Jump to content

Otema Allimadi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Erifasi Otema Allimadi (11 ogw'okubiri 1929 – 5 ogw'omunaana 2001) yali munnabyabufuzi omunayuganda eyaweereza nga minisita w'eggwanga ow'ebweru (1979–1980)mu gavumenti ya UNLF era oluvannyuma yaweereza nga Katikkiro wa Uganda owookusatu (1980–1985) mu gavumenti ya .[1]

Oluvannyuma lwokujjawo omulembe ogwo,yatabaala amawanga nga tannadda mu Uganda .[2]

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Mu gavumenti ya pulezidenti Godfrey Binaisa okuva Juni 20, 1979 okutuuka Meeyi 11, 1980yali minisita w'ensonga za wabweru w'eggwanga . Oluvannyuma lwokukyusa gavumenti za Paulo Muwangane ba memba abasatu abakakiiko ka pulezidenti, awo yalondebwa pulezidenti omuggya Milton Obote okubeera Katikkiro mu Decemba 18, 1980. Yakuuma owfiisi eyo okutuusa okugwa kwa Obote okwaleetebwa Lieutenant General Bazilio Olara Okello mu Julayi 27, 1985.[3]

Allimadi yalina abaana 17 . Muwalawe Barbara yali mulwanirizi wa ddembe era yali akwatagana ne Alliance for National Transformation.[4]

References

[kyusa | edit source]

Template:Start box

Template:S-off Template:Succession box Template:End boxTemplate:UgandaPMsLua error: Invalid configuration file.