Jump to content

Omuzira Omusiru

Bisangiddwa ku Wikipedia
Mad Ice
Amannya g'obuzaale Ahmed Mohamed Kakoyi
Gyebaamuzaalira n'enaku z'omwezi ssaako n'omwaka Nga 8 omwezi ogw'ekumi mu mwaka gwa 1980, ng'alina emyaka 40

Masaka, Uganda

Ensibuko ye Muyimbi omunayiganda asinziira mu Tanzania oluvannyuma n'agenda mu Finland
Ekika kya muziki gw'ayimba Raggamuffin, Afro-pop, Afro-soul, world music
Omulimu g'wakola Omuyimbi, awandiika nyimba, n'okukuba ebivuga
Ebyuma by'akozesa Vocals, guitar
Emyaka gy'amazze ng'ayimba Okuva mu 1999 n'okutuuka kati.
Kampuni z'abaddemu ng'ayimba Kokwa Records, Tanzania

Mwamba Records, Finland

Edel Records, Finland

Recordhouse Music, Finland
Omukutu www.madice.net

Ahmed Mohamed Kakoyi Yazaalibwa mu Masaka mu Uganda mu mwezi ogw'ekumi mu mwaka gwa 1980, ng'asinga kumannyikwa nga Mad Ice, munayuganda omuyimbi ng'ate awandiika n'enyimba ow'ekika kya Raggamuffin nga oluvannyuma ku siteegi ng'akuba ne muziki ekika kya Afro-pop ne Afro-soul. Yafuna obumannyifu mu Uganda, Tanzania ne mu buvanjuba bwa Afrika,oluvannyuma n'afuna obutuuze mu ggwanga lya Finland nga yakulakulanya ekisaawe ky'okuyimba munsi ng'ayimba mu luswayiri n'oluganda ng'atabikamu n'oluzungu. Esira ng'olitadde ku muyimbi w'ensi yonna eyava mu bunvanjuba bwa Afrika, abaddeko mu bivulu nga jazz, world music, pop, rock ne fusion festivals, n'afulumya entaambi mu situdiyi nga Baby Gal, Mad Ice ne Maneno ne EP Maisha.

By'akoze

[kyusa | edit source]

Mad Ice yazalibwa nga 8 omwezi ogw'okumi mu mwaka gwa 1980 mu Masaka gyeyava okugenda e Kampala ng'alina omwaka gumu. Ku myaka 7, faimire ye yagenda Tanzania oluvannyuma neekomawo mu Uganda ng'alina emyaka 10. Muziki gweyasooka okwenyigiramu yali Dancehall/Ragga Muffin mu Uganda okutandikira mu mwaka gwa 1995. Mu 1999 ng'alina emyaka 19, yatwalibwa n'addayo e Mwanza, Tanzania gyeyava oluvannyuma n'agenda e Dar es Salaam okufuna emirimu gy'akola egisingako nga ng'omwogerezi w'okumikolo 'MC' n'okuyimba ku mikolo egy'enjawulo n'ensisinkano. Mu myaka gye egisinga mu Tanzania, yatendekebwa n'abangulwa omuyimbi okuva mu Canada Corry Morriarty n'omu Tanzanian Richard Mloka, n'ayiga n'okukuba endongo.[1] Yasikirizibwa nadala mu myaka gya 1990 ebivuga by'e Caribbean ebya Chaka Demus & Pliers, Shaggy n'abalala, oluyimba lwe lweyasooka okukwata baali baluyita "Wanadamu" nga baalukuba nnyi ku mikutu egy'enjawulo kuba lwali lwatutumu mu Tanzania. Ng'asikiriziddwa obuwanguzi bweyali atuseeko yafulumya oluyimba olulala lwebayita "Baby Gal" olwayitimuka mu buvanjuba bwa Afrika yonna. Olutaambi lwe olwasooka baali baluyita Baby Gal baalufulumya mu mwaka gwa 2003[2] nga kwekuli n'okweyongerako obuwanguzi. Ng'ayogerako eri abaali bamusoya ebibuuzo yagamba nti '' nazaalibwa mu Uganda, naye ng'emyaka egisinga nagimala mu Tanzania, ng'eyo obulamu bwange mu kuyimba gyebwatandikira ng'omuyimbi. Okuva lwenatandika okuyimba nali nyimba mu lulimi luswayiri, ekyaletera abasinga okubeera nga bampita omu Tanzania".[3]Olutaambi lwa 2003 lwafulumizibwa mu Tanzania album was produced in Tanzania nga kyakolebwa Finnish record asinziira mu Tanzania gwebayita Miikka "Mwamba" Kari. Kyalimu ebika eby'enjawulo okuli, soca beats, African rhythms, nga mulimu n'engeri ya Ragga, Soul ne Pop, n'enyimba endala eziri mu lulimi oluswayiri oluganda wamu n'oluzungu.[1]

