Jump to content

Omukutule ogw'omutonnyeze(Decimal fraction)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Omukutule era oyinza okukiyita "emu enkutule" oba "emwenkutule" kubanga mu butuufu omukutule guba muwendo omulamba omukutulemu ebitundu. Singa oddira emi n'ogikutulamu ebitundutundu , buli kitundu kiyitibwa " mukutule", ekitegeeza "omuwendo omukutulemu". Muwanga anokoolayo emikutule egy'enjawulo mu Luganda bwati:

(a)Omukutule ogwa nigeemu(unit fraction)

(b) Omukutule omutuukirivu(Proper fraction).Guno guba ne kinnawansi nga nnene okusinga kinnawaggulu.Ekyok. 1/2.

(c) Omukutule ogutali mutuukirivu( improper fraction). Guno guba ne kinnawansi nga kitono okusinga kinnawaggulu.Ekyok. 2/1

(d) Omukkutule omugattike (Mixed fraction)

(e) Omujjuulirizo gw'omukutule(the compliment of a fraction).

   Ekyok.  2/3 gwe mujjuulirizo gwa 1/3

(f)Omukutule ogwa bulijjo(Common fraction) gubaako kinnawansi(denominator) ne kinnawaggulu (numerator).Ekyok. 2/10. Omukutule ogw'omutonnyeze nga 0.2 tegubalibwa nga mukutule gwa bulijjo.

(g)Omukutule ogw'omutonnyeze(Decimal fraction).

  Ekyok. 0.2 mukutule ogw'omutonnyeze. Guno si mukutule ogwa bulijjo(not a Common fraction)