Oyenbot
Gladys Oyenbot Munnayuganda, muzannyi w'amizannyo, muyimbi ate pulodyusa omutendeke ng'amanyiikiddwa n'elinnya elisooka nga Oyenbot. Amanyikiddwa lw'okuzannya nga Dorotia mu filimu ya Mpeke Town (2018), era nga Beatrice mu kazannyo akawangula awaadi aka Yat Madit Yat Madit (2016). Mu 2020 yazanya mu firimu eziwerako nga The Girl in the Yellow Jumper, mu firimu y'amateeka eya Kafa Coh, Family Tree, ne Down Hill.[1] Era yalina ebifo by'eyazanyiramu mu firimu y'omukwano eya Love Makanika (2015) nga yawandiikibwa Dilman Dila, Reflections (2018) nga yawandiikibwa Nana Kagga ne 5 @Home(2017) eyalgirwa ku Fox Life Africa. Emirimu gye emirala gyeyakola mulimu Haunted Soul (2013), Day 256(2017), Communion(2018), King of Darkness (2015), ne Kyenvu (2018) firimu enyimpi eyawangula awaadi eziwerako nga yafulumizibwa wamu ne Hedwyn Kyambadde.[2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Mu 2016 Oyenbot yazannya nga Beatrice, maama era omukyala eyatulugunyizibwa mu kazannyo k'obutundu aka Yat Madit akalagibwa ku NTV Uganda.[3]
Era yazannya nga Amanda, omukyala atakkiririza olw'obaganzi be ab'edda nga yayagalana n'omusajja omufumbo, era omwana we atannazalibwa nga kano kagenda kulagibwa ku Nana Kagga akatuumibwa Reflections.
Oyenbot yazanya mu firimu Mira Nair Walt Disney movie Queen of Katwe ng'omutunzi w'edduuka. Yazannya nga atulidde mu kifo kya Lupita Nyong'os mu firimu.[4][5]
Oyenbot yetabye mu firimu eziwerako. Amanyikiddwa olw'ebyo byeyakola mu muzannyo gwa Matei Vișniec, "The Body of a Woman as a Battlefield in the Bosnian War"; omuzannyo ogw'adayilekitingibwa Aida Mbowa -nga gwali gulaga okulwanyisa okutabangulwa mu bwongo;[6] n'omuzannyo ogumanyikiddwa oguytibwa Heaven's Gates, Hell's Flames, Restore Tour: Child Soldier No More, and the KAD’s adaption of William Shakespeare's Much Ado About Nothing,[7] the tragedy of Macbeth ne Charles Dickens Oliver Twist. Era yazannya mu Silent Voices: omuzannyo ogulaga eby'ava mu lutalo lw'Obukiikakkono bwa Uganda.
Oyenbot alina Diguli mu kuzannya katemba okuva ku Ssettendekero wa Makerere. Era y'azannya ne mu mizannyo gya telefayina ne lediyo nga "Rock point 256" ne "Mako-Mere".[8]
Yali mu Watoto Children's Choir nga yali kalabalaaba w'abaana saako n'okuzannya n'abo nga bali mu kulambula.
Filimu ze y'azannya
[kyusa | edit source]Ng'omuzaanyi
[kyusa | edit source]Filimu ne telefayina
[kyusa | edit source]Omwaka | Elinnya | Kye y'azannya | Dayilekita | Kampuni eyagifulumya | Eby'awandiikibwa |
---|---|---|---|---|---|
2022 | Boy No Fear | Omusamize | Jonathan Curtis | ||
I Eat What I Like | Hellen | Shari | |||
KeyCard | Shamila | Douglas Dubois Sebamala | Sebamala Arts | ||
Vanilla | Miriam | ||||
2021 | Black Glove | Shamila | Angella Emurwon | Sebamala Arts | Yawandiikibwa era n'efulumizibwa Douglas Dubois Sebamala |
2020 | The Girl in the Yellow Jumper | Vicky | Loukman Ali | Produced at Loukout Films by Morocco Omari, Ntare Mwine, Suubi Elvis | Yasaasanyizibwa aba Netflix |
2019 | The Reporter | Nekesa | Sharpe Sewali | Filimu y'obutundu eragibwa ku Tv | |
Family Tree | Theresa | Nicole Nabugabo | Filimu ennyimpi | ||
2018 | Reflections | Amanda | Nana Kagga | Savana Moon production | Obuzannyo obulagibwa ku TV |
Kaffa-coh | Kisaka | Gilbert Lukalia | Amani House production | Feature Film | |
Mpeke Town | Dorotia | Shani Grewal | Mediae Production | Obuzannyo obulagibwa ku TV | |
2017 | 256 | Midwife | Stella Namatovu | Boda Boda production | Filimu ennyimpi |
