Patience Nkunda Kinshaba

Bisangiddwa ku Wikipedia

Patience Nkunda Kinshaba nga batera ku liwandiika nga Patience Kinshaba Nkunda munabyabufuzi Omunayuganda, ali ne kukakiiko akakola amateeka, ng'ate mubaka wa Paalamenti Omukyala akiikirira Disitulikiti ya Kanungu mu Paalamenti ya Uganda eyekumineemu.[1][2][3][4] Alina akakwate ku kibiina kya National Resistance Movement (NRM)[2][1][5]

Mu Paalamenti eyekumineemu, Kinshaba yali awereza ku kakiiko akavunaanyizibwa kunsonga z'ebweru W'eggwanga.[6]

Emirimu gye mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Kinshaba yawangula akalulu ka NRM ak'okusunsula bweyasinga Elizabeth Karungi era n'akwatira ekibiina kino bendera mu kulonda kwa bonna okwa 2021.[7][8] Yawangula eky'omubaka wa Paalamenti omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti y'e Kanungu.

Kinshaba yawaayo ekiteeso mu Paalamenti ya Uganda eyali etudde nga ayagala gavumenti ya Uganda okuwa Banayuganda abaalina obulwadde bwa sukaali ne puleesa eddala. Wabula abakola amateeka mu Uganda kyabakwatako nnyo olw'ebeeyi ly'eddagala lino ery'obulwadde obutasaasanyizibwa nga buyita mu bantu kuba lyali lyabeeyi nebasaba gavumenti okugaba eddala lino ku bwereere olw'okubeera nga lyali tono mu bifo abantu webayinza okuligya.[9] Ekiteeso kya Kinshaba kyawagirwa Omubaka wa Paalamenti owa Munisipaali ya Tororo Apollo Yeri eyasaba Gavumenti okukikola ng'eyita mu kitongole kyayo ekikola mu by'okutereka eddagala ekya National Medical Stores (NMS), okuligaba ku bweereere.[9]

Kinshaba yasaba gavumenti ya Uganda okukeberera kubweereere wamu n'okuwa obujanjabi eri obulwadde obuvirako omuntu okubeera muzimbe nga takyalaba, okukebera omusaayi okukakanya endawadde ez'enjawulo, wamu n'okukebera obubonero bwonna obwekuusa ku sukaali wamu n'obwensigo, n'okugijanjaba.[10][9]

Kinshaba yasaba gavumeenti ya Uganda okufunira abantu ba Disitulikiti y'e Kanungu ebikozesebwa mu by'obulamu mu ddwaliro lyabwe erya health centre IV eryali likolera ku genereeta emu wabula nga nayo teyeesigwa[11]

Kinshaba yeetaba ku mukolo ogumu ogwali ogw'okugabirako emmotoka ezitambuza abalwadde (ambyulaansi) ezaali ziweebwa eddwaliro lya Bwindi Community Hospital mu Disitulikiti y'e Kanungu nga kino kyakolebwa abajapaani nga bayita mu kitongole kyabwe ekya Japanese Grant Assistance for Grassroots Projects ekigaba ssente okuyamba pulojekiti ezitandikibwaako.[12]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 https://www.newvision.co.ug/articledetails/102763
  2. 2.0 2.1 https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/kinshaba-patience-nkunda-10352/
  3. https://mulengeranews.com/excitement-as-nrm-ponders-another-kyankwanzi-meet/
  4. https://pearlpost.co.ug/news/politics/list-of-winners-and-losers-of-2021-member-of-parliament-elections/
  5. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/kinshaba-patience-nkunda-10352/
  6. https://parliamentwatch.ug/committees/committee-on-foreign-affairs/
  7. https://chimpreports.com/mp-elizabeth-karungi-defeated-by-nkunda-in-kanungu-nrm-primaries/
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-28. Retrieved 2022-09-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. 9.0 9.1 9.2 https://kampalapost.com/index.php/content/parliament-wants-free-drugs-diabetic-people
  10. https://www.independent.co.ug/auditor-general-tasked-to-carry-out-forensic-audit-into-covid-19-expenditures/
  11. https://allafrica.com/stories/202109030473.html
  12. https://uelresins.com/ugandanews/archives/9110