Patricia Akello

Bisangiddwa ku Wikipedia

Patricia Akello, era Tricia Akello, munayuganda eyakukuguka mu kwolesa emisono, mu kiseera kino akola ne kampuni eya Muse Model Management mu kibuga New York. Yatambula mu 2017 New York Fashion Week, mu Ogw'omwenda, ng'akola ku brand ya Bottega Veneta era yalabikira ku magaziini y'akatabo Women's Wear Daily.

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Akello yazaalibwa mu ddwaliro elye Nsambya mu Uganda ekibuga Kampala, mu 1992. Maama we, Santa To-kema ne kitaawe Patrick To-kema, bombi ensibuko yabwe eri mu disitulikiti eye Pader, mu bitundu bye Acholi mu bitundu eby'omu mambuka ga Uganda. Yasomera ku ABC Nursery School, n'oluvannyuma n'agenda mu ABC Pulayimale School. Oluvannyuma yagenda mu Comprehensive College Kitetika, mu disitulikiti eye Wakiso, ku madaala aga O ne A-Level, n'amaliriza mu 2010.[1]

Emirimu[kyusa | edit source]

Mu 2011, ng'amaze okufuluma mu ssomero lya siniya, yatandikirawo okunoonya ekitongole eky'olesa emisono okumuwa omulimu,ng'alemeredwa okufuna abamutwala. Mu 2014 Akello yasisinkana Aamito Stacie Lagum, munayuganda omwolesi w'emisono omulala, eyali yakadda okuva mu kafubo ebweru w'eggwanga. Aamito yayita Akello ku kabaga ak'okwaniriza abagya akaali kategekeddwa. Aamito yayunga Akello ne Joram Job Muzira, Aamitoo mu kiseera ekyo eyali maneja, eyamuwandiisa wansi wa Joram Model Management Agency. Akello yatandika okukola era n'ayolesa emisono mu 2014 Kampala Fashion Week. Mu wiiki eyo, yayolesa emisono egy'abasonyi Gloria Wavamunno ne Sylivia Owori.

Oluvannyuma lw'omukolo ogwali mu Kampala, omubaka we yamutegeeza ku mwolesi w'emisono eyali ayagala okumuwandiisa mu kitongole ky'aboolesi b'emisono mu South Africa. Oluvannyuma lw'okukkiriza, Akello yatwalibwa e South Africa n'akola endagaano ne Fusion Models Agency, mu Cape Town, ku ndagaano y'emyaaka esatu. Ng'asinziira ku ndagaano eyo, yagenda mu Mercedes-Benz Fashion Week, mu Berlin, mu 2015 ne 2016.

Omulimu gwe mu Kibuga New York[kyusa | edit source]

Mu Ogwomunaana 2016, Akello yava mu kibuga Cape Town n'adda mu Kibuga New York era n'atongozebwa ekitongole ekya Muse Model Management Agency, mu New York. Mu kiseera kye kimu yeegatta ku MP Management, mu Paris ne M4 Models Management, mu Germany. Mu kukubaganya ebirowoozo n'olupapula lw'amawulire olwa Daily Monitor, Akello yasanyuka nnyo ku ssuubi n'emikisa egyali gimwoolese. Atambula nsi ku nsi wakirimu bibuga musanvu ku zisemazinga ssatu (Afirika, Bulaaya ne North America), ng'akyalira eggwanga lye Uganda buli Ssekukkulu.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Two

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]