Jump to content

Omulengera (the Mind)

Bisangiddwa ku Wikipedia
  1. REDIRECT Template:Charles Muwanga
The Size of the Mind and the Individual


“Omulengera” (the mind) kiva mu kinnamakulu:


                             “omwoyo akulengeza mu by’amagezi“. 


Yee “omulengera guba “mwoyo” gwennyini ogutalabika, so ng’ate guva mu bwongo obulabika.



Abaddugavu tulina “obusobozi bw’omulengera” bwe bumu n’obwabazungu naye obuzibu we buva lwa kuba nti tulina omuze omubi ogw’obutayagala kusoomooza bwongo bwaffe.

Okugamba nti abaddugavu tebaagala kusomooza bwongo bwabwe mba ntegeeza nti tebaagala kumanya busobozi ki obuli mu bwongo babwe. Omuddugavu awerera omwana we kukuguka mu kukoppa obukusu amagezi g’abazungu bw’amala afune digiri oba dipulooma afune omulimu, akole eby’obugagga anyumirwe obulamu awatali kufa ku kubaako kipya ky’ateekawo oba ky’avumbula ku lw’obulungi bw’entabaganya ye n’abo abaliddawo.

Obutasomooza bwongo bwaffe ky’ekimu ku bisinze okutusibira emabega ng’abantu abalala ku Nsi bbo bagenda mu maaso mu sayanmsi ne tekinologiya, ffe nga tuli mu katemba yekka, kuzaala, kulya, kunywa na kugujuubanira bya bugagga ebitono ebiriwo.

Ndowooza nti okukulaga sayansi w’obwongo bwo mu katabo kano kinakuyamba okwetegeera ggwe omuddugavu nga omuntu, okitegeere nti olina obusobozi bw’omulengera (mental faculties) bwe bumu n’obwomuzungu, osobole okukozesa omulengera gwo mu bujjuvu. Buli lunaku ebirowoozo ebiyita mu bwongo bwaffe nkuyanja naye waliwo ebimu ebisigalamu olw’okuba omulengera gubiteekako essira. Bw’oba olina gw’onyiigidde ennyo ojja kusigala nga wetisse okunyiiga okwo mu mulengera gwo. Okusigala nga wetisse okunyiiga okwo kijja kusikiriza ebikolwa ebitali birungi nga okuboggola, okwekandula, enge, empiiga, effutwa, oba okumulumba n’omukolako obulabe. Ekiyinza okuziiyiza kino ly’ essira okuliteeka ku bintu ebirala ebizimba obulamu bwo, obw’abantu bo, oba obw’entabaganya yo.


Ate bw’olowooza ku kubuuka mu bbanga ng’ekinyonyi era ekifaananyi kino omulengera kye gukuba mu bwongo bwo. Singa kino oba okiremezzaako ebirowoozo, ojja kutandika okuyiiya ebiwawaatiro bisobole okukusobozesa okubuuka. Eyo y’ensibuko ya tekinologia oba engeri gy’oyinza okutondekawo ekintu omulengera gwo kwe gutadde essira.


Abaddugavu tusaana tutandike okulaba ng’ebirowoozo byaffe biteeka essira ku bintu eby’amakulu nga sayansi ali emabega w’obutonde oba tekinologiya avumbuddwa abazungu, okusobola okumunnyonnyoka n’okumuteekamu ennongoosereza naffe tufuuke abayiiya oba bannamakolero.


Singa tutendeka abaana baffe ebirowoozo byabwe okubiteeka ku kusamira na kuwongera bajajja ffe abaafa n’emizimu egitasobola kutuyamba kukola kizungirizi kitutwala ku mwezi” mu kifo ky’okukozesa obwongo okuyiiya ebintu ebirongoosa obulamu bwaffe, tujja kusigala nga tuli kisekererwa mu Nsi eya Sayansi ne tekinologiya.

Ng’amaze okuyiga okwebuuza ebibuuzo eby’ekifirosoofa (philosophical questions) ku butonde na buli kintu ekigenda mu maaso, omwana yetaaga okumanya engeri y’okutuuka ku kumanya ng’akola enkakaso n’okulaga ky’avumbudde oba ky’ayize. Kino kikolebwa okuyita mu:

• Okulowooza nga yebuuza ku ky’alowozaako

• Okwekebejja obutonde oba ekintu ekirala kyonna

• Okwekenneenya

• Okwefumiitiriza

• Okulambika ebirowoozo (ensonga) bye

• Okulambulula ebirowoozo (ensonga)

• N’okusengeka ebirowoozo oba ensonga ezo. Okusengeka ensonga kwe kusengeka ebirowoozo nga obikwataganya bulungi mu ngeri etegeerekeka ate nga ejjayo obukakafu.

