Omuntu kalimagezi(Intelligent man)
Gakuweebwa Charles Muwanga !!Omuntu Kalimagezi (Intelligent man)
Obutafanana nsolo ndala, obulamu bw’ensolo eyitibwa omuntu , bukolebwa ebintu bisatu : omubiri, omwoyo, n’omulengera(the mind). Buli kimu ku bino kikulu nnyo okukola omuntu omujjuvu.
Singa si bwakalimagezi bwe , omuntu teyandisobodde kuba mutabaganyi na bantu banne, okwenyigira mu byenfuna, ebyobufuzi , okuba n’obusobozi okufuga embeera ze ez’obuntu enkaalamufu nga okunyiiga, obujja, obukyaayi ; kyokka n’okuyiiya ebintu eby’enjawulo ebireetawo enkulaakulana eza buli kika kiva ku bwakalimagezi bwa muntu.
Kiri mu butonde bwa muntu okuzaalibwa n’obwakalimagezi obutereke. Buli muntu azaalibwa n’obwakalimagezi obutereke. Kino kiba kitegeeza nti ekitone kino eky’obwakalimagezi (interligence) kirina okukulaakulanyizibwa okuva nga tuli bato.
Okutendeka omwana okumanya ebikolwa eby’obwakalimagezi kuba kumutendeka bugunjufu kubanga kino kye kimu ku bimuyamba okwewala ebikolwa ebitali bya buntu n’obusobozi okufuga obutonde (taming nature)oba embeera enkaalamufu zetuba nazo.
Omuntu kalimagezi akozesa atya obwongo oba omulengera gwe ?
Ng’asengeka ebirowoozo, alambika oba n’alambulula ensonga(ebirowoozo)? “Ensengeka y’Ebirowoozo” (Logic) y’emu ku ngeri ez’obwakalimagezi omuntu mw’akozeseza obwongo bwe oba omulengera gwe. Omuntu atasobola kusengeka birowoozo mu bwongo bwe oba oyo akola ekintu nga tamaze kulowooza (kusengeka birowoozo mu bwongo bwe) aba “ si mutegeevu” era abeerawo ku bikolwa bigerekere(instinctive acts) .
Ekintu ekikolebwa oluvanyuma lw’okusengeka ebirowoozo mu bwongo oba mu mulengera wo kiyitibwa “kikolwa kya butegeevu” (rational act).
Obwongo okuba nga bukola tekitegeeza busobozi kukozesa bwongo okusobola okukola ebikolwa eby’obutegeevu (rational acts) kubanga n’ebisolo birina obwongo obukolera mu ngerekera (instincts) nga birowooza kyokka tebisobola kusengeka birowoozo byabyo mu ngeri ya magezi. Omutabufu w’obwongo, obwongo bwe buba bukola kuba si mufu naye tasobola kukozesa bwongo bwe mu bwetengerevu n’olwekyo tasobola kukola bintu bya butegeevu.
Omubbi, omutujju oba muliisa maanyi bw’aba agenda okukola ebikolwa ebitali bya buntu ; ngamba okuzza emisango , naye, obwongo bwe buba bukola kyokka aba takozesezza bwongo bwe oba ng’abukozesezza bubi ; tasengeka birowoozo bye mu ngeri ya magezi (eyeebuuza n’epima obulungi bw’ekyo ky’ayagala okukola) . N’olwekyo “taba mutegeevu” (he is irrational) era akola ekikolwa ekitali kya butegeevu. Omuntu okusengeka ebirowoozo mu bwongo bwe kikolwa kya mulengera( it is an act of the mind) ekimusobozesa okukola ekintu eky’amagezi ekyeyagalire .
Okusengeka ebirowoozo kyetaagisa mu “masomo g’ekikugu” (academic studies) ne mu bulamu obwa bulijjo era kiyinza okugenda mu maaso okiyita mu :
Okulambika ensonga zo mu mulengera wo.Mu kukozesa obwongo ng’olambika (olamba) w’oyita okutuuka ku nsonga , omuntu asooka kwekebejja kintu n’akola okwekenneenya , olwo n’alyoka atuuka ku kituufu oba ku nsonga . Mu “kwekenneenya” osooka kuddira ekintu ky’obuulirizaako n’okyabuluzamu ebitundu byakyo eby’enjawulo okusobola okukyekenneenya obulungi. Bw’omala n’owumbawumba ng’onyonyola ki ky’obirabyemu/kyozudde. Okulambulula ensonga kuba kulaga kkubo eriyitiddwaamu (erirambikiddwa) okutuuka ku kuzuula ekipya.
