Pauline Kemirembe Kyaka

Bisangiddwa ku Wikipedia

Pauline Kemirembe Kyaka era gwe bamannyi nga Pauline Kyaka, yazaalibwa nga 16 Ogwomukaaga mu 1977, nga munabyabufuzi Omunayuganda nga kuno kuno kw'ateeka n'okubeera omusomesa.[1] Ye mukyala omubaka akiikirira Disitulikiti ye Lyantonde[2] mu Paalamenti ya Uganda eye kumi.[1][3][4] Omubaka wa Paalamenti ya Uganda ono yaddamu n'alondebwa, ng'era, Grace Namara Lutemba yawangulwa Pauline Kyaka, mune gwebaali bavuganya mu kibiina kya NRM.[5]

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Mu 1990, yamaliriza ebigezo bye ebya P7 ku St. Maria Goretti Preparatory School, nga lisinganibwa Kabale. Oluvannyuma yeegata ku St. Mary's College e Rushoroza gyeyaaliriza S4 mu 1994. Mu 1997, Yafuna satifikeeti ya S6 okuva ku St Theresa Girls Secondary School erisinganibwa e Bwanda. Mu 2000, yafuna Diguli mu by'enjigiriza mu Busomesa okuva ku Yunivasite y'e Makerere.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 2005 okutuuka kati, yakolako nga akulira St. Paul's Kindergarten Primary School nga lisinganibwa, Lyantonde.[1] Wakati wa 2000 ne 2002, yaweebwa omulimu gw'okubeera omusomesa ku St. Gonzaga S.S. e Lyantonde.[1] Okuva mu 2016 okutuuka kati, abadde awereza nga Omubaka wa Paalamenti mu Paalamenti ya Uganda .[1]

Obuvunaanyizibwa Obulala[kyusa | edit source]

Ali kukakiiko akavunaanyizibwa ku by'eddembe ly'abantu , wamu n'akakiiko ak'eby'obulamu nga omubaka mu Paalamenti ya Uganda.[1][2]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mukyala mufumbo,nga singa kwagala, kwenyigira mu uzannyo gwa kubak, kukola mikwano, kusoma butabo, mawulire, ku kwatagana n'abantu abapya wamu n'okukola obwa nakyewa.[1]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 1.6 1.7 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=206
  2. 2.0 2.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://chimpreports.com/museveni-stop-praising-fat-people/
  4. https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/kemirembe-pauline-kyaka-239/
  5. https://ugandaradionetwork.net/story/nrm-sweeps-sembabule-polls-as-kakooza-retains-kabula-seat

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]