Jump to content

Patrick Amuriat

Bisangiddwa ku Wikipedia

Patrick Oboi Amuriat Munnayuganda, yinginiya,munnabyabufuzi era omu ku bammemba abaatandika ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) era yeesimbawo ku Bwapulezidenti mu kalulu ka January 2021 nga y'akikwatidde bendera. Yaliko omubaka mu Paalamenti ya Uganda okuva mu 2001 okutuuka mu 2016 era yaliko ssentebe w'obukiiko bwa Paalamenti obw'enjawulo era yali mmemba w'ekibiina kya Parliamentary Advocacy Forum, PAFO.[1][2]

Obuto bwe, okusoma kwe n'emirimu gye

[kyusa | edit source]

Amuriat yazaalibwa Soroti mu Buvanjuba bwa Uganda nga kitaawe ye Mzee John Amuriat ne nnyina ye Elizabeth Aciro Amuriat. Pulayimale ne Siniya yabisomera Soroti oluvannyuma ne yeegatta ku Makerere University gye yafuna ebbaluwa z'obuyigirize ez'enjawulo omuli dipuloma mu Busomesa eya diploma in education, kw'ossa Diguli[3] esooka mu n'eyookubiri mu kisaawe kya engineering. Yali yinginiya mu bitongole eby'enjawulo oluvannyuma n'afuuka omukozi wa Gavumenti nga yaliko yinginiya wa Disitulikiti y'e Kumi.

Olugendo lwe mu byobufuzi

[kyusa | edit source]

Amuriat yayingira mu byobufuzi mu 1994 era yasooka okwesimbawo mu kalulu k'omubaka mu Constituency Assembly(CA) aka 1994. Yalondebwa okubeera akulira kampeyini za era omuvvuunuzi wa omutongole ow'ebitundu by'e Teso ne Karamoja owa Paul Kawanga Ssemogerere eyali yeesimbyewo ku Bwapulezidenti mu kulonda kwa 1996. Yalondebwa n'afuuka omubaka mu Paalamenti ya Uganda mu 2001era nga yali akulira akakiiko k'ebya Saayansi ne Tekinologiya aka Science and Technology and Commissions Statutory Authorities and State Enterprises (COSASE).[3] Yali ku kakiiko K'emirimu N'ebyenguudo okutuuka mu 2016 lwe yalekulira Paalamenti. Mu 2015, mu kibiina kya FDC yalondebwa okubeera Chief National Field Coordinator nga yalondebwa Omukulu w'akyo Kizza Besigye. Amuriat era yalondebwa ku kifo Ky'akulira ekibiina kino mu ggwanga mu lukungaana lw'abakiise bakyo mu ggwanga olw'omusanvu nga 24 November 2017 nafuuka omukulembeze wakyo ow'okusatu.

Kkampeyini ze ku bwa Pulezidenti

[kyusa | edit source]

Amuriat yalangirira ekigegendererwa kye eky'okwesimbawo ku kifo kyo bwa Pulezidenti wa Yuganda mu Gw'omunaana 2020, yalangirira nti yali waakutandika kino oluvannyuma lw'ekibiina kya FDC okulemererwa okumatiza eyaali omukiise wakyo ku kifo kino Kizza Besigye okwesimbawo mu kalulu ka 2021. Amuriat yawangula tiketi y'ekibiina ey'okwesimbawo mu kalulu k'obwa Pulezidenti k'omwezi Gw'oluberyeberye lwa 2021. Yafuna obululu 337,589 (3.26) emabega wa Yoweri Museveni 6,042,898 (58.38%) eyawangula akalulu.[4] Yatuukirira Akakiiko mu Paalamenti Akakola ku Ddembe Ly'abantu nga annonyereza ku nsonga zoobukambwe n'amanyi mu kadde k'okulonda, yeemulugunya ku nsonga y'okumutiisatiisa era naaloopa nti yakwatibwa emirundi egisoba mw'ana mu myezi ebiri egya kkampeyini era nti yakubwa omu ku bakuumaddeembe ebikonde mu lubuto. Nga 11 Ogwoluberyeberye, nga wabula ennaku okutuuka ku kulonda okubaawo, Yasibwako nga anenyezebwa okumenya amateeka gookunguudo[5] oluvannyuma lw'omuvuzi we okuva ku kkubo mbagirawo naavigivugirako mu nsiko oluvannyuma nadda ku kkubo nga yeewala abaserikale ba ppoliisi abaali babalinze kubalemesa okugenda mu kkampeyini e Mpigi mu ttawuni .[6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]