Omukyala Flavia Nabugere Munaaba
Appearance
Flavia Nabugera Munaaba munayuganda eyeyingira muby'obufuzi. Esaawa eno ye minista omubeezi mu kabineeti ya Uganda avunaanyzibwa ku by'etolodde oba abantu webawangalira mu kabineeti ya Uganda. Yaweebwa ekifo ekyo ng'enaku z'omwezi 27, mu mwezi ogw'okutaano, mu mwaka gwa 2011.[1] Yadira Jessica Eriyo, eyasulibwa okuva mu kabineti. Okugata kukubeera minista wa kabineeti, Flavia Munaaba era yaliko mu kifo ky'okubeera omubaka wa palamenti.