Jump to content

Paul Hasule

Bisangiddwa ku Wikipedia

Paul Edwin Hasule yazalibwa nga 20 Ogw'okuminoogumu mu 1959 n'afa mu 26 Ogwokuna mu 2004, yali munayuganda eyaliko omuzannyi w'omupiira. Yaliko kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga lya Uganda n'agitendekako ng'eno emannyikiddwa nga "The Cranes". Ya'omu kubazannyi abaazimbibwa ku ttiimu y'eggwanga ng'era yaliko ng'omutendesi okumala emyaka 25. Paul Edwin Hasule yazalibwa mu 1959, John Haumba Kango ne Petwa e Murandu, Mbale Yyasikirizibwa omuteebi bweyali akyasomera ku Tororo College, ate oluvannyuma ku yuniuvasite y'e Makerere, kaali kaseera ke akatono ku Mbale Heroes m akaamufuula eky'amaguzi eky'amaanyi mu mupiira gwa Uganda.

Okwegata ku Villa

[kyusa | edit source]

Enkyuka kyuka yajja bweyeegata ku SC Villa mu Gwekuminoogumu mu 1981, nga kino kyagya olw'okubeera nga Heroes yasalibwak okuva mu kibinja kyababinywera nedayo wansi, nga yazannya omupiira gwe ogwasooka ku Villa bweyali ettunka ne Nile FC mu mpaka za 'Jesse Owens Cup' ezaali mu kisaawe ky'e Nakivubo mu 1981.

Bweyalina emyaka 22 yatuuka ku Villa Park ng'ali n'abasambi abaamanya okuva mu Cranes nga Jimmy Kirunda, Dan Lutalo, Godfrey Kisitu ne Fred Serwadda. Eyali omutendesi wa Villa, George Mukasa yazannyisa nga Hasule ku wiingi ya ddyo naye nga tamatiza kuba yakola nga bubi okutuusa bweyakyusibwa nebamuteeka mu makati ng'azannya ng'omuteebi.

Ng'akwatidde wakati w'olwazi n'ekifo ekikaluba, Hasule yasazaamu kyebaali bamusambisa n'akyusa ekifo mu kadde mpaawo kaaga oluvannyuma lw'okukubirizibwa Kirunda, ekyamuwaliriza okudda mu kifo ky'okuzibira.

Hasule yazannya ekitundu kinene nnyo mukulwanira ekikopo kya sizoni ya 1982, bweyateeba ggoolo ey'omugaso nga bawangula Masaka Union 2-1. Nga yali afuuka omuzibizi wa SC Villa gweyali yeesigamako, ng'agata obukodyo n'okugaba ng'alina enjala y'okulwana n'okulaba engeri y'okugyako omulabe omupiira. Engeri gyeyali akwatamu yali yamugaso. Yazannya ng'emabega kuludda lwa ddyo n'okwetoloola ekisaawe kyonna mu makati ng'akyali ku Villa Park.

Oluvannyuma lwa sizoni enungi mu 1982, Villa mweyawangulira liigi nga tekubiddwamu, eyali omutendesi wa ttiimu y'eggwanga Bidandi Ssali bweyamuteramu obwesige ng'omuzibizi eyali ku mutindo naugata ku Kirunda mu mipiira gya Cranes egisinga.

Mu 1982 Ogwomwenda, Hasule yateeba ggoolo ey'obuwanguzi webaali bawangula Tanzania 3-2 mu gw'okususnsula abagenda mu kikopo eky'etabwamu amawanga ga Afrika okusobola okuyitawo okugenda ku luzannya oluddako. Nga Kirunda, Hasule yali kafulu mu mizannyo gy'okuduka emisinde, ekyamuyamba okuteeba ggoolo eziwerako. Omupiira ogwayolesa obukugu bwa Hasule obw'okuduka ng'alina omupiira n'ayita ku mulabe gwali nga baznnya Algeria mu 1984 mu gwali ogw'okusunsula abagenda mu mizannyo gya Olympics.

Teyakoma ku kuteerawo Phillip Omondi ne Issa Sekatawa mipiira gyavamu ggoolo, yateeba ggoolo biri mu gwa 4-1 ogw'oluzannya olwali lusooka e Nakivubo.

