Jump to content

Omusujja oguyitibwa Rift Valley Fever (RVF)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Omusujja_oguyitibwa_Rift_Valley_Fever

Enfaanana y’obulwadde buno

[kyusa | edit source]

Omusujja gwa Rift valley fever(RVF) guleetebwa akawuka akayitibwa RFV virus akagwa mu kika kya’ phlebovirus’. Omusujja guno guleeta obubonero obutonotono ate n’obunene. Mu butonotono mulimu okufuna omusujja, ennyingo eziruma wamu n’omutwe oguluma,ebitwala akabanga ka wiiki ng’emu. Ate mu bubonero obunene oba obw’amaanyi mulimu: okufuna ekifu ku maaso nga waakayita ebbanga lya wiiki nga ssatu nga bukutte omuntu, okukyankalanyizibwa kw’obwongo, ekireetawo omutwe oguluma ennyo (ogubobba), okuvaamu omusaayi, wamu n’okulwala ekibumba ebigwawo mu nnaku ntono ezisooka kyokka abo abavaamu omusaayi emikisa gyabwe okufa gibeera mu bitundu ataano ku buli kikumi (50%).

Ensaasaanya

[kyusa | edit source]

Omusujja guno gusaasaanyizibwa singa omuntu akwata mu musaayi gw’ensolo erina obulwadde obwo, okussa omukka oguva mu nsolo endwadde, okunywa amata amabisi agavudde mu nsolo endwadde, oba okulumibwa ensiri ezibusaasaanya. Obulwadde buno butera kukwata nsolo nga; ente, embuzi, endiga, eŋŋamiya n’endala era nga businga kusaasaanyizibwa nsiri

Wabula si kikakafu nti obulwadde buno busobola okuva ku muntu omu n’abusiiga omulala. Okukebera nokujjanjaba obulwadde buno, bakozesa eddagala eryongera abasirikale ababulwanyisa mu mubiri oba okuzuula akawuka kennyini nga bakebera mu musaayi.

Engeri y’okubwewala

[kyusa | edit source]

Okwewala obulwadde buno mu bantu, kwe kugemesa ensolo zonna naddala ng’omusujja guno ogwa RVF tegunnagwa. Kyokka ssinga ogema ensolo nga gumaze okubalukawo, kyandyongera n’okusajjula embeera.Okusibira ensolo mu kifo ekimu, nezitataayaaya mu kitundu gyebuba bugudde, nga kw’otadde n’okufuuyira ensiri ezibusaasaanya ne zikendeera.

Eddagala

[kyusa | edit source]

Waliwo eddagala erigema abantu eyavumbulwa mu mwaka 2010, newankubadde libadde terinnasaasaana nnyo, naye nga tewali bujjanjabi na ddagala ttuufu ku ndwadde eno. Naye ng’endwadde eno yeeriisa nnyo enkuuli mu biseera by’enkuba, ensiri ezibusaasaanya we zizaalira ennyo.