Jump to content

Pauline Irene Batebe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Pauline Irene Batebe era Irene Pauline Batebe oba Irene Batebe, Munnayuganda omunoonoza w'ebyobuziba n'ebyekitambuzo, aweereza nga Ssabawandiisi wa Uganda Ministry of Energy and Mineral Development, okuva mu Gwomunaana 2021.[1]

Nga ebyo tebinabaawo, yali Ssentebe wa [./Uganda_Refinery_Holding_Companyhttps://en.wikipedia.org/wiki/Uganda_Refinery_Holding_Company Uganda Refinery Holding Company] (URHC), eri wansi w'ekitongole kya Uganda National Oil Company (UNOC). Ekolerero Ly'amafuta mu Uganda bwenazimbibwa, URHC ejya kuvunaanyizibwa ku bitundutundu Gavumenti ya Uganda byenafuna mu kukwatagana kuno.[2][3]

Irene Batebe, board mmemba wa UNOC, era yaweereza nga Principal Refining Engineer mu Uganda Ministry of Energy and Mineral Development, okuva Mugwokubiri 2009.[4][5] Avunaanyizibwa okukakasa nti machine n'ebintu ebiyingira mu gwanga okuzimba Ekolerero ly'Amafuta mu Uganda n'Emidumu Egitambuza Amafuta ga Uganda–Tanzania bituukiriza omutindo n'ebika ebisaliddwaawo.[5][6] Batebe ali omu ku banonooza ba siniya mu minisitule ya Energy.[7][8] Atela okuwerekera Pulezidenti wa Uganda ne Minisita wa Energy ku ngendo z'omu mawanga g'ebweeru ezikwata ku nsonga z'amafuta ezibba zanjuddwa eza oil refinery ne crude oil pipeline.[9][10][11] Ye kakensa wa Gavumenti alina obuvunaanyizibwa obusookera ddala obw'okuzimba oil refinery, crude oil pipelines ne petroleum products pipeline.[12][5]

Ebimukwaatako n'emisomo[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Uganda nga mumyaaka gwa 1982.[13] Yasomera mu masomero ga Uganda emisomo gye egisooka nga tanegatta ku yunivasitte. Mu 2001, yayingizibwa mu Yunivasitte ya Dar es Salaam, natikibwa mu 2005 ne Diguli ya Sayansi mu nonooza z'ebyobuziba ne processing engineering. Mu 2007 yayingizibwa mu ttendekero lya KTH Royal Institute of Technology, mu Stockholm, Sweden, natikibwa mu 2010 ne diguli eya Master ya Sayansi mu [./Mechanical_engineeringhttps://en.wikipedia.org/wiki/Mechanical_engineering kunonooza eby'ekitambuzo], ng'essira alitadde ku kukola amasanyalaze agawangaala. Oluvanyuma yayingira mu Yunivasitte ya Manchester mu United Kingdom, eyo mu 2011, yatikibwa ne diguli ya Master mu Sayansi mu advanced chemical process design, ng'essira liteekeddwa ku refinery design ne operation.[5][4]

Emirimu[kyusa | edit source]

Batebe yaweebwa omulimu mu Gwokubbiri 2009 nga Yinginiya omukulu mu Minisitule ya y'ebyamasanyalaze n'eby'obugagga eby'omuttaka.[4] Obuvunanyizibwa bwe mu Minisitule mulimu okukakasa nti ebyuuma n'ebikozesebwa by'onna ebireeteddwa mu Uganda okuzimba ekkolero ly'amafuta n'emidumu egitambuza amafuta egya East African Crude Oil Pipeline gituukagana n'omutindo gw'ensi yonna era okukaasa oba gy'emitufu okukozesa.[4] Era awaddeyo empapula mu nkungaana z'amafuta ne Gaasi eziwerako mu Uganda[14] n'ebweru w'eGgwanda omuli olukiiko ttabamiluka olwa SPE/AAPG Africa Energy and Technology olwatuuzibwa mu kibuga Nairobi ekya Kenya mu 2016.[15]

Famire[kyusa | edit source]

Irene Batebe yali yafumbirwa omugenzi Stephen Okello.[16]

Ebirala[kyusa | edit source]

Mu Gwomunaana 2015, kamupuni y'amafuta eya [./National_Oil_Company_of_Ugandahttps://en.wikipedia.org/wiki/National_Oil_Company_of_Uganda National Oil Company of Uganda] bwe yatandikibwaawo, Pauline Irene Batebe yalondebwa nga omu ku ba Dayilekita ba Boodi omusanvu, ng'eno yaweererezaayo okutuusa mu Gwekkuminogumu 2017.[17] Y'omu ku bakyaala abatono mu Uganda abeetaba mu makolero g'amafuta.[18] Mu Gusooka 2017, yalondebwa nga Ssentebe wa ba Dayirekita ba boodi abadukanya Kampuni ya Uganda Refinery Holding Company Limited, Kampuni eteekerateekera ekolerero ly'amafuta eliteekedwaawomu Kabaale, Buseruka sub-county, mu Disitulikitti ye Hoima. Kampuni eno eri ebitundu kkkkumi ku kikkumi wansi wa Kampuni ya Gavumenti eya Uganda National Oil Company.[19]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/govt-set-to-repossess-namanve-thermal-plant-3515748
  2. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-11-15. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1443840/oil-body-appoints-nkambo-manger
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 https://www.linkedin.com/in/irene-batebe-533a1321/ Cite error: Invalid <ref> tag; name "Bio" defined multiple times with different content
  5. 5.0 5.1 5.2 5.3 https://www.linkedin.com/in/irene-batebe-533a1321/ Cite error: Invalid <ref> tag; name "Profile" defined multiple times with different content
  6. http://www.oilreviewafrica.com/downstream/downstream/uganda-to-build-petroleum-distribution-terminal-and-two-new-pipelines
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-29. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. http://www.engineeringnews.co.za/article/uganda-refinery-2012-07-13
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-10. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://www.independent.co.ug/news-analysis-american-build-ugandas-refinery/2/
  11. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1432022/museveni-day-official-visit-chad
  12. http://kfm.co.ug/business/compensation-of-residents-almost-complete.html
  13. https://deepearthint.com/batebe-replaces-kasande-as-energy-ministry-ps/
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-19. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. https://onepetro.org/speafrc/proceedings-abstract/16AFRC/All-16AFRC/210092
  16. https://www.facebook.com/permalink.php?story_fbid=765398296936151&id=754091471400167&comment_id=770132296462751&comment_tracking=%7B%22tn%22%3A%22R%22%7D
  17. "Archive copy". Archived from the original on 2015-08-18. Retrieved 2024-04-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  18. https://internationalwim.org/gender-extractives-convention-uganda-21-22072015/
  19. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1443840/oil-body-appoints-nkambo-manger

Ebijulizidwa wa bweru wa wikipediya[kyusa | edit source]