Okulambika ensonga
Okulambika ensonga oba okulowooza nga olambika ensonga mu lungereza kiba “inductive reasoning”. Okuyita mu kukozesa obwongo ng’olambika ensonga, omuntu kalimagezi: Alambika omulamwa okuva wansi okudda waggulu. Atuuka ku kuvumbula oba okumanya ebipya . Kimusobozesa okuyigiriza abalala okwevumbulira oba okwezuulira okumanya okupya. Okulambika ensonga kitendeka mulengera (the mind ) n’okukulaakulanya enkola za mulengera (mental processes) mu bato nga bayiga okwevumbulira ebipya. Kyetagisa okukozesa ensonda ez’enjawulo
Okulambulula ensonga”
Okulambulula ensonga oba okulambulula ebirowoozo mu lungereza kiyite “deductive reasoning: Okulambika n’okulabulula ensonga bigeraageranye n’ekikolwa eky’okusiba n’okusumulula oba okulanga n’okulangulula omugwa . Okulangulula omugwa kiba kyangu okusinga okugulanga kuba okugulanga oteekamu okwefumiitiriza n’amagezi mangi ddala.
Obutafaanana na kulambika nsonga , okulambulula ensonga kitegeeza kunnyonyola ekyo ekiwedde okukola (ekimanyiddwa) okudda wansi ku ntandikwa . Okulambulula ensonga”:
tekuleetawo kumanya kupya , wabula kulaga ekkubo eryayitiddwamu okutuuka ku mulamwa(ekituufu). Nkola ya kulaga bukakafu Kukozesebwa okulaga enkola oba engeri ebintu ebimanyiddwa gye bikolamu, gye bikolebwamu oba gyebyavumbulwamu. Kintu ekyanguwa kubanga oyo alambulula ekintu aba akimanyi bulungi nga tali mu kunoonya kukimanyaako kupya oba kunoonya kuvumbula.
(iii) Okwetegeera kikolwa kya bwakalimagezi?
Omuntu kalimagezi alina engerekera y’okwetegeera (self - consciousness) ng’omuntu aliwo olw’okuba mulengera we (obwongo bwe) alina obusobozi okumumanyisa nti w’ali era mulamu.
Obutafaanana bisolo, omuntu alina obutonde obw’okwetegeera era yeebuuza ku kubaawo kwe, gye yava, ne gy’alaga, ensonga lwaki yefaako okutumbula embeera y’obulamu bwe n’okumanya oba okuteebereza ekigendererwa kya Katonda gyali.
Okwetegeera era kitegeeza okumanya embeera z’obuntu ennungi n’ezitali nungi. Mu mbeera embi omuntu z’ayinza okubeeramu mulimu obutayagala kugambwako, enge, empiiga, okunyiiga okunyigirizibwa , okwekubagiza, obutayagala kubuulirirwa , obusunguwavu , obutasaasira, obutasonyiwa, obutujju, okwagala ennyo ebyamasanyu, okwerowozaako wekka n’endala.Okwetegeera kitegeeza kubeera waggulu wa mbeera zo ez’obuntu nga ozifuga mu kifo kya zzo okukufuga.
Okwetegeera era kitegeeza kumanya nti:
• W’oli, oli mulamu, oli mu ntabaganya era olina entabaganyo mwe wesanga, n’olwekyo olina okwefaako n’okufa ku bantu banno . • wetaaga okuyambibwa , nawe yamba abalala, • wetaaga okwagalwa , nawe laga abalala okwagala n’okufiibwaako • wetaaga obulamu naawe kuuma obulamu bwa abalala • toyagala kulumizibwa naawe tolumya balala • tewetaaga kunyigirizibwa naawe tonyigiriza balala, • Tewetaaga kutulugunyizibwa naawe totulugunya balala, • Wetaaga okukulaakulana nawe yamba abalala okukulaakulana. • Si ggwe weetonda; manya era osinzenga Katonda wo.
Okwetegeera kitegeeza kumanya enjawulo eriwo wakati w’embeera ez’obuntu ennungi n’embi ozikakkanye zituukane n’ezo ezetaaga okukusobozesa okutabagana obulungi n’abalala.
(iv) Okusegeera n’okutegeera byawukanya bitya omuntu ku nsolo endala?
Ekisitimula okusegeera(what stimulates sense perception) kiva mu emu ku sensa zo ettaano oba okusingawo ate okutegeera kuva mu kukozesa sensa zo ezisigadde ennya kw’ekyo ky’osegedde nga okiwunyirizaako, okitunulako okukiraba, okiregako, n’okikwatako . Okusegeera kwe kumanya kw’ebintu okuyita mu sensa y’okulaba, sensa y’okuwulira, sensa y’okukwatako, eyokuwunyiriza oba eyokulegako kyokka “okutegeera” kiva mu kukiteekako sensa ezo zonna wakati mu kwefumiitririza, okwekebejje, n’okwekenneenya.
