Omumbejja Elizabeth ow'e Tooro

Bisangiddwa ku Wikipedia

Princess Elizabeth of Tooro (Elizabeth Christobel Edith Bagaaya Akiiki; yazaalibwa nga 9 Ogwokubiri 1936[1]) Batebe (Mumbejja) w'Obwakabaka bwe Tooro. Munnayuganda, munnamateeka, Munnabyabufuzi, era mwolesi w'amisono. Ye mukyala okuva mu mukago gwa East Africa okulondebwa okwegatta ku bannamateeka ba Bungereza ekya English Bar. Mwannyina wa taata wa Kabaka wa Tooro, Rukidi IV. Yaweerezaako nga Minisita w'ensonga z'ebweru wansi wa Idi Amin okuva mu Gwokubiri okutuusa mu Gwekkuminogumu 1974.

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Omumbejja yazaalibwa mu 1936 eri Rukidi III owa Tooro, Omukama wa Toro ow'ekkuminomu eyakulembera wakati wa 1928 ne 1965. Maamawe yali Nnabagereka Kezia,[2] muwala wa Nikodemo Kakoro.  Ekitiibwa kye okuva lw'eyazaalibwa yayitibwanga Omubiitokati ekitegeeza Omumbejja.

Oluvanyuma lw'okumalirirza emisomo gye egya pulayimale ku ssomero kakaano eriyitibwa Kyebambe Girls' Secondary School, yasindikibwa ku Gayaza High School, essomero ery'ekissulo ery'abawala bokka muBuganda, n'eligobererwa Sherborne School for Girls mu Bungereza, ng'eno y'emuddugavu yekka eyali asomerayo. Oluvanyuma yawandiika nti "Nawulira ng'ali ku kigezo era n'okugwa kwange kw'ali kuggyakulaga ekifaananyi ekibi eri abaddugavu bonna,". Oluvanyuma lw'omwaka gumu, y'akkirizibwa mu ssomero lya Girton College, Cambridge, omuwala omuddugavu ow'okusatu okukkirizibwa mu University of Cambridge mu byafaayo by'ettendekro lino. Mu 1962, yatikkirwa okuva mu Cambridge[2] ne Diguli mu mateeka. Oluvanyuma lw'emyaka esatu, mu 1965, Omumbejja yafuuka Munnamateeka atuukiridde okutaputa amateeka mu kooti enssukkulumu nga mmemba wa Gray's Inn,[3] nga kino kyamufuula omukyala asoose okuva East Africa okuyitibwa mu kibiina ky'abannamateeka ekya Bangereza ekya English Bar.[2]

Obulamu bw'obumbejja n'okwolesa[kyusa | edit source]

Mu biseera bino, kitaawe y'aggya omukono mu ngabo era n'asikizibwa mutabaniwe Patrick David Matthew Kaboyo Olimi yattikirwa nga Olimi III, nga yeyali Omukama wa Toro ow'ekkuminababiri, ono nga y'atuula ku Nnamulondo okuva mu 1965 okutuusa mu 1995. Ku mikolo gy'amatikira, Elizabeth yafuna ekitiibwa ne offiisi ya Batebe (Omumbejja omukulu), ekintu ekyamufuula omukazi ow'amannyi mu buwangwa bw'obwakabaka bwa Tooro era omuwi w'amagezi omwesigwa eri Kabaka.

King Fredrick Mutesa II owa Buganda, Obwakabaka bw'obuwangwa obulala ye yali Pulezidenti wamu ne Ssaabaminisita we Milton Obote. Nga wakayita omwaka gumu oluvanyuma lw'amatikkira ga Omukama Olimi III, Obote yalumba olubiri lwa Buganda, ekyasindikiriza Edward Muteesa II mu buwaŋŋanguse, era neyelangirira ku bwa Pulezidenti. Mu bwangu yagyawo Obw'akabaka bwonna obwali mu Uganda, omwali Toro. Elizabeth yali mwerelikirivu ku lw'obulamu bwa mwannyina naye yatoloka nagenda mu Bungereza.

Oluvannyuma Elizabeth yamaliriza okugezesebwakwe ku kkampuni y'abannamateeka era nafuuka munnamateeka wa Uganda omukyala eyasooka. Yali musibe mu Gggwanga lye okutuusa omumbejja w'obwakabaka bwa Bungereza Omumbejja Margaret bweyamuyita okwolesa mu musono gweyali ategese. Omumbejja y'akola bulungi era mu bwangu y'afuuka modo w'emisono ow'amaanyi, ng'akozesebwa mu butabo bw'amagazini. Jacqueline Kennedy Onassis yasisinkana Elizabeth ku kabaga era n'amumatiza okubeera mu kibuga kya York City. Mu 1971, Genero Amin yagya Obite mu buyinza era Elizabeth nakomawo mu Uganda. Obukulmbeze bwa Amin bw'ali bukaambwe nnyo n'okusinga ku bwa Obote, nga Amin y'atemula n'okuteeka abantu abawerako mu kkomera. Mu 1974, Amin yalonda Elizabeth nga Minisita w'ensonga z'ebwru.

Okudda kw'abo abaali baagenda mu buwaŋŋanguse[kyusa | edit source]

Mu Gwokubiri 1975, Elizabeth yatolokera mu Kenya, n'oluvanyuma Vienna, okutuuka mu Bungereza. Nga wayisewo emyaka ena, Elizabeth yakomawo mu Uganda okuyambako mu kalulu k'ggwanga ak'mirembe akawangulwa Obote, eyagenda mu maaso n'okutta balabe be. Elizabeth n'omwagalwawe , Prince Wilberforce Nyabongo, mutabani w'omulangira Leo Sharp Ochaki, baddukira mu Bungereza mu 1980 era bafumbirwa mu 1981.[4] Mu 1984, Elizabeth yazannya ekifo kya Shaman mu filimu ya in the Columbia Pictures film Sheena: Queen of the Jungle

Mu 1985, Obote yagibwa mu buyinza era okugoberera kaseera katono ak'obufuzi bw'amagye, yasikizibwa Yoweri Museveni. Mu 1986, Elizabeth yalondebwa nga Ambasada w'Amerika omulimu gwe yalimu okutuusa mu 1988. Era mu mwaka ogwo, Nyabongo, omukanisi w'ennyonyi yafiira mu kabenje k'ennyonyi ku myaka 32.

Okugoberera okufa kw'abbawe, Elizabeth yasalawo okuva mu kubeera omukozi wa Gavumenti nasalawo okwenyigira mu mirimu gy'obwannakyewa, Era yali mu luŋŋamya w'omwana wa mwannyina, Rukidi IV, eyali yazaalibwa mu 1992 era yeyali ku Nnamulondo y'obwakabaka bwa Toro monarch okuva mu 1995. Okugoberera akaseera ke nga Ambasada wa Uganda mu Germany ne Vatican, Elizabeth yakkiriza ekifo ekyamuwebwa ekya High Commissioner mu Nigeria.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Obutabo obw'enjawulo obumwogerako[kyusa | edit source]

  • Hassen, Joyce. African Princess. New York: Hyperion, 2004
  • Elizabeth of Toro. Elizabeth of Toro: The Odyssey of an African Princess. New York: Simon and Schuster.

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.