Omusomesa Mpamire
Herbert Mendo Ssegujja (yazaalibwa nga 27 Ogwomwenda 1983) Munnayuganda, musanyusa era munnakatemba azannyira mu linnya lya Teacher Mpamire. Amannyikiddwa nnyo mu kugeegegya Omukulembeze wa Uganda, Yoweri Kaguta Museveni. Y'atandiika n 'elinnya lya Teacher Mpamire.[1][2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Ssegujja yazaalibwa mu Kibuga ky'e Mukono, nga 27 Ogwomwenda 1983. Oluvannyuma lw'emisomo gye ku Bbowa Primary School, y'atwalibwa mu Greenlight High School, e Zana, ku luguudo lwa Kampala–Entebbe. Sekendule ye yagimaliririza ku Greenlight High School.
Alina Diguli esooka mu busomesa eya Bachelor of Education okuva mu Ssettendekero wa Uganda asinga obukulu n'obunene Makerere University. Yaweererwa Pulezidenti Yoweri Museveni okusoma mu Pulogulaamu y'okuzannya katemba saako n'okumuwandiika mu Ttendekero ly'abannakatemba erya American Comedy Institute, mu New York City.
Emirimu gye y'akola
[kyusa | edit source]Ng'omusomesa
[kyusa | edit source]Mu bulamu bwe obwa bulijjo, Ssegujja musomesa ku Standard High School mu Zana, ze Kilomita10 (6 mi), mu Bukiikaddyobwobuggwanjuba okuva mu kibuga Kampala.[3] Ng'ali eyo, yafuna omukisa okusomesako ne Arthur Mpamire, eyali omusomesawe ow'ebyafaayo by'ebulaaya okuva mu Greenlight High, nga kw'ono kweyazimbira elinnya lye mwazannyira ku siteegi.
Nga munnakatemba
[kyusa | edit source]Okuzannya kwe kumulabisiza ku ndaga ez'enjawulo mu Uganda, Zambia,[4] Malawi, Kenya, Tanzania n'amawanga amalala okuva mu Africa.[5][6] Mu 2016, Teacher Mpamire yatuumibwa "omuvumbuzi w'omwaka" mu mpaka za Africa Youth Awards ez'ategekebwa mu Accra, Ghana.[7][8] Era kitundu ku Fun Factory olulaga lw'akatemba olulagibwa buli wiiki ku National Theatre, mu Kampala.[5]
Empaka z'eyetabamu n'Awaadi ze y'awangula
[kyusa | edit source]Omwaka | Awaadi | Omutendera | Eyawangula | Ebyavaamu |
---|---|---|---|---|
2015 | Youth Expo Stand-up Comedy Awards | Munnakatemba asinze | Teacher Mpamire | Yawangula |
2016 | Africa Youth Awards | Omuvumbuzi w'omwaka | Teacher Mpamire | Yawangula |
Rising Star Awards | Munnakatemba w'omwaka | Teacher Mpamire | Yawangula | |
Starqt Awards | Munnakatemba w'omwaka | Teacher Mpamire | Yawangula |
Amwambaza
[kyusa | edit source]Ssegujja alina amwambaza ow'enjawulo okuva mu Democratic Republic of the Congo amupimaera n'amutungira eby'ambalo by'azannyiramu katemba.
Ebikwata ku Famire ye
[kyusa | edit source]Herbert Ssegujja mufumbo eri omwagalwa we, Carol Barekye. Omukolo ogw'obuwangwa ogw'okumwajula mu bazadde b'amukyalawe gw'akolebwa mu Gwekkuminebiri 2016.[9]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.newtimes.co.rw/section/read/214015
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-07. Retrieved 2022-12-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.google.com/maps/dir/Nakasero,+Kampala/Zana,+Kampala/@0.2938935,32.5483218,13z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbb780367a4d3:0xba33d80d08dfacd8!2m2!1d32.5810108!2d0.3217848!1m5!1m1!1s0x177dbd430da4fe39:0x404ad8a03f26c32a!2m2!1d32.5570715!2d0.2624052!3e0
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-28. Retrieved 2022-12-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 5.0 5.1 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Nation_(Malawi)
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1486956/teacher-mpamire-love-heartbreak
- ↑ http://matookerepublic.com/2017/01/02/comedian-teacher-mpamire-wins-africa-youth-award-to-be-honoured-by-presidents-at-au-summit/
- ↑ http://bigeye.ug/teacher-mpamire-wins-continental-award/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1441511/comedian-mendo-introduced-fiancee
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Nnasuulibwawo mu wiiki emu oluvannyuma lw'okunwegera okwasooka - Ssegujja nga 15 Ogwekkuminebiri 2019. Template:Mukono District