Mu 2004, Miikka Mwamba Kari yadayo mu Finland, yayaniriza Mad Ice okugenda e Finland gyeyateera omukono kundagaano ya myaka esatu ne kampuni ya Miikka eya Mwamba Records. Ng'abeera mu kibuga Helsinki ng'afulumya ennyimba naye, yakola ku kugoberera oluyimba lwe lwebayita Mad Ice lweyakwatira mu situdiyo eyitibwa Firelight mu mwaka gwa 2005 mu ggwanga lya Finland n'alufulumiza mu kampuni ya Mwamba Records ng'ali wamu ne kampuni ya Finnish Edel Records label okulusaasaanya mu bantu. Miikka Mwamba Kari afulumiza enyimba z'abayimbi okuva mu Afrika abawerako nga Inspector Haroun, Lady Jaydee, Chegge, Solid Ground Family, Dknob. Mad Ice yakola ebivulu mu Bulaaya nga biri wamu ne kyebayita "Scandinavian world music scene" ng'atongoza olutaambi lwe lupya. Ennyimba zze zaazannyibwa leediyo nnyingi mu Bulaaya ne kumikolo egy'enjawulo. Olutaambi lwe olupya kwaliko ennyimba endala enungi okuviira ddala ku ya Baby Gal nga mwemuli lwebayita "Baby Gal" nga kwekuli n'olupya lweyali yakafulumya lwebayita "Wange" nga lwaliko kunsengeka z'omu buvanjuba bwa Afrika nerutuuka mu namba emu mu Uganda ne Tanzania mu mwaka gwa 2005 ne 2006. Mad Ice yakozesa akakiksa kano okukola ekibiina ekyalimu abayimba nga Ziggy Dee ne Quina Lad. Ekibiina kino baali bakiyita "The Comrades" nga kyali kyakutubuula bayimbi okuva mu Uganda wabula nga basinziira mu Tanzania.[1] "Wange" yalondebwa emikutu gy'eby'empuliziganya egya Finnish nadala leediyo ya Power FM ekyamufuula omumannyifu ennyo mu ggwanga lya Finland.

Mu mwaka gwa 2006, yali atuuse ku buwanguzi n'oluyimba lwe lwebayita "Ni Wewe" nekimuletera okwetaba mu mpaka z'okuwandiika ennyimba ez'ensi yonna eza International Songwriting Competition (ISC) mu mwaka gwa 2007 ng'era yasobola n'okutuuka ku mutendera ogudirira ogw'akamalirizo ku mutendera gwa muziki w'ensi yonna n'oluyimba lwe lwebayita "Nionyeshe Njia".[4] Abaddeko mu mawanga ga buvanjuba bwa Afrika okunyweza enkolagana ye nabawagizi bbe nga wadde yali abeera Finland nga yeeyewandikira ennyimba zze zonna ng'akozesa olulimi oluswayiri n'oluganda ebiseera ebisinga.

