Omuyimbi Beatrice Byenkya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Beatrice Nyakaisiki Byenkya Munnayugandan munnabyabufuzi nga akola nga Akulembera Akakiiko akakulira Eby'ettaka mu Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 18 Ogwokuna gwa 2019. Okulondebwa kuno kwalina okukakasibwa Paalamenti ya Uganda.[1]

Obuto bwe n'emirimu[kyusa | edit source]

Byenkya gyebuvuddeko yeeyali akola Ng'akiikirira Abakyala ba Disitulikiti ya Hoima mu paalamenti mu paalamenti eyomusanvu (2001–2006) era ne mu yoomunaana (2006–2011). Yafiirwa ekifo kye mu kusunsulwamu abeesimbyewo okwali mu kibiina kya National Resistance Movement mu kalulu ka 2016 era yawangulwa Mmemba wa paaalamenti Omukyala owa Disitulikiti ya Hoima ayitibwa, Tophace Byagira Kaahwa.[2] Mu Paalamenti eyomusanvu, yoomu kwabo abatono abaagaana okukwata obukadde obutaano obwa Uganda (bukunukkiriza Ddoola za America enkumi bbiri . US$2,000 mu biseera ebyo) ezaweebwa buli Mmemba wa Paalamenti okubagulirira okukkiriza okukwata mu ssemateeka ku myaka gy'omukulembeze w'eggwanga wamu nookugyawo ekkomo ku myaka egy'okufuga.[3]

Okulondebwa kwe okukulira akakiiko akakulira Eby'ettaka mu ggwanga kwajja mu kaseera nga akakiiko kalimu obutakkanya omwali emisango mu kkooti nga gyali ku (a) kugoba bantu ku ttaka, (b) okugingirira ebyapa, (c) abagagga okwesenza ku ttaka, (d) n'enguzi eyitiridde. Mu 2018, Omulamuzi Catherine Bamugemereire nga ali ku kakiiko akeebuuzibwako ku by'ettaka yalagira okusibwa kw'abamu ku baakakiiko kano nga yava ku kulumirizibwa okwali ku kuvumaganya ebifo byabwe, wamu noobutakola buvunaanyizibwa bwabwe noobuli bw'enguzi.[1]

Bweyagenda ku kakiiko kano, yasikira Baguma Isoke, eyali Minisita W'ebyettaka mu Kkabineeti ya Uganda, era nga yeeyali Ssentebe okuva mu 2013 okutuusa 2019.[4]

Ebirala ebimwogeddwako[kyusa | edit source]

Mu 2012, omukulembeze W'eggwanga Yoweri Museveni yamulonda okubeera ku kakiiko akakola ku nsonga ezifuga Abantu abayingira eggwanga wamu naabatuuze.[3]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Ebibanja ebirala[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 https://www.spyuganda.com/president-museveni-drops-isoke-appoints-byenkya-as-new-ulc-boss/
  2. https://ugandaradionetwork.com/story/hoimas-beatrice-byenkya-discards-poll-results
  3. 3.0 3.1 https://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-drops-Isoke-appoints--Byenkya-new-land-boss/688334-5078600-xoaks4z/index.html
  4. https://web.archive.org/web/20190419181304/https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1498857/museveni-appoints-mp-byenkya-ulc-boss