12]

Emigaso gy'ekibiina

[kyusa | edit source]

UWONET ekubiriza "okukolera awamu" mu ba mmemba b'ayo okusaawo omwenkanonkano mu Uganda.[13] Okuva UWONET bw'eyatandikibwawo, abakyala babadde bawaayo nnyo mu by'enfuna[13] era bawangudde eddembe okusikira ettaka okuva mu kawaayiro k'ettaka aka 1998.[5] Okusinzira ku Dayilekita Lakor, n'ewankubadde biri bityo, waky'aliwo olugendo luwanvu nnyo olw'okutuukako ku mwenkano nkano.

Ebifo omukolerwa Pulogulaamu z'ayo

[kyusa | edit source]

Emirimu gya UWONET gitekeddwa mu nkola mu bitundu bino eby'enjawulo omuli:

  • Obwenkanya mu by'enfuna n'okuwa abalala obuyinza. Wansi wa Pulogulaamu eno, UWONET enoonya: okuwanjagira omulanga mu nkola z'eby'obusuubuzi awatali kwawulamu mu kikula; okulwanirira okukkirizibwa kw'abakyala, obwannanyini, n'okubeera n'obuyinza okufuga eby'enfuna; n'okwongera amaanyi mu kulwanirira enkola ezirwanyisa enkola y'okuboola mu kikula okusobola okusaawo omwenkanonkano mu kufuna eby'obugagga.[13][14]
  • Eddembe ku bwenkanya. Ebigendererwa mu nkola eno kwali kuwanjagira n'okussa mu nkola amateeka ne Pulogulaamu ezirwanirira n'okukuuma eddembe ly'abakyala n'eri eby'obulamu.[15]
  • Obukulembeze bwa Demokulasiya. Ebigendererwa mu nkola eno by'ali: okwongera busobozi bwa bakyala mu bukulembeze ku ddaala lya Disitulikiti n'eggwanga okwetaba mu kusalawo, okulwanirira abakyala okweyongera okwetaba mu by'obufuzi n'okwongera amaanyi mu bantu babulijjo mu mbeera y'abulijjo n'enkola ya Ssemateeka. [16][17]
  • Enkulakulana mu matendekero n'okwongera amaanyi mu bitongole. Mu pulogulaamu eno, UWONET enoonya: okussa mu nkola n'okukulakulanya enkola mu bukulembeze bwa matendekero n'okwongera okulaga emirimu n'okwetaba kw'omukutu guno.[18]

Membership

[kyusa | edit source]

Omukutu guno gwatandikibwawo ba mmemba mwenda naye gulinye okutuuka ku bitongole bakyala kkuminamukaaga n'abantu mwenda ssekinnomu abalwanirizi b'eddembe. mulimu:  

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2017-08-01. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://uwonet.or.ug/whatwedo/who-we-are
  3. 3.0 3.1 https://en.wikipedia.org/wiki/Rowman_&_Littlefield
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-29. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 5.2 http://digitalcommons.law.yale.edu/yhrdlj/vol4/iss1/8
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/Shireen_Hassim
  7. 7.0 7.1 https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9211316634
  8. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/0852558716
  9. https://web.archive.org/web/20160312075343/https://business.highbeam.com/3548/article-1G1-68317675/museveni-launches-peoples-manifesto
  10. http://asq.africa.ufl.edu/tripp_spring04
  11. http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Women-s-Manifesto-2016-2021--What-s-in-it-for-you-/-/689842/2807764/-/axi4o7z/-/index.html
  12. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  13. 13.0 13.1 13.2 "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-26. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2018-02-15. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-05. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  16. "Archive copy". Archived from the original on 2016-09-19. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-09. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-30. Retrieved 2023-05-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]