Jump to content

Pamela Nasiyo Kamugo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Pamela Nasiyo Kamugo yazaalibwa nga 23 Ogwokutaano mu 1984[1] nga Munayuganda akola ogw'okuyamba abantu abalina ebizibu ebitali bimu nga kuno kwateeka n'okubeera ku kakiiko akakola amateeka. Wabula mu Gwokuna mu 2020, yawereza ng'omukyala omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti ya Budaka mu Paalamenti ya Uganda eyekumi.[2][1][3] Yalina akakwate ku kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda ekya National Resistance Movement,[4][5] ekikulemberwa Yoweri Museveni, pulezidenti w'eggwanga[6][7]

Okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Pamela Nasiyo yatandika okusoma kwe okwa pulayimale ku Kamonkoli mixed primary school gyeyatuulira ebibuuzo bye ebya P7 mu 1996. Oluvannyua yagenda ku St. Johns Secondary School e Ntebetebe mu Kampala gyeyafunira ebaluwa ya S4 mu 2000 n'eya S6 mu 2003. Oluvannyuma n'agenda ku Uganda Christian University gyeyatikirwa ne Diguli mu by'okumannya n'okudukanya ensonga z'abantu n'ebintu mu 2007.[1]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Nga tanaba kwegata ku byabufuzi, Kamugo yali akola ku byansonga z'abantu mu Disitulikiti y'e Mbale.[1]

Mu 2016, yavuganya era n'awangula entebbe y'omubaka omukyala mu Paalamenti ng'akiikirira Disitulikiti ya Budaka, n'adira Sarah Kataike Ndoboli, eyaliko minisita omubeezi owa Luwero Triangle.[8][9] Mu Paalamenti eyekumi yali awereza nga ssentebe w'ekibiina Ekigatta Abakyala mu Paalamenti.[10][11][12][13] Y'omu kubali ku kakiiko akalwanyiza ekirwadde kya mukenenya n'eddwadde endala, nga kuno kwekuli n'ebyokwerinda wamu n'ensonga z'omunda mu ggwanga.[1][14]

Mu 2017, yakwatibwa ng'ali wamu nebane abalala basatu webali ku kakiiko akakola amateeka nga babavunaana okukunga abantu okwegugunga olw'embeera embi oluguudo lwa Mbale-Tirinyi-Kampala gyerwalimu.[15]

Mu 2019, yaleeta omulamwa ogwavirako okuyitibwa kw'omubaka wa Uganda mu ggwanga lya Burundi nga bamulanga kuyisa bubi omusirikale omukyala akola kuluguudo.[16][17]

Nga omubaka wa Paalamenti, Pamela Nasiyo yeenyigidde mu bwegugungo obw'enjawulo nga bulwanirira okulaba ng'abantu ba wansi babeera mu mbeera enungi era eyeyagaza, nga kuno kwekwali n'okwekalakaasa olw'embeera embi oluguudo lwa Tirinyi gyerwalimu, nga luno lugatta Disitulikiti nnya mu Buvanjuba bwa Uganda.[18] Yayisa n'ekiteeso mu Paalamenti eky'okuyitayo Major-General Matayo Kyaligonza okuva mu kifo kye ng'a Omubaka wa Burundi olw'okulumya omukyala omusirikale akola ku luguudo eyali kumulimu gwe.[19]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=117
  2. https://www.monitor.co.ug/News/National/Minister-cautions-Budaka-youth-on-People-Power/688334-5146328-c87ir5/index.html
  3. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/kamugo-pamela-nasiyo-10140/
  4. http://ugandaradionetwork.com/story/mp-ndobolis-u-turn-surprises-voters
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2024-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1512423/museveni-summons-nrm-leaders-national-conference
  7. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/5b90cbb5-0d68-4aa8-81d5-1304da8be75c/
  8. https://www.monitor.co.ug/News/National/Minister-loses-NRM-election--stoned-by-mob/688334-2877050-3iv6ak/index.html
  9. http://parliamentwatch.ug/mps/page/4/
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-06. Retrieved 2024-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. https://www.youtube.com/watch?v=33em41oFbK4
  12. http://www.uwopa.or.ug/news/uwopa-elects-new-executive-11th-parliament-uganda
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-04. Retrieved 2024-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. https://www.parliament.go.ug/committee/2731/hivaids-committee
  15. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1461000/mps-arrested-demostration-poor-road
  16. https://observer.ug/news/headlines/59992-mps-resolve-to-recall-ambassador-kyaligonza-from-burundi
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2019-02-28. Retrieved 2021-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1461000/mps-arrested-demostration-poor-road
  19. https://observer.ug/news/headlines/59992-mps-resolve-to-recall-ambassador-kyaligonza-from-burundi

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | edit source]