Omutukuvu Nelly-Sade
St. Nelly-Sade, amannya gwe amazaale ye Nsubuga Nelson, Munnayuganda Omuyimbi wa Lugaflow.[1][2] Ayimbiddeko ku siteegi za wano n'ezeebweru omuli Bayimba International Festival of the Arts,[3][4] LaBa! Arts Festival,[5] Uganda Hip Hop Summit, nendala ezaali mu South Sudan, Arusha, Tanzania n'ebifo ebirala bingi okwetoloola Obuvanjuba bwa Africa.
Nelly-Sade akoze puloojekiti nnyingi omuli olutambi lwa The Hip Hop Canvas mu 2009 ne 2010, Voices Initiative Uganda, WAPI, Open Mic Night Kampala, End of the Weak Uganda, Spoken Truth and Mic Stand Hip Hop night, nga zino yazitandika mu 2011. Ye yali Omukwanaganya w'ekkivvulu kya End of the Weak International Hip Hop Festival ekyategekebwa Kampala mu 2014.[6]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]St. Nelly-Sade yazaalibwa nga ye Nsubuga Nelson mu 1988 mu Kampala, nga yazaalibwa Lule Edward ne Nantongo Jane. Yasomerako ku Buganda Road Primary School ne St. Joseph Primary school Nazigo ku ddaala lya ppulayimale, ne Old Kampala Secondary School ne Yale High School ku ddaala lya ssekondale. Yadda ku "Do it Virtual Institute" nga eno yasomerayo Dipulooma mu bya project planning and management.[7] [<span title="The material near this tag failed verification of its source citation(s). (March 2023)">failed verification</span>]
Okuyimba kwe
[kyusa | edit source]Nelly-Sade yatandika okuyimba 2007.[2] yakola ekibinja kye eky'abayimbi, kye yayita The Hip Hop Gangstarz nga yakikola ne mikwano gye mu 2004. Oluvannyuma ekibinja kyasaanawo nga balemeddwa okuwangula. Nelly-Sade yagenda mu maaso n'okuyimba kwe mu luzungu naye abantu nga obuwagizi butono. Mu 2008, Yakola luyimba lwe olwasooka olwa My Lover nga yaluyimba ne A.B Khale, nga luno lwa yatiikirira ku ma leediyo mu Kitundu Ky'obuvanjuba bwa Uganda. Yeetaba mu kubbinkana mu kuyimba okwenjawulo okwa Hip Hop nga kuno kwali nga kutegekeddwa "Hot 100" ne "Hip Hop Canvas", "End of the Weak Mic Challenge Uganda", era nga okumu kwategekebwa mu bifo eby'enjawulo mu Kampala. Yali ayimba raapu ze mu Luganda.[8] Mu 2010, yeegatta ku kibinja kya "Bavubuka All Starz". Nga ali wamu naabamu ku mikwano gye, beegattira mu kitongole okukola omusingi ogunaabayamba ok[9]uwangula mu maaso nga ekibinja kya Luga Flow Army.
Akubye ennyimba nnyinji ezaatiikiridde nga "Tubaale", "Nina Plan", "Nzijukira", "Kakubiddewa", "Love story" ne"Nva Ntinda" "Neighbour (kankuwaneko)". Ayimbyeko n'abayimbi nga A Pass, Keko, The Mith, Nutty Neithan, Ruyonga, Enygma ne Annet Nandujja. Alina n'okuyimba n'omuyimbi Peter Miles mu maaso.
Willy Mukaabya, Navio ne Bana Mutibwa.[10] Yata olutambi lwe olwasooka olwayitibwa "The translation (Okutaputa)" mu 2013.[11]
Ennyimba ze
[kyusa | edit source]- The translation (Okutaputa), 2013
- Omulondo N'engero (Stories of elevation), 2015
- Suicide note
- Nzijukira
- Nva ntinda
- Cant put me down
- Bonga nange
- Get ya hustle on
- Tubaale
- Amazigga ga namuddu
- love lead
Ebirabo byafunye n'okusiimibwa
[kyusa | edit source]- Omuwanguzi w'olutambi lw'omwaka mu UG HipHop Awards 2017[12]
- Omuwanguzi w'omuwandiisi w'ennyimba ow'omwaka mu za MTN UG HipHop Awards 2019
- Yalondebwa okwetaba mu Teeniez Hottest Hip hop song mu Buzz Teens awards, 2014.[13]
- Yalondebwa okwetaba mu Ky'omuyimbi wa Luga flow asinze mu Bayimbi abato mu za Rising Star awards.[14]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-03. Retrieved 2024-09-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 2.0 2.1 http://startjournal.org/2013/03/st-nelly-sade-luga-flo-lyricist-emcee-poet-and-thinker/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-04-21. Retrieved 2024-09-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://papashabani.wordpress.com/2014/10/01/some-shots-from-the-7th-bayimba-international-festival-of-the-arts/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Entertainment/LaBa-Arts-Festival-brings-art-to-the-streets/-/812796/2347488/-/148n3rkz/-/index.html
- ↑ http://www.reverbnation.com/nellysade
- ↑ http://uganda.spla.pro/es/ficha.persona.nelly-sade-st-nelly-sade.43577.html
- ↑ http://sashajustice.com/ugandas-st-nelly-sade-inspires-innovation-and-creativity-in-national-hip-hop-scene/
- ↑ http://www.africanhiphop.com/luga-flow-army-ejje-lyo/
- ↑ http://bigeye.ug/music-review-nva-ntinda-st-nelly-sade/
- ↑ http://news.ugo.co.ug/rapper-saint-nellysades-debut-album-sells-out-2/
- ↑ https://www.nuveylive.org/2017-ug-hip-hop-awards-winners-full-list/
- ↑ http://www.observer.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=30765:-ntale-tops-buzz-teens-nominees&catid=42:sizzling-entertainment&Itemid=74
- ↑ http://bigeye.ug/rising-star-awards-rsa-nominees-announced/