Sensa ey’okulaba esibuka mu maaso, ey’okuwulira mu matu, ey’okukwatako ku lususu , ey’okuwunyiriza mu nnyindo , n’eyokulegako ku lulimi. N’olwekyo okusegeera okwomutendera ogusooka kuleetebwawo sensa zino ettaano. Okusegeera ky’ekikolwa ekisobozesa ebimu ku bikolwa ebigerekere ng’okulaba, okulya, okuwulira obulumi n’ okunyumirwa.
Mu kwogera okwa bulijjo, okusegeera kitegeeza okumanya okujjawo okuyita mu kulaba, okuwulira, okulega, okusenserwa ky’okutteko oba ekikkutteko oba okutegeera ebintu oba engeri y’okulaba oba okutegeeramu ebintu.
Ekisobozesa omuntu okufuna okumanya kuno kiva mu sekaloopera (reflex) wakati w’obwongo bwo ne sensa yo gye kikwatako ; sensa eroopera obwongo, obwongo ne bukola okutaputa , olwo mulengera(mind) n’akutegeeza obwongo kye bufunye. Buli sensa erina ekyagigerekerwa; sensa ey’okutunula kyagikerekerwa kulaba.
Omuntu kyasegedde (what one perceives with the senses) kiba n’ekikisikiriza oba ekikisitimula (stimulus). Ekisikiriza/ekisitimula okulaba kutunula, okuwunyiriza kuwunya, okuwuliriza bivuga oba kwogera, okusenserwa (feeling) buba bunnyogovu, kwokya, obulumi oba okukwatako.
Obuzibu bw’okusegeera
Okusegeera kutuwa okumanya ebikwata ku mbeera eri wabweeru w’emibiri gyaffe nga bw’eri. Kyokka olwa ensonga emu oba endala, oluusi wajjawo obuzibu okuba ng’ebitundu by’emibiri gyaffe ebikwatibwako ku kusegeera okw’enjawulo bifuna okubuzibwabuzibwa okuva mu bwongo ebintu ne tubisegeera kifuulanenge .
Okusegeerakifuulannenge (illusion) buzibu bwa kusegeera mu kulaba era omuntu akitegeererawo nti olw’ensonga emu oba endala ekintu akirabye kifuulannenge. Ekintu ekirabika kifuulannenge kiba kyekyo kye nnyini naye ne kirabika mu ngeri ya njawulo .Ekyokulabirako:
• Ekisenge ekyeeru mu ttaala eya kyenvu kirabika ng’ekya kyenvu. Oyo kifuulannenge wa langi. • Eky’okunywa ekiwoomerera kiyinza okuba ng’ekikaawa mu kamwa singa oli aba yakamala okulya ekintu ekiwoomerera okusingawo.Oyo kifuulanenge wa kulega. • Ekivuga eky’empolampola kiyinza okuwulikika ng’ekireekana singa kiba kumpi nnyo n’omuntu. Oyo kifuulannenge wa kuwulira.
Ate ekirabampewo (hallucination) buba buzibu buva ku bwongo omuntu n’aba nga atunula naye nga ky’agamba nti kyalaba mu butuufu si kye kiriwo. Omuntu asegedde ekintu kifuulannenge atera okutegeera nti ekyo kyalabye si bwekirina okubeera olw’obumanyirivu kyokka oyo alaba empewo tamanya nti kyalabye tekiriiwo. Abanywi b’enjaga ne balujuuju batera nnyo okufuna obuzibu bw’ekirabampewo . Ekirabampewo tekitegeeza nti olaba mpewo naye kitegeeza nti obwongo bwo bukulaga ekintu ekitaliiwo olw’okukyankalanyizibwa omwenge, enjaga, oba obulwadde.
Okulaba empewo tekiba kulaba muzimu wabula kiva ku kukyankalana kwa bwongo bwa muntu olw’ensonga z’okukyankalana kw’ensegekera y’obwongo oba olw’okukyakankalana kwa mutereezabulamu(metabolism).
Omuntu omugunjufu n’olwekyo si kirungi buli kintu kukiyita mizimu oba misambwa kubanga oluusi kiva mu kukyankalana kwa bwongo mu kukola okutaputa ekisegeddwa(ekisakiddwa) sensa ze ez’omubiri.