Olutaambi lwe olwaddako baali baluyita Maneno mu mwaka gwa 2007 nga lwalimu ennyimba eziwerako mu myaka egyaddako nga "Wange", "Malaika" ne "Nionyeshe njia" nga lwafulumizibwa mu kampuni ya Finnish Recordhouse Music label nekumukutu gwa MadStylee.com online.[5]

Mu mwaka gwa 2011, Mad Ice yafulumya oluyimba lwe olwa EP lwebayita Maisha.[6] Lweyalikoodingira mu situdiyo ya Finnvox, n'erufulumizibwa Oona Kapari, kyali kinene nnyo okuva mu bikozeseba ebyasooka okugenda mu bivuga ebikuba nga bigenda mpola era nga bikwata ku mwoyo. EP eno yaviirako okufulumya oluyimba lwebayita "Maisha", "Te Amo" n'oluyimba olwakwata abantu omubabiro lwebayita "Mapenzi Sumu" nga lwawerekerwa vidiyo y'oluyimba eyakwatibwa era neeragirirwa Joseph Bitar mu kibuga kya Helsinki ekya Finland mu mwezi ogw'omusanvu mu mwaka gwa 2011.

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Yagenda mu ggwanga lya Finland mu mwaka gwa 2004 ng'ayagala kutongoza nnyimbazze, n'asaba obutuuze obw'enkalakalira mu 2006. Yawasa Niina, omukyala enzaalwa za Finland ng'abafumbo bano balina abaana babiri bombi[3]. Mad Ice alina omwana ow'obuwala okuva w'eyali muganzi we mu Tanzania.[7]




Ennyimba zze

Obutaambu bwe

[kyusa | edit source]
Title Album details Notes
Baby Gal Yalufulumya mu mwaka gwa 2003

Mu kampuni ya Kokwa Records e Tanzania. Nga luli ku kayinja oba CD

Mad Ice Yalufulumya mu mwaka gwa 2007.

Mu kampuni ya Mwamba Records ne Edel Records mu ggwanga lya Finland. Ngaluli ku kayinja oba ku CD.

Maneno Yalufulumya mu mwaka gwa 2007.

Mu kampuni ya Recordhouse music ne MadStylee.com mu ggwanga lya Finland. Nga luli ku kayinja oba CD, ng'osobola n'okuligya kumitimbagano gya yitaneeti.

 

Obutaambi by'afulumiza
Title Album details Notes
Best of Mad Ice, Vol. 1 Yalufulumya mu mwezi ogw'ekumineebiri mu mwaka gwa 2012.

Kampuni Nga luli ku kayinja oba CD

Omutemwa gweyalina okugabanako

[kyusa | edit source]
Erinya Ebikwata ku lutaambi Ebiruliko
Maisha EP Lwafulumizibwa mu mwaka gwa 2011

Mu kampuni ya Recordhouse music mu ggwanga lya Finland Ngaluli ku kayinja oba CD, ng'osobola n'okulugya ku mitimbagano gya yintaneeti.

 

Enyimba

[kyusa | edit source]
  • 2006: "Baby Gal"
  • 2007: "Wange"
  • 2007: "Malaika"
  • 2010: "Ready for Dis"
  • 2012: "Ninatamani" (ng'ali ne Miikka Mwamba)
  • 2012: "Te Amo"
  • 2012: "Mapenzi Sumu"
  • 2013: "Faith"
  1. 1.0 1.1 1.2 http://www.musicuganda.com/Mad%20Ice.htmlMusic Uganda – Mad Ice biography
  2. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bongoexclusivetv.com/2018/12/mad-ice-baby-gal-mp3-download.html
  3. 3.0 3.1 "FlyingBlue: Mad Ice brings African vibes and rhythms from East Africa to Europe". Archived from the original on 2013-12-27. Retrieved 2022-11-29.
  4. http://ourmusiq.com/mad-ice-his-journey-to-hollywood/1026/m.aspxOurMusiq: Mad Ice – His Journey To Hollywood
  5. http://www.airplaydirect.com/music/MadIce/AirplayDirect: Mad Ice
  6. https://web.archive.org/web/20131227071449/http://www.flyingblueclubafrica.fr/partager/c-est-fantastique/mad-ice-apporte-les-vibrations-et-rythmes-dafrique-orientale-jusquen-europeMad Ice: En tête de son quatrième album Maisha Template:Webarchive Template:In lang
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2014-03-08. Retrieved 2022-11-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)