Peace Butera
Peace Nankunda Butera Munnayuganda owa art w'ebyokufumba culinary artist, akola nga Executive Sous Chef (Owokubiri-mu-buyinza) ku Kampala Serena Hotel, wooteeli eya five-star mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene.
[1] Y'omu ku bakyaala abatono abali mu mu bifo ebinene ebyabakugu mu by'okufumba mu semazinga Afirika.[2]
Ebimukwaatako n'emisomo
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu famire y'aboluganda kkumi. Yakuzibwa mu nyumba ezenjawulo, mu famire elimu abazadde, abaana, nabenganda abalala nga babeela wamu.[1] Yasomera ku ttendekero lya Uganda College of Commerce, mu Nakawa, kati eyittibwa Makerere University Business School, natikibwa mu 1992, ne dipulooma y'ebya wooteeri n'okufumba eya Diploma in Hotel Management and Catering.[3][4]
Emirimu
[kyusa | edit source]Mu 1993, yakola nga omuntu ayiga eby'emirimu ayigira ku mukugu wabyo (apprentice) mu myeezi essattu, ku wooteeri ya Nile Hotel mu Kampala. Wooteeri yamuwa omulimu nga omufumbi, oluvanyuma lw'okutendekebbwa kwe.[3][4] Mu 2004, wooteeri yakyuusa obwa nanyini era n'ettuumibwaKampala Serena Hotel. Ba nanyini abapya baamusigazza.[3][1][4] Peace Butera yalondebwa okufuna okutendekebwa afuuke omufumbi omukugu nga ayita mu pulogulaamu y'omunda ku Serena Hotels Group. Okutendekebwa kuno kwamutwaala ku buzinensi za Serena kkumi mu nsi za Afirika ttaano, era ne wooteeri ttaano ennene ez'omulembe mu South Africa ne Turkey. Bwe yakomawo e Kampala, yalondebwa nga Sous chef ku Kampala Serena mu 2005.[2][4]
Mu lukungaana lwa Commonwealth Heads of Government Meeting 2007, olwaali lutegekebbwa mu Kampala okuva nga 23 Ogwekkuminoogumu okutuusa nga 25 Ogwekkuminoogumu 2007, Queen Elizabeth II yabeera ku Kampala Serena okumala ennaku nya. Chef Peace Butera yalondebwa okufumba ebimu ku bintu ebyali ku menu ya Queen mu kaseera ako.[2][4] Era, mu bisseera ebyedda, yafumbirako Pulezidenti Bill Clinton ne famire ye.[3][4]
Famire
[kyusa | edit source]Peace Butera mufumbo eri Vincent Butera era wamu bazadde b'abaana bana Kylie, Kelly, Lillian ne Laban , ababbiri bebeezaalira n'ababbiri be baasalawo okulabirira nga abaabwe.[1]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 http://www.monitor.co.ug/Magazines/Life/Her-aunts-good-cooking-stirred-her-culinary-passion/689856-3276998-kb5ngiz/index.html
- ↑ 2.0 2.1 2.2 "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-24. Retrieved 2024-04-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 3.0 3.1 3.2 3.3 https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/Kampala-Serena-master-chef-Peace-Butera-/434746-4037032-gf3168/index.html
- ↑ 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 4.5 http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Sous-chef-who-cooked-Queen-Elizabeth-II/689842-4239474-ogwxliz/index.html