Yeekolera erinya ng'omuzannyi w'omupiira ne ba kyampiyoni b'awaka aba SC Villa n'afuuka ensooga mu buwanguzi bwabwe wakati wa 1982 ne 1994. Hasule yali omu ku ttiimu ya SC Villa ey'amaanyi eyawangula ekikopo kya liigi y'ababinywera nga tekubiddwamu mupiira mu liigi ya babinywera eyasookera ddala mu 1982. Yakulemberako kiraabu eno neewangula ekikopo ekyetabwamu kiraabu eziva mu buvanjuba ne mu masekati ga Afrika mu 1987. Emirundi ebiri gyeyatwala SC Villa ku fayinolo z'okulukalo lwa Afrika mu mpaka za Africa Club Championship mu 1991 ne CAF Cup mu 1992. Yakulemberako Cranes ku kisaawe.

Mu 1988, Hasule yakwata mu ky'obwa kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga oluvannyuma lwa Latigo okuvaawo n'agenda e Girimaani. Omulimu gwe ogwali ogusooka gwajja mu 1989 mu mipiira gy'omukwano mu mpaka za 'Kuwait Friendship Games' nga muno Iraq mweyakubira Uganda ku fayinolo mukakodyo k'okusimulegana peneti. Wabula mu kaseera katagya kwerabira, Hasule yateeba ggoolo eyagulawo ey'eby'ewunyo bweyaduka n'omupiira nga tayimiriziddwa okuva mu yaadi 30.

Oluvannyuma lw'omwezi gumu, yali kukatuuti okukima ekikopo kya ky'empaka ez'etabibwamu amawanga okuva mu Buvanjuba ne mu masekati ga kyeyaliko neera mu 1990 nga Uganda ekola ekyo kyeyali tekola ngako. Wabula ebintu byakyuka mungeri gyeyali tasuubira mu 1991, ekibiina ekidukanya omupiira mu Uganda bwekyamunaabira mu maaso nekimuwera okumala omwaka oluvannyuma lw'okumusingiza omusango gw'okusindika ddiifiri Fred Wanyama mu mupiira gwa liigi nga bazannya UCI. Ekibonerezo kyagibwawo oluvannyuma lw'emyezi esatu.

Hasule yabaanukula ng'abeera ow'omugaso mu Villa eyatuuka ku fayinolo y'empaka za 'Africa Club Championships' ne fayinolo za 1992 eza Caf Cup, wabula nga mu zombi Jogoos baavaayo ngalo nsa.

Ng'omubiri gwe gutandise okukulirira n'okukadiwa, Hasule eyalina emyaka 33 yakulembera SC Villa ku buwanguzi bw'ekikopo kya liigi ya 1992, ekyakakasibwa okubeera ekikopo kye ekyali kisembayo ng'omuzannyi. Yali atawanyizibwa nnyo obuvune, ekiwero n'akikwasa William Nkemba, wabula ng'abazannyi abalungi, bonna webabeera Hasule yagenda nnyo wagulu bweyanyuka kunkomerero ya sizoni ya 1993.

Wabula yasigala emabega ng'omumyuka wa maneja wabula oluvannyuma yeeyongerayo mu maaso okutandika omulimu gw'obutendesi. Omusajja eyali ayogera ky'awulira ng'era ayagaliza buli omu, yafa nga 29 Gwokuna, mu 2004, ng'alina emyaka 45. Mu mbeera enungi, abawagizi baamutegekera esaala ezaali ku kisaawe ky'e Nakivubo.

Ow'erinya ku kiraabu ne Cranes afudde.


Yawumula ng'omuzannyi mu 1993 n'afuuka omumyuka w'omutendesi ate maneja wa ttiimu ya SC Villa. Yalekulira mu 1995 okutendeka State House, oluvannyuma Simba SC, wabula yakomawo mu SC Villa mu 1998 n'awangula ebikopo bibiri eby'omulundi ogw'okuna (ekya liigi ne kiraabu) mu byafaayo bya ttiimu eno. Oluvannyuma lw'okuwangula ebikop ebirala bibiri mu 2000, endagaano ya Hasule tebagiza bugya mu 2001 ekyamtwala okutendeka Police FC okutuusa bweyafa.

Ng'alina emyaka 44, yafiira mu ddwaliro ly'e Mulago mu 2004, okufaakwe kyaletawo okunyolwa okuva eri abo abaali bamukiririzaamu abamukungubagira nebakakasa nti aziikibwa bulungi mu bitiibwa, abaasasulira buli kimu ekyetagisibwa mu by'okuziika nga mwemuli n'okugula esaanduuke eyali ezingiddwa mu bendera y'eggwanga okulaga ekitiibwa kyebaali bamuwa.