Omukutule ogwa nigeemu(Unit fraction)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jump to navigation Jump to search

Omukutule era oyinza okukiyita "emu enkutule" oba "emwenkutule" kubanga mu butuufu omukutule guba muwendo omulamba omukutulemu ebitundu. Singa oddira emi n'ogikutulamu ebitundutundu , buli kitundu kiyitibwa " mukutule", ekitegeeza "omuwendo omukutulemu". Muwanga anokoolayo emikutule egy'enjawulo mu Luganda bwati:

(a)Omukutule ogwa nigeemu(unit fraction)

(b) Omukutule omutuukirivu(Proper fraction)

(c) Omukutule ogutali mutuukirivu( improper fraction)

(d) Omukkutule omugattike (Mixed fraction)

(e) Omujjuulirizo gw'omukutule(the compliment of a fraction).

   Ekyok.  2/5 gwe mujjuulirizo gwa 3/5

(f)Omukutule ogwa bulijjo(Common fraction) gubaako kinnawansi(denominator) ne kinnawaggulu (numerator).Ekyok. 2/10. Omukutule ogw'omutonnyeze nga 0.2 tegubalibwa nga mukutule gwa bulijjo.

(g)Omukutule ogw'omutonnyeze(Decimal fraction).

  Ekyok. 0.2 mukutule ogw'omutonnyeze. Guno si mukutule ogwa bulijjo(not a Common fraction)