Paul Ssemogerere (munnabyabufuzi)

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Paul Kawanga Ssemogerere (11 Ogwokubiri 1932 – 18 Ogwekkuminogumu 2022) munnabyabufuzi wa Uganda eyali omukulembeze w'ekibiina kya Democratic Party okumala emyaka 25, era omu ku bannabyabufuzi abaami mu Uganda okutuusa lw'eyawummula.[1][2]

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Ssemogerere yazalibwa nga 11 Ogw'okubiri 1932, mu masekkati Buganda (nga kaakano ye Disitulikiti y'e Kalangala) eya Uganda.[3] Yasomera ku St. Henry's College Kitovu mu ssekendule. Yafuna Dipuloma mu Busomesa okuva ku Yunivaasite eya Makerere University mu Kampala. Yasoma eby'obufuzi ne Pulogulaamu ya Gavumenti ku ssomero lya Allegheny College mu Meadville, Pennsylvania. Mu 1979 yafuna Diguli ye ey'okusatu eya Doctor of Philosophy (PhD) mu public administration okuva mu Syracuse University mu Syracuse, New York.[1]

Emirimu gye egy'eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Okuva 1961 okutuusa 1962 Ssemogerere yalondebwa nga Mmemba mu kakiiko akabaga amateeka mu Uganda, era oluvanyuma yalondebwa mu Paalamenti ya Uganda nga Mmemba wa Paalamenti ow'Obukiikakkono bwa Mengo Konsityuwensi. Mu 1972, yadda mu bigere bya Benedicto Kiwanuka ng'omukulembeze w'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya Democratic Party, oluvanyuma lw'okuweereza ng'omuwandiisi we mu Paalamenti.[2] Oluvanyuma lw'olutalo olw'omunsiko olwa 1971, Ssemogerere yagenda mu buwaŋŋanguse okutuusa mu 1979, nga yakomawo nga Minisita w'abakozi.[2]

Mu 1980, Paul Ssemogerere yawangula obukulembeze bw'ekibiina kya Democratic Party. Mu 1984, yaddau n'alondebwa wakati mu kusomozebwa kwa Okeny Atwoma.[4] Mu kwanukula kwa Okeny Atwoma oluvanyuma lw'okuwangulwa, Atwoma yatandikawo ekibiina kye ekya Nationalist Liberal Party nga ayambibwako eyali Minisita Anthony Ochaya, Cuthbert Joseph Obwangor, ne Francis Bwenge.[5]

Ssemogerere yesimbawo ku bwa Pulezidentu mu kalulu ka bonna aka 1980 nga yawangulwa Milton Obote ow'ekibiina kya Uganda People's Congress.[6] Ssemogerere oluvanyuma yafuuka omukulembeze w'abo abawakannya Gavumenti mu Paalamenti okuva mu 1981 okutuusa 1985.[2] Yalondebwa nga Minisita w'ensonga z'omunda mu Ggwanga mu kiseera ky'obukulembeze bwa Tito Okello (1985–86).[2]

Oluvanyuma lwa Yoweri Museveni okufuuka Pulezidenti mu Gusooka 1986 okuddirira olutalo lw'ekiyeekera, Ssemogerere yasigala ye Minisita ow'ensonga z'omunda mu ggwanga (1986–88[2]), era n'ensonga z'ebweru w'eggwanga (1988–94) saako n'abakozi ba Gavumenti (1994–95)[3] era mu kaseera kekamu ng'alina n'ekifo ky'omumyuka wa Ssabaminisita mu Gavumenti ya Museveni n'ekisinde ky'ekya National Resistance Movement (Okuva mu 1986).[2] Yawummula okuva mu bifo Gavumenti bino mu Gwomukaaga 1995[1] kubanga y'ali yesimbyewo ku bwa Pulezidenti ng'akutte bendera y'ekibiina ekyali ekikulu mu kuvuganya Gavumenti, naye yawangulwa Museveni mu kalulu k'obwa Pulezidenti aka1996.[6]

Ssemogerere yali mukungu mu kitongole kya Organisation for African Unity (OAU), era yali sentebe w'akakiiko k'aba Minisita ba OAU okua mu 1993 okutuusa mu 1994.[3]

Oluvanyuma lw'okuwummula eby'obufuzi mu Gwekkuminogumu 2005, yasikizibwa John Ssebaana Kizitonga Pulezidenti w'ekibiina, nga mu kaseera ako yali Mmeeya wa Kampala.

Ebikwata ku bulamu bwe n'okufa kwe[kyusa | edit source]

Ssemogerere yali mufumbo eri Namatovu Ssemogerere, Pulofeesa w'essomo ly'eby'obusuubuzi ku ssetendekero wa Makerere. Abaana baabwe Grace Nabatanzi (1963–2011), eyafumbirwa Gerald Ssendaula; Karoli Ssemogerere, munnamateeka eyakuggukiramu Amerika; Anna Namakula, omukugu mu kubaga amateeka ga Gavumenti nga alina n'ekitongole kya Foundation for African Development, Immaculate Kibuuka, munnamisono; ne Paul Semakula kakensa mu bya Kompyuuta.[1] Yali mu mmemba mu nzikiriza y'obukatuliki..

Ssemogerere y'afa nga 18 Ogwekkuminogumu 2022,ku myaka 90.[7]

Olugendo lwe mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

  • 1961–62 Omuwandiisi wa Ssabaminisita u Paalamenti Benedicto Kiwanuka
  • 1963–69 Ow'ebyamawulire mu kibiina kya Democratic Party
  • 1979–81 Mmemba mu Kakiiko k'eggwanga ak'ebuuzibwako
  • 1981–85 Omukulembeze w'abawakanya Gavumenti
  • 1984–94 Omumyuka wa Pulezidenti wa Christian Democratic International
  • 1985–88 Minisita w'ensomga z'omunda mu ggwanga
  • 1988–90 Ssentebe w'akakiiko k'aba Minisita ba OAU
  • 1988–94 Omumyuka wa Ssabaminisita ow'okubiri ne Minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga
  • 1994–95 Omumyuka wa Ssabaminisita ow'okubiri ne Minisita w'abakozi ba Gavumenti
  • 1999 Yaleeta amateeka 5 agaali gagaana enkola y'ekisinde era n'ateekawo enkola ez'okuzza enkola y'ebibiina byobufuzi mu Uganda.
  • 2005 Yawummula obukulembeze bw'ekibiina kya DP nadda mu Bizinensi ez'bwannanyini.
  • 2011 Yasiimibwa nga Sabasaba 2011 aba Sabasaba Flame Award, plw'okubeera munnabyabufuzi ow'eddembe ne demokulasiya

Laba na bino[kyusa | edit source]

Eijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 https://en.wikipedia.org/wiki/ISBN_(identifier) Cite error: Invalid <ref> tag; name "2R" defined multiple times with different content
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 https://books.google.com/books?id=MQVzAAAAMAAJ Cite error: Invalid <ref> tag; name "3R" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 3.2 http://www.bundesheer.at/wissen-forschung/publikationen/person.php?id=212 Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1308575/veteran-dp-vp-dies-aged-87
  5. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9781474292870
  6. 6.0 6.1 https://www.nytimes.com/1996/05/11/world/uganda-leader-looks-set-for-election-victory.html Cite error: Invalid <ref> tag; name "6R" defined multiple times with different content
  7. https://www.dispatch.ug/2022/11/18/former-dp-president-dr-paul-kawanga-ssemogerere-dies-at-90/

Ebijulziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]