Engeri zino zirina ekigendererwa kimu: okutendeka asomesebwa okukozesa obwongo ng’asengeka ebirowoozo mu bwetengerevu (ng’asinziira ku fakikya (facts) oba obukakafu obulabika, okuyita mu kulambika oba okulambulula ensonga.


Okulowooza.


Okulowooza kikolwa kya mulengera (mental process), obusobozi obw’okutondeka ebirowoozo (formation of thoughts). Okufaanana n’ensolo endala, omuntu yenna alowooza ku buli kintu ky’asegeera ne sensa ze ettaano. Buli muntu alowooza ku bintu, ebisolo, abantu, ebifo, enkula, na buli kintu kyonna awatali nsonga lwaki akola kino. Kino akikola ng’ enneeyisa engerekere (instinctive behaviour) awatali kukyefumiitirizako.

Wano omuntu atondeka ekirowoozo (forms a thought) awatali fakikya (facts) oba bukakafu. Kino kitegeeza nti mu mbeera emu, okulowooza kikolwa ekyetaagisa omuntu okutondeka ekirowoozo ku mbeera eriwo nga bw’eri awatali kugyefumiitirizaako.

Guno gwe mutendera ogusooka ogwetaagisa buli muntu yenna okusoobola okukozesa obusobozi bw’omulengera gwe (fakalita ze) gwe obulala obw’enkozesa y’obwongo. Okulowooza kuno n’ebikolwa ebigerekere (instinctive acts) oba okumanya okwembagirawo (intuition) tekiri mu bantu bokka, wabula kuli ne mu nsolo ezitalina bwakalimagezi (magezi ga mutendera gwa waggulu) tebiri ku mutindo nga ogw’omuntu. Ziraba ekintu ne zikirowozaako nga bwe kiri kyokka zzo zikoma awo tezeeyongerayo kwefumiitiriza oba kukyefumiitirizaako yadde okwongera okukinoonyerezaako ne sensa endala.

Buli muntu asobola okulowooza naye abantu abamu bakoma ku kulowooza, tebeyongerayo kwefumiitiriza, balowooza bulowooza awatali kwefumiitiriza. Bakkiririza mu fakikya (facts) oba ebiriwo awatali ku byekebejja na kwekenneenya. Fakikya zino oba ebiriwo nga bw’aba abisegedde, yee abitwala ng’amazima era tafaayo kubyekebejja na kubyekenneenya kusingako awo.


Okwefumiitiriza (Critical thinking).

Kuno kuli mu bantu bokka. Kulimu bino wammanga:

• Okwebuuza ku kintu kyosegedde ne sensa zo

• Okuteebereza (rationalising) ku kiri munda oba emabega waakyo

• “Okwekenneenya” (analysis) ekintu oba omulamwa. Wano omuntu era akozesa “sensa” ze ettaano omuli okulaba, okuwunyirza, okuwulira, okukwatako, oba okulegako mu kukinoonyerezaako, n’alyooka asengeka ebirowoozo okusinziira ku ki ky’afunye. Oluusi ayinza okukyabuluzaamu amanye ebiri mu buziba bwakyo.

• Okugereesa (abstraction/ theorising).

• Okugerageranya

• okunoonyereza n’okugezesa ku butonde

• okutuuka ku kuvumbula

• okuyiiya tekinologia

Mu butuufu omuntu alowooza obulowooza ku kintu ky’asegedde ne sensa ze kyokka n’ateyongerayo kukyekebejja oba okukyekenneenya era n’atakyefumiitirizaako aba ng’ekisolo obusolo.

Okwefumiitiriza kwetaagisa nnyo mu bulamu bw’omuntu obwa bulijjo oba mu ntabaganya kyokka ate kye kifuula abantu abamu okuba bakakensa abakozesa “enkola ya sayansi” (scientific method) oba bassekalowooleza n’okuteekawo tekinologia ow’omugaso ennyo mu kutondeka ebyettunzi.