Communion | Gashanga | Patience Nitumwesiga | Shagikatales | Filimu ennyimpi | |
2016 | Yat Madit | Beatrice | Irene Kulabako | Trivision | Yawangula awaadi ssatu |
Queen of Katwe | Shopkeeper/Stand in double | Mira Nair | Walt Disney Studios | Feature Film | |
The Bag | Mukyala Mulokole | Douglas Kasule Benda | Filimu ennyimpi ey'addamu okufulumizibwa | ||
2015 | 5 @Home | co-star | Llyod Lutara | Fast Track production | ku Fox Life Africa |
2013 | Haunted Souls | Aciru | Godwin Otwoma | Artling Production | Filimu ennyimpi |
Theatre
[kyusa | edit source]Omwaka | Elinnya | Ekifo ky'eyazannya | Dayilekita |
---|---|---|---|
2017 | Hustle Box | Muyizi | Rehema Nanfuka |
2016 | Ga-ad | Toto, omukyala omukadde, muyimbi | Adong L Judith |
Heaven's Gates, Hell's Flames | Omuwala ey'ayononeka | Sheila K Tugume | |
2015 | The Body of a Woman as a Battlefield in the Bosnian War | Dora n'abalala | Benoit Vitae and Bogdan Palie |
2014 | Desperate to Fight[9] | Marta | Aida Mbowa |
Much Ado About Nothing | Hero | Peter Wiedmann and Nathalie | |
2013 | Macbeth | Omulogo | Tom Adlam and Angela Emuron |
Beautiful Africa | As self, omuyimbi | MercyRose Ssendegeya | |
2012 | Silent Voices | Margret | Denis Hilton |
Oliver Twist | Charlotte, maama wa Oliver | Trudy Mcgilvry | |
Heaven's Gates, Hell's Flames | Omwana ey'ayononeka | Sheila K Tugume | |
2010 | Restore Tour | Maama, omwana eyawambibwa | Dawn Stride |
Obuzannyo bw'okuladiyo
[kyusa | edit source]Omwaka | Elinnya | Ky'eyazannya | Dayilekita | Kkampuni | Ebyawandiikibwa |
---|---|---|---|---|---|
2010 | Mako-Mere | Catherine Achieng | Achiro P Olwoch | Attiku Films | Amaloboozi agakozesebwa mu buzannyo bwa lediiyo |
2006 | Rock Point 256 | Rebecca | Asiimwe Deborah | Straight Talk | Amaloboozi agakozesebwa mu buzannyo bwa lediiyo |
Nga Pulodyusa
[kyusa | edit source]Omwaka | Omukolo | Dayilekita | Eby'awandiikibwa |
---|---|---|---|
2018 | Kyenvu | Kemiyondo Coutinho | Filimu ennyimpi |
2017 | Ebikujjuko by'ennyimba ebitaba ensi yonna ebya Nyege Nyege | Poppy Spowage | Ebikujjuko by'ennyimba |
Awaadi n'empaka ze y'etabamu
[kyusa | edit source]Omwaka | Awaadi | Ettuluba | Emirimu | Eby'avaamu |
---|---|---|---|---|
2022 | Biff International Film Ffestival | Omuzannyi asinga | Vanilla | |
Crown International Film Ffestival | Omuzannyi asinga | Vanilla | ||
SOFIE Awards | Omuzannyi asinga mu kuyamba abazannyi abalala | KeyCard |
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-04-11. Retrieved 2024-04-16.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-10-18. Retrieved 2024-04-16.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://web.archive.org/web/20170825150322/http://chimpreports.com/entertainment/photos-glamour-as-yat-madit-tv-drama-series-premieres/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Oyenbot-played-Lupita-s-double/689842-3944772-cvo57hz/index.html
- ↑ http://allafrica.com/stories/201705290621.html
- ↑ https://bakwamagazine.com/2014/12/07/private-desire-in-the-public-domain-at-the-kampala-international-theatre-festival/
- ↑ https://tsupug.blogspot.ug/2014/10/shakespeares-epic-comedy-to-grace.html?m=0
- ↑ https://kampalainternationaltheatrefestival.com/gladys-oyenbot/
- ↑ http://www.ubumuntuartsfestival.com/Festivals/Ubumuntu-2015/2015-s-Performances/Desperate-to-Fight-Ethiopia-Uganda
Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- Oyenbot at IMDb
- Website